TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. etaddewo buwumbi okuwola abayizi abayingira yunivasite

Gavt. etaddewo buwumbi okuwola abayizi abayingira yunivasite

Added 7th June 2013

ABAYIZI abamalako S6 kyokka nga tebatalina ensimbi zibongerayo ku Yunivasite n’amatendekero aga waggulu eno bajeti egenda okusobwa wiiki ejja ebakubye enkata.



Bya Ahmed Mukiibi

ABAYIZI  abamalako S6  kyokka nga tebatalina ensimbi zibongerayo ku Yunivasite n’amatendekero aga waggulu eno bajeti egenda okusobwa wiiki ejja ebakubye  enkata.

Mussiddwamu ensawo  eyitibwa ‘Student Loan Scheme’ abayizi mwe bagenda okuyita okwewola ensimbi ez’okusoma, Gavumenti gyerudde ng’esuubiza ng’egenda kusoosootolwa etandike okukola.

Ensawo eno, Gavumenti egitaddemu  obuwumbi butaano ng’entandikwa wabula ensimbi  zino zissiddwaako obukwakkulizo, ng’abayizi bokka abasoma kkoosi ez’ensonga be bagenda okuwolwa ssente.

Obuwumbi obutaano gavumenti bw’etadde mu nsawo eno ziri  ku mutemwa ogw’obuwumbi  1,555 eza bajeti  yonna ey’ebyenjigiriza ey’omwaka 2013/14.

Okwongeza abasomesa emisaala

Ng’oggyeeko obuwumbi obutaano obw’ensawo ey’okuwola  abayizi, Gavumenti  yategeezezza nti  mu bajeti eno mussiddwaamu n’ensimbi ez’okwongeza emisaala gy’abasomesa aba Pulayimale  nga bwe yeetema mu bajeti  omwaka oguwedde abasomesa  bwe beediima nga baagala okubongeza emisaala.

Abasomesa ba pulayimale ab’amasomero ga gavumenti bali 129,651 mu Uganda yonna wabula baludde nga beemulugunya ku musaala omutono, baagala boongezebwa ng’asembayo okufuna ensimbi entono asasulwa waakiri emitwalo 50.

Mu bajeti ya 2012/13, emisaala gy’abasomesa  bano Gavumenti  yagirinnyisa okuva ku 267,300/- okutuuka ku  301,381, Pulezidenti Museveni ne yeeyama nti ne mu bajeti ejja  eya 2013/14,  gavumenti egenda  kubongeza. 

Abasomesa nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Uganda National Teacher’s Union (UNATU) baagala wabeewo okwongezebwa emisaala  ebitundu 100 ku buli 100 mu basomesa bonna.

Gavumenti yategeezezza mu kiwandiiko kya bajeti ekya National Budget Framework Paper 2013/14 nti mu bajeti ya 2013/14, eteeseteese  okussa essira ku kulinnyisa omutindo gw’ebisomesabwa ku mitendera gyonna.

Kino gavumenti egenda kukikola  ng’eyita mu  kukukulaakulanya n’okusitula omutindo gw’amasomero,  okwongera ku bungi bw’ebibiina by’omu masomero, amayumba g’abasomesa,  okutendeka abasomesa n’okussaawo embeera ennungi abayizi mwe basomera.

Gavumenti yalaze nti mu kiseera kino omuwendo gw’abayizi abali mu masomero ku mitendera gyonna gweyongedde nga kati  Uganda  yonna erimu abayizi 8,300,000 aba Pulayimale ng’abasinga obungi basomera mu nkola ya UPE.

Abayizi 1,300,000  be bali mu masomero aga siniya ng’abasinga bali ku nkola eya USE ate mu Yunivasite n’amatendekero aga waggulu abayizi  basoba mu 150,000.

Gavt. etaddewo buwumbi okuwola abayizi abayingira yunivasite

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.