TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba n''Abamerika 2 bafiiridde mu kabenje ku lw'e Masaka

Omusumba n''Abamerika 2 bafiiridde mu kabenje ku lw'e Masaka

Added 18th June 2013

AKABENJE kagudde ku luguudo lw’e Masaka ne mufiiramu Abamerika babiri ababadde bazze okubuulira enjiri mu Uganda ne ddereeva w’emmotoka abadde abavuga.



Bya PADDY BUKENYA

AKABENJE kagudde ku luguudo lw’e Masaka ne mufiiramu Abamerika babiri ababadde bazze okubuulira enjiri mu Uganda ne ddereeva w’emmotoka abadde abavuga.

Joseph Muwonge ddereeva wa mmotoka Prado nnamba,UAN 558E eyabadde etambuza Abamerika babiri okuli Rev. Steven Branford ne George Huehinson okuva e Georgia ye yagudde ku kabenje.

Akabenje kano kaagudde Nabusanke okumpi n’e Kayabwe nga kigambibwa nti ekimotoka ky’amata ekyabadde kiyisa nga kiva e Kampala kye kyatomedde eya Muwonge era bonna abasatu nga bwe baabadde mu mmotoka ne bafa.

Muwonge ne Rev. Steven baafiiriddewo ate George n’afiira mu ddwaaliro e Nkozi gye yabadde addusiddwa okutaasa obulamu bwe. Emirambo gy’abaafudde gyatwaliddwa mu ggwanika e Nkozi.

RPC atwala ekitundu kya Mpigi n’emiriraano James Katonyerere yatuuse awaagudde akabenje n’agenda ne mu ddwaaliro ly’e Nkozi awaabadde watwaliddwa emirambo.

Abamerika bano babadde mu Uganda ku bugenyi obwabategekeddwa Omusumba Joseph Musitwa ow’omu Kampala mwe bamaze wiiki nnamba nga babuulira enjiri kyokka ne baagala okulambulako ebitundu bya Uganda eby’enjawulo omuli n’e Kayabwe awali Equator.

Mu kulambula kwabwe baatuuseeko e Masaka era akabenje baakafunye bakomawo Kampala eggulo akawungeezi ku ssaawa 10.

Abamerika 2 bafiiridde mu kabenje ku lw’e Masaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....