TOP

Nantaba ayimirizza okusengula ebiggya

Added 21st April 2013

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Aidah Nantaba alagidde okusengula emirambo mu disitulikiti y’e Mpigi okukoma obunaambiro n’abantu abagobwa ku bibanja byabwe okubiddako nga tewali abakuba ku mukono.Bya ANDREW MUGONZA

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Aidah Nantaba alagidde okusengula emirambo mu disitulikiti y’e Mpigi okukoma
obunaambiro n’abantu abagobwa ku bibanja byabwe okubiddako nga tewali abakuba ku mukono.

Yabyogeredde mu lukiiko lwe yatuuzizza ku kyalo Maziba- Mulole mu kibuga ky’e Mpigi gye yasanze ng’ebiggya ebisoba mu 10 byasimuddwa, abatuuze ne bagattako n’okumulaajanira nga bwe babaleetera emirambo gye batamanyi ne giziikibwa ku bibanja byabwe.

Abatuuze baategeezezza nti omugagga Robert Mulindwa eyagula ettaka kwe bali abadde yabagoba ku bibanja byabwe n’aleeta ne ttulakita ne zisenda emmere yaabwe yonna. Ekirala ekiruma abatuuze kwe kubaziikuza emirambo gy’abeng’anda zaabwe n’abalagira okugiziika awalala. Abamu bagamba nti abadde abaleetera n’emirambo gye batamanyi n’agiziika mu bibanja byabwe!

Minisita yalagidde akulira poliisi y’e Mpigi, Julius Ahimbisibwe okunoonyereza ku mirambo egyo, si kuba nga waliwo abatta abantu ate ne basalawo okuziika mu nkukutu e Maziba. Yakkaatirizza nti tewali akkirizibwa kutambuza mirambo nga talina lukusa lwa kkooti.

Yalabudde n’abakulembeze abekobaana n’abagagga okusindikiriza ab’ebibanja okukikomya n’aggatako ne bannannyini ttaka obutasengula babibanja nga tebakkaanyizza.

Wano we yasinzidde okulagira abatuuze bonna abaali baagobwa ku bibanja okubiddako.

Ate omupunta Alex Kiggundu agambibwa okupima ebibanja by’abatuuze, Nantaba n’akulira poliisi evunaanyizibwa okutawuluza enkaayana z’ettaka mu ggwanga, William Kototyo yalagidde akwatibwa.

Yatwaliddwa ku Poliisi e Mpigi kyokka emmotoka ye nnamba UAQ 994D n’esangibwamu akambe, fotokopi z’ebyapa, ebbaluwa ezisaba okukola tulansifa n’ebiwandiiko ebirala.

Nantaba ayimirizza okusengula ebiggya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ttakisi yasibidde ku mulyango gwa ssomero.

Babiri bafi iridde mu kaben...

ABANTU babiri baafi iriddewo n’abalala musanvu ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bafunye ebisago, ttakisi...

Eby'omulambo gwa Looya eyaf...

Bya Stuart Yiga OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde...

Kaweesa owa Lubaga (ku kkono) ne Tumusiime owa Kampala Central n’ekiwandiiko.

Bakoze lipooti ku kugwa kwa...

ABAVUBUKA ba NRM mu Kampala, nga bakulembeddwaamu Mahad Kaweesa eyakwatira ekibiina kya NRM bendera ku Bwammeeya...

Loole ya UPDF okwabadde abajaasi eyagudde. Mu katono ye Lt. Wandera.

Abajaasi 50 bagudde ku kabenje

ABAJAASI ba UPDF 50 baagudde ku kabenje ne bafuna ebisago eby’amaanyi. Akabenje kaagudde Nabiswa ku luguudo oluva...

Mmande ne mukyala we.

Ssentebe Mande akiggadde

SSENTEBE wa Kijabijo B mu munisipaali y’e Kira, Hannington Sseruwu Mande bamujjukizza bye yayitamu ng’atokota mukyala...