TOP

Abafumbo abalala babasazeeko obulago e Rakai

Added 19th June 2013

ETTEMU lisitudde buto enkundi, abazigu bwe balumbye abafumbo ne bakuba ekituli mu nnyumba ne babasala ng’embuzi ne babaleka mu bitaba by’omusaayi.Bya JOHNBOSCO MULYOWA, JOSEPH MUTEBI ALI KIZZA NE DEBORAH NANFUKA

ETTEMU lisitudde buto enkundi, abazigu bwe balumbye abafumbo ne bakuba ekituli mu nnyumba ne babasala ng’embuzi ne babaleka mu bitaba by’omusaayi.

Mu kiro kye kimu mwe battidde ne munnamawulire wa Vision Group Thomas Pere, omulambo gwe ne bagusuula mu mufulejje e Masajja ku lw’e Busaabala ate abatemu abalala ne batta omuwala e Nateete, omulambo ne bagusuula mu kasiko.

ABAFUMBO BABALESEZZA AMABUJJE

Charles Yiga 34, abadde omusuubuzi w’emmwanyi mu kibuga Kyotera mw’abadde alina n’edduuka eritunda ebizimbisibwa ye yattiddwa mu bukambwe ku ssaawa nga 10:00 ez’ekiro ekyakeeseza Mmande awamu ne mukaziwe we Maureen Namaato 30, ne babalesa abaana basatu abato ennyo!

Abatemu baasoose kusima kituli ku ludda lwa ggalagi y’ennyumba ya Yiga e Ssagala mu muluka gwe Kyakkonda mu ggombolola ey’e Kasaali okumpi ne Kyotera mu Rakai mwe baayise ne batuuka ku musuubuzi ne mukaziwe ababadde mu kisenge ne babasalako emitwe, emirambo ne bagireka mu buliri.

Abantu nga bakungubaga

Bwe baamaze okubatta ne banyaga pikipiki ey’ekika kya Yamaha UDE 362R kwe bateeberezebwa nti kwe baatambulidde okubaggya mu kifo kino. 

Abaana b’omugenzi abato abaabadde mu kisenge kyabwe be baasoose okulaba emirambo gya bazadde baabwe ng’obudde bukedde kwe kukaaba nga bwe bayita abantu okudduukirira.

Kiteeberezebwa nti oluggi lwa ggalagi baaluggudde bamaze okutemula abafumbo bano era we baayisizza pikipiki kwe baagendedde.

Poliisi eyabadde ekkulembeddwaamu akulira poliisi e Rakai Nelson Sooma n’akulira bambega ba poliisi e Rakai Rose Nabakooza yatuuse mangu nnyo ng’eyambibwaako embwa ya poliisi ekoonga olusu kyokka yalemeddwa okuzuula ekkubo eryatutte abatemu wabula yasobodde okubatuusa ku jjambiya eyakozeseddwa mu butemu buno, eyabadde evulubanye omusaayi ng’esuuliddwa ebbali w’ennyumba.

Joseph Kayondo muganda w’omugenzi agamba nti Yiga abadde talina mutawaana gwonna na muntu noomu okuggyako lumu yagugulanako n’essomero erimu lye yali abanja ensimbi era bwe baagaanira ddala okumusasula, yagenda n’atikkayo entebe zaayo zonna n’azikuba mu maka ge kyokka oluvannyuma ab’essomero baamusasula era ensonga ne ziggwa n’abaddiza entebe zaabwe.

Akulira poliisi y’e Rakai Nelson Sooma yagambye nti bateebereza nti abatemu baabadde bajjiridde bulamu kubanga ku by’omunju tebalina kye baatutte okuggyako pikipiki erowoozebwa nti baagikozesezza kubayambako ku ntambula.

