TOP

Omujaasi atabukidde mu bbaala n'akuba amasasi

Added 2nd April 2013

OMUJAASI akubye amasasi agasattiza abatuuze oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne munne bwe babadde banywa mu bbaala.



Bya RUTH FAITH NAKANWAGI

OMUJAASI akubye amasasi agasattiza abatuuze oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne munne bwe babadde banywa mu bbaala.

Entabwe yavudde ku munne eyategeerekesseeko erya Ronald Buyungo okumukuba eccupa ku mutwe n’anyiiga n’anona emmundu n’atandika okusasira amasasi.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano e Bweyogerere - Kirinnya mu Kito zooni.

Omujaasi Enock Tushemerire ng’akuuma maka g’omu ku bakulu mu UPDF e Bweyogerere Kirinnya ye yatabuse n’omutuuze Buyungo.

Buyungo yabadde alumiriza omujaasi okumuggyako ssente ze n’atazimuddiza.

Prossy Namuli, nnannyini bbaala yategeezezza nti ababiri abo baagenze okutuuka mu bbaala ye nga balina gye basoose okunywera era nga batamidde.

Namuli yagasseeko nti oluvannyuma baatandise okukaayana era bwe baafulumyeko wabweru, Buyungo we yakubidde munne eccupa. Amangu ddala omujaasi yagenze n’aleeta emmundu okuva awaka w’akuuma awali okumpi awo.

Olwaggyeeyo emmundu yazze akuba amasasi okutuuka ku bbaala ekyabawalirizza okuggalawo.

Buyungo yadduse kyokka Tushemerire n’asobola okuggyibwako emmundu. Tushemerine ng’atuusiddwa ku poliisi e Kira yategeezezza nti yabadde teyejjusa kukuba masasi kubanga emmundu zibaweebwa kwetaasa nga wabaddewo obuzibu kye yabadde akola kubanga yabadde akubiddwa eccupa.

Akola nga DPC wa Kira Divizoni ow’ekiseera, Abubaker Muhibo yategeezezza nti Buyungo n’omujaasi bagguddwaako omusango ku fayiro SD: 28/29/2013 ku poliisi y’e Kirinnya.

Omujaasi atabukidde mu bbaala n’akuba amasasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...