TOP

Ababaka abaagobeddwa mu NRM bazzizza omuliro

Added 16th April 2013

ABABAKA ba Palamenti abaagobeddwa mu NRM bazzizza omuliro ne balangira Katikkiro wa Uganda era nga ye Ssaabawandiisi w’ekibiina Amama Mbabazi nti yeetulinkirizza n’alangirira ebifo byabwe nti byereere ng’akimanyidde ddala nti obwo buyinza bwa Sipiika.



Bya AHMED KATEREGGA

ABABAKA ba Palamenti abaagobeddwa mu NRM bazzizza omuliro ne balangira Katikkiro wa Uganda era nga ye Ssaabawandiisi w’ekibiina Amama Mbabazi nti yeetulinkirizza n’alangirira ebifo byabwe nti byereere ng’akimanyidde ddala nti obwo buyinza bwa Sipiika.

Kino kiddiridde akakiiko ka NRM akakwasisa empisa okusemba okugoba ababaka bana; Muhammad Nsereko (Kampala Central), Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga), Wilfred Nuwagaba (Ndorwa West) ne Barnabas Tinkasimire (Buyaga West) ate ne kayimiriza okumala emyezi esatu Vincent Mujuni Kyamadidi (Rwampara). 

Olukiiko lwa NRM olw’oku ntikko, olwatudde mu maka g’obwapulezidenti ku Ssande, nga lukubirizibwa Pulezidenti Yoweri Museveni lwawagidde ekyasaliddwawo akakiiko k’empisa.

Ssekikubo ne Nuwagaba  baagambye nti beewuunyizza akakiiko ak’oku ntikko aka NRM okubagoba nga kakimanyidde ddala nti ekyabagaana okugenda mu kakiiko akakwasisa empisa lwakuba baalina omusango mu kkooti nga beemulugunya nti ekibiina kyabanyigiriza. 

“Tebaalinze na musango guno kuggwa ne batugoba,” Bwatyo Nuwagaba bwe yeewuunyizza ng’eno Ssekikubo bw’asekerera  Mbabazi nti bwe bamutenze okukomaga n’akomagiramu n’ensambya. Abagobe baasuubizza okutuula bonna leero balangirre we bayimiridde mu butongole.

‘NSANYUKIDDE OKUNGOBA’ 

Kyokka Nsereko ye yagambye nti yasanyukidde nnyo okumugoba nti era tafaayo oba yagobeddwa atya wabula ayagala kakiiko ka byakulonda kulangirire olunaku lw’okujjuza ekifo, balabe bwe yeesimbawo ku lulwe, okwegatta ku bibiina ebivuganya, oba okutongoza ekikye ekya Orange Democratic Movement (ODM)- Uganda.

“Kugenda kuba nga kukuba kalulu ka kikungo abantu basalewo oba bakyali ba NRM oba baagikoowa,” bwatyo Nsereko bwe yagambye.

MBABAZI ASIMBYE NAKAKONGO

Ssaabawandiisi wa NRM, Amama Mbabazi yatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku kitebe ekiri ku Plot. No.10 ku Kyaddondo Road n’agamba nti ababaka abagobe baaweebwa omukisa emirundi esatu beewozeeko ne bagaana nti kyokka munnaabwe Kyamadidi, eyagendayo ne yeewozaako, baamudiddemu. 

“Okusinziira ku nnyingo ya 83, eyalondebwa ku kaada y’ekibiina bwe kimugoba n’obubaka aba abufiiriddwa,” bwe yagambye.

Akulira ebyokulonda mu NRM, Dr. Elijah Mushemeza yagambye nti mwetegefu okutegeka okulonda kw’okusunsulamu.

Abalala kye bagamba

Senkaggale wa FDC Maj. Gen. Mugisha Muntu agambye nti “Nnyaniriza abaagobeddwa bakolagane n’oludda lwaffe mu Palamenti okununula eggwanga kyokka ne bwe baddayo mu kalulu, ffe ab’oludda oluvuganya, ebifo byonna tujja kubiwangula.” 

Dr. Medard Biteekyerezo (NRM/Mbarara) yagambye nti NRM okufiirwa ababaka abana si kya kusanyukirako wabula kya kunakuwala.

Munne Fred Badda (NRM/Bujumba) yagambye nti “Ng’abantu bannuma kubanga mikwano gyange, naye ng’ekibiina, tewali kyakubakolera kubanga tulina okuba abakambwe bwe tuba twagala okuzimba ekibiina eky’omuzinzi.”

Gonzaga Sewungu (DP/Kalungu West) yagambye nti NRM bye yakoze tebiriiyo era ababaka abalwanirizi b’eddembe awatali kufa ku kibiina kya byabufuzi, baalwaniririra bannaabwe.

ABALONZI BANYIIVU

Ate Ali Mambule e Ssembabule ayongerako nti: mu ssaza ly’e Lwemiyaga, abalonzi bakung’aanya kaadi za NRM ziddizibwe Pulezidenti Museveni era we bwazibidde eggulo ng’ezisobye mu 600 zikung’aanyiziddwa.

Kaweefube ono yakuliddwa Kansala Jungu Amooti (NRM/Lwemiyaga) n’abakulermbeze ba NRM abalala nga bagamba nti banyiivu nnyo okugoba omubaka waabwe Ssekikubo.

TUKYABABALA NG’ABABAKA - PAALAMENTI 
 
Eggulo, Ssaabawandiisi wa NRM yawandiikidde Palamenti ebbaluwa ku kugobwa kw’ababaka bano wabula omwogezi wa Palamenti, Hellen Kaweesa yagambye nti, “Ffe tetusobola kugoba mubaka okuggyako nga kkooti y’eragidde,” n’ayongerako nti ababaka abagobe ba ddembe okukiika ne batuula ku ludda lw’ababaka abatalina bibiina.
 
SSEMATEEKA W’EGGWANGA KY’AGAMBA
 
Ennyingo 83 eya Ssemateeka egamba nti omubaka anaafiirwanga ekifo kye ng’asaze eddiiro kyeyagalire ne yeegatta ku kibiina ekirala era Ssaabawabuzi w’oludda oluvuganya Medard Ssegona (FDC/Busiro East) agamba nti ekyakoleddwa NRM kimenya Ssemateeka nti era singa abagobeddwa beekubira enduulu mu mbuga z’amateeka, baakusigala mu Palamenti okutuusa ng’ekisanja kyabwe kiweddeko.
 
Wabula ate Ssaabawolereza wa gavt, Peter Nyombi agamba nti, “Ssemateeka tafaayo oba weegobye wekka oba bakugobye kasita ova mu kibiina ekyakusimbawo mu kulonda, olina okufiirwa ekifo kye walonderwamu.

” 
 

Ababaka abaagobeddwa mu NRM bazzizza omuliro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...