TOP

Amabugo ga Angume gatabudde abantu

Added 10th May 2013

AMABUGO g’omugenzi Martin Angume gongedde okutabula abantu, ekiwalirizza omu ku baabadde bagakung’aanya Andrew Benon Kibuuka okuwa ensaasaanya yaago abantu bamatire nti tewali ssente n’emu yabuze.



Bya JOSEPHAT SSEGUYA

AMABUGO g’omugenzi Martin Angume gongedde okutabula abantu, ekiwalirizza omu ku baabadde bagakung’aanya Andrew Benon Kibuuka okuwa ensaasaanya yaago abantu bamatire nti tewali ssente n’emu yabuze.

Amabugo gaasoose kunyiiza bantu abaasoose okuwulira nti abayimbi bonna mu ggwanga beesonzeemu akakadde kamu kokka ate nga baalemwa n’okusonda ssente okutwala munnaabwe ebweru ajjanjabwe. 

Mu kuziika e Kitwe mu Bugerere, omugagga Godfrey Kirumira gye yaweeredde 3,000,000/- ez’ekibiina kya Kwagalana gattako 500,000/- ezaaweereddwaayo Minisita Sulaiman Madada (eyakiikiridde Gavumenti ku lwa minisitule ye) zonna zazziddwa e Kampala nga  Mzee John Akulu (kitaawe w’omugenzi) ssente agaanyi okuzisigaza ng’atya ababbi okumulumba ekiro.

Kirumira era yeeyamye okuweerera omwana wa Angume omu. Omusika David owa nnamwandu Primrose abooluganda gwe baalonze aweererwe Kirumira.

Kibuuka atangaazizza

Kibuuka bwe yabuuziddwa eggulo okutangaaza ku biriwo ku mabugo yasoose n’alabula abantu bonna nti amabugo galimu obuzibu bw’abantu abaagala okweyogerako babamanye nga balimba nti baawadde ssente nnyingi sso nga n’abamu tebannawaayo wadde 100/- n’abalala nga tebalabikangako mu bya Angume bukya alwala era bino bisinze kusaasaanyizibwa ku mukutu gwa Facebook.

Yategeezezza nti amabugo gonna agazze gaweebwayo gaakoze emirimu gye galina okukola. 

“Twasoose kutuula mu lukiiko lw’abayimbi ne bannakatemba ku National Theater ku Mmande ne bateesa ku nziika ya Angume we baakubidde ne bajeti ey’okuziika, ey’okuliisa abantu, okutwala omufu e Bugerere ne kalonda yenna okumuziika mu kitiibwa.

Wano Kibuuka nga ye Ssentebe w’ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba, ataabadde musanyufu olw’abantu abalemedde ku ky’okwogera ku mabugo (nga ne bye boogera agamba nti bikyamu), yayiseeyise mu nsaasaanya y’amabugo bw’ati:

  • Okukola ku mulambo mu ddwaaliro e Mulago (160,000/-).
  • Ezaasasuddwa kkampuni ya Kampala Funeral Directors okutambuza omulambo n’okuyooyoota entaana okugissaako talazo (2,000,000/-).
  • Abantu ze baalidde ku National Theater ku Mmande mu lumbe lwa Angume (700,000/-). 
  • Ebyuma bya disiko ebyakozeseddwa ekiro mu lumbe (250,000/-). 
  • Ez’ebyokulya mu kuziika ku Lwokusatu (3,000,000/-). 
  • Ekifaananyi kya Angume ekiwange ekyassiddwa ku ssanduuke (100,000/-).
  • Ezaasasulwa eddwaaliro e Mulago nga zibanjibwa (3,200,000/-). Kyokka ate Ssentebe w’ekibiina ky’abasawo b’ekinnansi, Sylvia Namutebi amannyiddwa ennyo nga  Maama Fina yagambye nti yasasuddeko obukadde 2 ku zino).

‘Abayimbi mwetegekere nga temunnafa’

Kibuuka yagasseeko nti, ebintu ebirala bingi byateekebwamu ssente naye nga kizibu okubijjukira mu ngeri gye baali nga bakaaba n’ennyiike kubanga eno teyali mbega.

Yagambye nti abayimbi be baasinga okusonda ssente zino kyokka nga bangi tebaagala kumanyika nti baasonze. 

 Kibuuka eby’amabugo byasoose kumutabulira mu kuziika Angume e Kitwe mu Bugerere bwe yabadde ayogera eri abakungubazi n’alumiriza nti waliwo abasaasaanya ebigambo nti waliwo eyabawadde amabugo ga bukadde 50, ebitali bituufu.

Yasabye bayimbi banne beetegekere nga tebannafa nti okusonderera kuno kwe kusinga okuvaako ebigambo ebingi.

 

CHAMELEONE yeerwanyeko

Kyokka Kibuuka yagaanyi okwogera oba omuyimbi Jose Chameleone yawadde amabugo ga mitwalo 15 ng’agamba nti abayimbi baamugaanyi okwogera buli omu ssente ze yawadde. 

Ye Chameleone ku Lwokubiri yassizza obubaka ku peegi ye eya Facebook ng’agamba nti: Kimalamu amaanyi mu nsi muno mwe tubeera nga buli lw’oba olina ky’okoze olina okwerangirira. Okufa si bizinensi nti ebeera ku byansimbi byokka. Bw’oba wali ofiiriddwa omuntu wo nga nze wandibadde okimanyi nti ssente si ky’ekikulu kyokka wabula waliwo n’ebirala ebikulu…..” 

Chameleone bwe twamukubidde essimu yakkiriza nti yawaddeyo emitwalo 15 ku by’okumaliriza entaana kyokka nga yabadde yawadde dda amabugo.

Ku ky’obutagenda kuziika e Bugerere, Chameleone yannyonnyodde nti baabadde baakava okuziika omukubi w’emiziki Moses Nsereko eyali amannyiddwa ennyo nga DJ Momo ate ng’alina Omuzungu enzaalwa y’e Mexico ayitibwa Allisson era ng’eby’okuzza omulambo gwe ku butaka bikyamuwuuba.

 

Amabugo ga Angume gatabudde abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...