Abantu baweze 30 abaakattibwa mu ntiisa mu Rakai okuva nga January 13, 2013 okuli: Paasita Steven Mugambe, Nowerina Nnaalinya, Maria Namatovu, Berna Nakivumbi, Jane Nakiwala, Andrew Ampiirwe, Christine Nassimbwa, Dan Ssemwanga ne Maxensia Nakirijja abattibbwa olunaku lumu mu nnyumba ya Mugambe e Kyebe; kw’ossa Yulita Nabasajje ow’e Kirumba, Everisto Ngalukye ow’e Byeerima West, Maxensia Nantale ow’e Kisoga mu Kakuuto ne Ssande Kagolo Katende ne mukaziwe Cissy Kagolo.  

OW’AMAWULIRE BAMUSSE

Munnamawulire Thomas Pere abadde amaze emyaka egisukka mu etaano ng’awandiikira olupapula lwa The New Vision yattiddwa mu ntiisa oluvannyuma omulambo ne gusuulibwa mu mufulejje e Masajja Zooni A ku lw’e Busaabala.

Kiteeberezebwa nti Pere yalinnye takisi y’ababbi nga tategedde okumuzza ku lw’e Ntebe gy’abadde asula wabula ne wabaawo akanyoolagano ng’agezaako okubalemesa okunyaga kompyuta y’ekika kya Laptop gye yabadde avudde nayo ku mulimu ku Ssande ku ssaawa 4:30 ez’ekiro, olwo ababbi kwe kumukuba ne bamutta. 

Wabula essimu n’ebiwandiiko bye yabadde nabyo mu nsawo z’empale yabisigazza kyokka Laptop teyasangiddwa nayo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibn Ssenkumbi yagambye nti omulambo gwasangiddwaako ebiwundu by’obutayimbwa ku mutwe, nga ffeesi ezimbye.

Kyokka we baasanze omulambo tewaabaddewo nsiitaano ekiraga nti ssi we baamuttidde. Pere aziikibwa leero e Ajuju , Adjuman.

OMUWALA BAMUTTIDDE E NATEETE

Ate abatuuze b’e Nateete mu Central Zooni A baguddemu ekikangabwa bwe basanze omulambo gw’omuwala eyatemuddwa nga guli mu kasiko.

Omuwala ono atemera mu myaka nga 18 omulambo gwe gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi mu kasiko akaliraanye ekifulukwa okumpi ne Leerwe.

Ku mabbali g’omulambo we waabadde ekifunfugu ekijjudde omusaayi nga kiteeberezebwa nti ky’ekyakozeseddwa omutemu okutta omuwala ono. 

POLIISI ERAALISE KU BUTEMU

Aduumira ekibinja ekiyigga abazigu mu ggwanga  ekya “Flying Squad”   Charles Kataratambi ategeezezza nga bw’agudde mu buufu bw’ekibinja ky’abavubuka abatta abantu nga bakozesa enkola ey’okusima ebituli mu nju era nga kino kirina akikulembeera gwe balinnya akagere.

Yagambye nti abakozesa takisi okuzibbiramu n’okutta abantu nabyo babadde babinoonyerezaako era baakukakasa nti abeenyigira mu bubbi n’obutemu obw’ekika kino bonna bakwatibwa.

 

 

Abafumbo abalala babasazeeko obulago e Rakai

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spice Diana atangaazizza ku...

Spice Diana atangaazizza ku nsonga za AS Roma

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Robert Kyagulanyi Ssentamu akulira NUP wamu n'abakungu b'e Mmengo ne bannabyafuzi abaawerekeddeko Kyagulanyi nga beekubisa ekifaanyi ekyawamu

Ebyabaddewo nga Bobi Wine a...

KAABADDE katuubagiro nga munnabyabufuzi era omukulembeze w'ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi...

Omugagga Katumwa

Poliisi ekyalemedde omugagg...

OMUGAGGA David Katumwa eyeesimbyewo ku bubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’e Nansana we bwawungeeredde eggulo...

Nneebaza Katonda okumpa omu...

NZE Peter Mugisha, mbeera wano mu Kampala era mwe nkolera emirimu gyange. Ekikulu kya byonna, ndi musajja mulokole...

Njagala kugatta muganzi wan...

Ssenga nasobezza muganzi wange naye saakikoze mu bugenderevu. Yajja awaka nga simanyi kubanga teyah− hamba. Kyokka...