TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwabuzi wa kkooti asabye Kazinda yejjeerezebwe

Omuwabuzi wa kkooti asabye Kazinda yejjeerezebwe

Added 29th May 2013

OMUWABUZI wa kkooti mu misango 29 egivunaanibwa eyali omubalirizi w''ebitabo ow''enkalakalira mu offisi ya katikkiro, Geofrey Kazinda, asabye omulamuzi David Wangutusi amwejjeereze emisango gyonna.



BYA ALICE NAMUTEBI

OMUWABUZI wa kkooti mu misango 29 egivunaanibwa eyali omubalirizi w'ebitabo ow'enkalakalira mu offisi ya katikkiro, Geofrey Kazinda, asabye omulamuzi David Wangutusi amwejjeereze emisango gyonna.

Anthony Auma yategeezezza omulamuzi Wangutusi atuula ku kkooti ewozesa abagambibwa okubeera abakenuzi e Kololo nti obujulizi bw'oludda oluwaabi bwalimu ebituli n'okubuusabuusa kungi nga kkooti tesobola kubwesigama kusingisa Kazinda misango era n'amusaba amwejjeereze.

Wabula endowooza y'omuwabuzi wa kkooti tebeera yankomeredde nga omulamuzi asobola okuginderako oba omusango okugusala mu ngeri gy'aba agulabyemu.

Obumu ku bujulizi obwalimu okubuusa Auma bwe yeesigamyeko kwekuba nga omuwandiisi w'enkalakalira mu ofiisi ya Katikkiro, Pius Bigirimana eyategeeza nti ssente zabibwa mu ofiisi ye, yalemwa okutegeeza kkooti omuwendo gwa ssente ogwabbibwa ate ng'oludda oluwaabi lwalemererwa okuleeta omujulizi okuva mu bbanka ya Uganda enkulu okunnyonnyola oba baafunako ku mpapula ezisaba ssente nga ziriko emikono emijingirire.

Auma era yategezeeza omulamuzi Wangutusi nti yadde oludda oluwaabi lwategeeza nga bwe lwazuula empapula ezisaba ssente mu nnyumba, Kazinda gye yazimbira nnyina, tebafaayo kuleeta maama wa Kazinda kunnyonnyola ani yateeka empapula zino mu nnyumba ye ate nga n'omukugu mu by'empandiika eyakakasa nti omukono gwa Bigirimana ku mpapula zebajja ewa maama wa Kazinda gwali mujingirire, naye teyategeeza oba nga Kazinda ye yagujingirira.

Omulamuzi Wangutusi ataddewo olwa nga 19 June lwagenda okuwa ensala ye ku misango gino.

Kazinda avunaanibwa emisango 29 omuli okukozesa obubi ofiisi ye, okujingirira omukono gwa mukama we Pius Bigirimana nga kiteeberezebwa nti yali ayagala kujja ssente mu bbanka ssaako n'okusangibwa n'ebintu bya Gavumenti mu ngeri emenya amateeka.

 

Omuwabuzi wa kkooti asabye Kazinda yejjeerezebwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...