TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnamateeka Kabega assuddewo omusango gwa Kazinda

Munnamateeka Kabega assuddewo omusango gwa Kazinda

Added 16th April 2013

MUNAMATEEKA ow’erinnya, Macdosman Kabega yeekandazze n''ayabulira Geofrey Kazinda era n''ategeeza omulamuzi Irene Akakwasa ku kkooti ewozesa abakenuzi nti tagenda kuddamu kuwolereza Kazinda.



BYA ALICE NAMUTEBI 

MUNAMATEEKA ow’erinnya, Macdosman Kabega yeekandazze n'ayabulira Geofrey Kazinda era n'ategeeza omulamuzi Irene Akakwasa ku kkooti ewozesa abakenuzi nti tagenda kuddamu kuwolereza Kazinda.

Kabega okwekandagga n'afuluma kkooti ne munamateeka munnen,Tom Magezi, kyavudde ku mulamuzi Akankwasa kugaana kwongeezaayo kuwulira musango oguvunaanibwa Kazinda n'abalala basatu nga bwe yabadde amusabye.

Kabega yabadde asabye omulamuzi Akankwasa bongereyo okuwulira omusango guno okutuusa nga omulamuzi, David Wangutusi, owa kkooti enkulu amaze okuwa ensala ye mu misango egy’okujingirira egivunaanibwa Kazinda,  basobole okufuna obudde obumala okwetegereza ebiwandiiko oludda oluwaabi lwe bigenda okwesigamako, kyokka omulamuzi Akankwasa n'agaana era n'alagira omuwaabi wa Gavumenti, Paul Lakidi, okuleeta omujulizi asooka.

Kabega ne munnamateeka munne Magezi baalabye guli gutyo kwekutegeeza omulamuzi nti bw'aba asazeewo atyo, eby’okuwoleereza Kazinda babivuddemu kubanga tebasobola kubeera mu kkooti bbiri omulundi gumu era bombi ne bafuluma kkooti.

Omulamuzi Akankwasa yabuuziizza Kazinda oba asobola okubeera mu kkooti nga talina looya, ekintu Kazinda kye yagaanye, kyokka omulamuzi n'alagira omusango gugende mu maaso bwe yategeezezza nti abajulizi bajja kuddamu okuyitibwa bw'aliba afunye looya.

Bannamateeka Ahmed Kalule, Farouk Kamulegeya n’abalala ababadde basigadde mu kkooti bannyogoze wano omuwaabi wa Gavumenti, Paul Lakidi, kwekusaba omulamuzi Akankwasa abaweemu eddakiika 30 babeeko bye bakkaany, wabula kkooti bwe yazzeemu okutuula, bonna ne bakkiriziganya omusango gwongezebweyo ekintu omulamuzi kye yakoze.

Omusango guddamu nga 26 April 2013.

Kazinda avunaanibwa ne John Martin Owor, Beatrice Kezabu ne Hussein Katumwa nga kigambibwa nti baakumpanya obukadde 316 ne bafiiriza Gavumenti nga ssente zino zaali zaakugula mafuta ssaako n’okuddaabiriza emmotoka ezaali zitwala obuyambi mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo eri abantu abaali bakozeseddwa obusambattuko.

Munnamateeka Kabega assuddewo omusango gwa Kazimda: Yeekandazze n''afuluma kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...