TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayagala kkooti egobe ababaka bakyewaggula

Museveni ayagala kkooti egobe ababaka bakyewaggula

Added 21st May 2013

PULEZIDENTI Museveni ataddeyo obujulizi mu kkooti ng’akakasa nti ayagala kkooti egobe ababaka bakyewaggula mu palamenti.

 

 

 

 

 

Bya ALICE NAMUTEBI NE AHMED KATEREGGA


PULEZIDENTI Museveni era nga ye Ssentebe w’ekibiina kya NRM, naye ataddeyo obujulizi mu kkooti ng’akakasa nti ayagala kkooti egobe ababaka bakyewaggula mu palamenti.

Museveni agamba nti ababaka bano okusigala nga bali mu palamenti kibeera kifiiriza NRM kubanga bajjira ku kkaadi yaakyo era ekibiina kyabateekamu ssente mpitirivu nga banoonya akaluku olwo abalonzi ne babalonda nga bakimanyi nti balonda bantu ba NRM.

Museveni era yagambye nti okusigala kw’ababaka bano mu palamenti kugenda kuwaga ababaka abalala nabo bafuuke bakyewaggula kubanga ekibiina kijja kuba tekisobola kubawa bibonerezo bibagwanira omuli okubagoba mu kibiina, nga bakimanyi nti ne bw’ogobwa mu kibiina osigala okyakiikirira ekitundu kyo, ekintu ekijja okugootaanya entabuuza y’ebibiina.

Yategeezezza nti Sipiika Rebecca Kadaga teyalina buyinza busalawo ku nsonga eno, kwe kusaba kkooti esazeemu ensalawo ya Kadaga era egobe ababaka mu palamenti akakiiko k’ebyokulonda kategeke okulonda okujjuza ebifo byabwe.

Bino byona biri mu musango aba NRM gwe baatutte mu kkooti etaputa ssemateeka nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Severino & Co. Avocates nga bavunaana Ssaabawolereza wa gavumenti n’ababaka bakyewaggula okuli Theodore Sekikubo, Wilfred Niwagaba, Mohammed Nsereko ne Barnabas Tinkasimire abaagobwa okuva mu NRM olw’okusiiwuuka empisa.

PULEZIDENTI AYISE ABA NRM KU BYA KAMPALA
Mu ngeri y’emu, Museveni ayise bukubirire olukiiko lw’akabondo ka NRM lutuule ku nkya ya leero luyite mu lipoota esemba Pulezidenti yeddize ekibuga ekikulu, Kampala.

Omwogezi w’akabonmdo ka NRM mu Palamenti, Evelyn Anite agambye nti ababaka basazeewo okwesogga basobole okukkaanya nga tebannatandika kuteesa ku lipoota eno olweggulo lwa leero.

 

Museveni ayagala kkooti egobe ababaka bakyewaggula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu