
Bya SAUL WOKULIRA
ABASENZE ababonyaabonyezebwa ku ttaka mu disitulikiti y’e Kayunga basabye akakiiko ka pulezidenti Museveni ke yassaawo okugonjoola ensonga zino nti ku mulundi guno kaveeyo n’enkola ey’enkomeredde eneemalawo ebizibu byabwe eby’ettaka.
Ate kkooti yeekiise mu mirimu gy’akakiiko n’efulumya ekiwandiiko ekigaana minisita Nantaba n’akakiiko ke okusaalimbira ku ttaka ly’abantu.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa kkooti enkulu e Jinja nga kissiddwaako omukono gw’omuwandiisi wa kkooti eyo, David Batema kiyimirizza minisita obutalinnya ku ttaka lya Eria Paul Kiwanuka eriri e Kokotero mu ggombolola y’e Bbaale.
Abasenze bino baabitegeezezza akakiiko kano akakulirwa minisita omubeezi ow’ebyettaka, Aidah Nantaba bwe kaabadde katandika omulimu pulezidenti Museveni gwe yakatuma mu disitulikiti y’e Kayunga.
Abantu okuli ab’ebibanja abagamba nti bagobaganyizibwa ne bannannyini ttaka abalina ebyapa n’abalina ettaka erikaayanirwa bazze mu bungi okunnyonnyola akakiiko ebizibu bye bayitamu.
“Tumaze ebbanga nga batugobaganya ku ttaka. Tetukyakola, buli kiseera tubeera ku bunkenke,” Samuel Muhairwoha agamba nti yanyagibwako ettaka ku kyalo Namizo bwe yategeezezza. Abalina enkaayana baavudde mu magombolola okuli Kangulumira, Kayonza ne Bbaale.
Minisita Nantaba agamba nti akakiiko ke kaakumala wiiki nnamba mu Kayunga nga kakola ku nsonga z’abagobaganyizibwa ku bibanja naddala abo abakaayana nti ettaka lyabwe lyanyagibwa abajaasi .
Kkooti yeekiise mu kakiiko ka Nantaba