TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eragidde ebyobugaga bya Meddie ne Black biwambibwe

Kkooti eragidde ebyobugaga bya Meddie ne Black biwambibwe

Added 25th April 2013

KKOOTI eragidde ebyobugagga bya Meddie Ssentongo muninkini wa Bad Black biwambibwe okununula ssente ze bagambibwa okubba ku Muzungu.



Bya Martin Ndijjo

KKOOTI eragidde ebyobugagga bya Meddie Ssentongo muninkini wa Bad Black biwambibwe okununula ssente ze bagambibwa okubba ku Muzungu.

Omulamuzi, Masalu Musene owa kkooti y’ebyobusuubuzi eggulo  yasoose kuwa nsala ye ku kusaba okwakolebwa enjuyi zombi olw’Omuzungu David Greenhalgh okwagala okubowa ebyobugagga ate olwa Ssentongo nga lwagala okusaba kw’Omuzungu kugobwe n’ebyobugagga obutawambibwa.

Wiiki ewedde, Greenhalgh ng’ali wamu ne looya we Patrick Furah bayanjulidde kkooti olukalala lw’ebyobugagga bye bagamba nti bya Meddie Ssentongo ne Bad Black ne bagisaba biboowebwe ng’omusingo nga bwe balindirira okumuulirwa mu musango David gwe yaloopa ababiri bano ng’ayagala bamuliyirire obuwumbi 11 ze bamubbako nga bino byakutundibwa (ebyobugagga) singa abawangula. 

Mu kiseera ky’ekimu ne balooya ba Ssentongo nabo bawaayo okusaba kwabwe nga bagala omulamuzi agobe okusaba kw’Omuzungu) nga n’ezimu ku nsonga ze bawaayo mulimu eky’Omuzungu okwagala okuwamba ebintu ebitali bya Ssentongo (ne basaba omuzungu aleete obukakafu nti bya Ssentongo) era nga Ssentongo awakanya eky’okubba ssente z’Omuzungu wadde okukolagana naye mu mbeera yonna ekwatagana n’ebye nsimbi.

Omulamuzi Masalu bwe yabadde awa ensala ye ku nsonga eno yesigamye ku nsala eyakolebwa omulamuzi, Catherine Bamugemereire owa kkooti ewoozesa abakenuzi eyasingisa Black ne Ssentongo emisango gy’okwekobaana ne babba ssente z’Omuzungu.

Ng’asomera kkooti ensala eyakolebwa omulamuzi Bamugemereire mu July w’omwaka oguwedde amale abawe ekibonerezo ky’okusibwa emyaka ena (Black) n’emyezi 18 (Ssentongo), omulamuzi Masalu yagambye nti abamu ku bajjulizi mu musango guno baakakasa kkooti nga Black bwe yalina enkolagana ne Meddie era ng’ono yaggyanga ssente ku akawunti omuzungu kwe yaaziteekanga n’azitwala ewa Ssentongo babeeko kye bazikolamu era nti waliwo olumu bwe bayogera ku ky’okuzimba wooteri n’ennyumba z’abapangisa. 

Yagasseko nti waliwo n’ekyazuulwa kkooti mu kunoonyereza okwakolebwa nga Black olunaku lwe yaggyangayo ssente mu bbanka ku lunaku lwe lumu omudidi gwa ssente gwateekebwa ku akawunta ya Meddie.

Ku ky’okukakasa oba ddala ebyobugagga ebibooweddwa bya Ssentongo si by’abantu balala, omulamuzi yategeezezza nti kino kigenda kukolebwa ng’okuwulira omusango omukulu (David gwe yaloopa) kutandise.

Wabula amangu ddala nga bakafuluma kkooti, Ssentongo eyalabise nga munyivu yalaze obutali bumativu n’ekyasaliddwawo omulamuzi ng’agamba nti omulamuzi awadde mwaganya Muzungu okubba ebyobugagga bye nagattako nti Omuzungu alemeddwa okukwata Black eyamubba azze ku ye (Ssentongo) ng’ayagala kumwavuwaza. 

Ye James Muhumuza looya wa Ssentongo yategeezezza nga bwe bagenda okujulira ku kisaliddwaawo omulamuzi okuteeka envumbo ku byobugagga. 

 

OLUKALALA LW’EBYOBUGAGGA BYA MEDDIE NE BAD BLACK

 

  • Toyota Pick-up ey’omulembe (styled) eriko nnamba ya Meddie 5
  • Ford Explorer nayo eriko Meddie 5
  • Emmotoka Toyota Harrier 
  • Mercedes Benz C200 ey’omulembe nayo eriko nnamba Meddie 5
  • Mercedes Benz eriko nnamba mu mannya ga Black Gal
  • Ennyumba z’abapangisa  e Kawempe
  • Ettaka e Munyonyo okuliraana olubiri lw ‘Omukama w’e Toro.
  • Ettaka e Munyonyo ku Blcok 894 Kyadondo 
  • Ennyumba n’ebizimbe ebiralala e Kirunddu- Buziga mu Makindye.
  • Yiika emu ey’ettaka e Ntebe okuliraana Anderita Beach 
  • Ettaka eriri ku Block 379 plot 1105 Busiro. 
  • Ettaka eriri ku Block 221 plot 1366 Kyadondo
  • Ettaka e Ntinda ku Block 103 plot 1 Kyadondo 
  • Puloti y’ettaka e Makerere ku luguudo lwa Sir. Appolo Kaggwa
  • Ettaka e Mityana ku Block 528 Plot 9 Singo 
  • Ettaka e Mubende Block 270 plot 2 Singo 
  • Ettaka e Ntebe ku Block 352 plot 12 LRV5223 Folio 15 Busiro
  • Ettaka e Kyanja ku Block 380 plot 4 Kyadondo.

 

 

 

 

Kkooti eragidde ebyobugaga bya Meddie ne Black biwambibwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...