TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erabudde ku batujju abeesozze Obuvanjuba bwa Afrika

Poliisi erabudde ku batujju abeesozze Obuvanjuba bwa Afrika

Added 28th April 2013

POLIISI erabudde ku batujju ba Al Shabab abategeka okulumba amawanga g’Obuvanjuba omuli Uganda, n’esaba abantu okubeera obulindaala okusobola okubeewala.

 

 

 

Bya MARGARET ZIRIBAGGWA

POLIISI erabudde ku batujju ba Al Shabab abategeka okulumba amawanga g’Obuvanjuba omuli Uganda, n’esaba abantu okubeera obulindaala okusobola okubeewala.

Omuduumizi wa poliisi, Lt. Gen. Kale Kayihura yagumizza abantu nga poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe omuli ekirwanyisa ebikolwa eby’ekitujju biri bulindaala okulaba nga tewabaawo bulabe bukolebwa.

ENGERI ABANTU GYE BALINA OKWEWALAMU ABATUJJU:

1 Okwetegereza abantu be batamanyi mu bitundu byabwe naddala be basanga nga bambadde bikabuuti, era bategeeze abakulembeze baabwe aba LC ne poliisi.
2 Bw’osanga ekintu ekirekeddwaawo okugeza ensawo, emmotoka, ebibokisi wamu n’ebirabo by’otomannyi, tomala gabikwatta.
3 Bannannyini bifo ebikung’aaniramu abantu abangi bateekeddwa okussaawo obukuumi obumala nga baaza buli muntu ayingira wamu n’okukebera ebintu byonna bye babeera bazze nabyo.
4 Abantu abatambulira mu bbaasi ne takisi bandibadde baazibwa kubanga abatujju beeyambisa nnyo mmotoka z’olukale.
5 Amasomero wamu n’amatendekero aga waggulu galina okwekebejja abantu bonna abagendayo.
6 Ebifo abatujju mwe basobola okutereka bbomu okugeza ensiko n’ebisasiro abantu balina okubiggyawo.

 

Poliisi erabudde ku batujju abeesozze Obuvanjuba bwa Afrika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...