TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abali ku gw'okutega bbomu z''e Kyadondo basaba kweyimirirwa

Abali ku gw'okutega bbomu z''e Kyadondo basaba kweyimirirwa

Added 11th July 2013

NGA waakayita emyaka esatu bukyanga batujju batega bbomu ezatta abantu abasukka mu 70, abantu bangi tebakyamanyi bikwata ku bantu 32 gavumenti be yakwata ku ttemu lino.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

Bya ALICE NAMUTEBI

NGA waakayita emyaka esatu bukyanga batujju batega bbomu ezatta abantu abasukka mu 70, abantu bangi tebakyamanyi bikwata ku bantu 32 gavumenti be yakwata ku ttemu lino.

ABATUJJU BATWALIBWA MU KKOOTI
Mu July 2010 abatujju 32 baakwatibwa ne batwalibwa mu kkooti e Nakawa mu maaso g’omulamuzi Deo Ssejjemba ne baggulwako emisango 89 omwali 3 egy’obutujju, 76 egy’obutemu ssaako 10 egy’okugezaako okutta abantu era bonna ne bagyegaana.

Ku baavunaabibwa mwalimu Bannakenya, Abatanzania Abapakistan wamu ne Bannayuganda.

Ku bano kwaliko Hussein Agade, Adan Abdul Muhammad, Edrus Magundo, Isa Ahmad Luyima, Muhammad Mugisha, Muzafar Luyima, Abubaker Sulaiman, Ismail Walusimbi, Yahaya Sulaiman, Kalifa Abdu Muhammad, Issa Ali Ssenkumba, Hassan, Abdu Hassan, Isaac Godana, Abdul Aziz Ali, Yunus Mganda, Abdallahi Muhammad Ahmed, Andrew Kanyoro, Wal¬lace Munyayi, Yusuf Abushir, Dr Ismail Kalule, Ali Amin Kimathi. Edris Nsubuga, Muhamoud Mu¬gisha n’abalala. Banamateeka okuli Radislus Rwafuzi, Francis Onyango ne Duncan Odimu be beesowolayo okuwolereza abatujju.

KKOOTI YEJJEEREZA 18:
Oluvanyuma lwa gavumenti okubulwa obujulizi, abantu bejjeerezebwa. Kuno kwaliko Issa Ali Ssenkumba, Hassan Abdu Hassan, Isaac Godana, Abdul Aziz Ali, Yunus Mganda, Abdallahi Muhammad Ahmed, Andrew Kanyoro, Wallace Munyayi, Yusuf Abushir, Dr Ismail Kalule ne munna Kenya omulwanirizi w’eddembe Al-Amin Kimathi eyakwatibwa bwe yali agezaako okuwa amagezi abatujju abaakwatibwa okuva e Kenya ne Tanzania nti kimenya mateeka okubajja munsi zaabwe ne babaleeta mu Uganda nga tebayisiddwa mu mitendera emituufu.

Bbo abatujju 20 abasigalawo baawerezebwa mu kkooti enkulu ewozesa bakalintalo bavunaanibwe mu butongole.

BABIRI BAKKIRIZA EMISANGO:
Oluvanyuma lw’abatujju 20 okusindikibwa mu kkooti enkulu, babiri bakkiriza emisango, era omulamuzi Owinyi Dollo n’abasindika e Luzira.

Edris Nsubuga yakkiriza emisango gyonna era n’asibwa emyaka 25 ate Muhamoud Mugisha n’akkiriza ogw’okwekobaana n’abatujju n’asibwa emyaka etaano.

Okuwozesa abantu 12 abaasigalayo kwayimirizibwa oluvanyuma lw’okwekubira enduulu mu kkooti etaputa ssemateeka nga bawakanya ekyokubavunaana.

Baategeeza nti kikyamu gavumenti okweyambisa sitetimenti ze baakakibwa okola mu kutulugunyizibwa ku poliisi.

Bannakenya n’Abatanzania bawakanya n’engeri gye baleetebwa mu Uganda nti yali emenya mateeka era ne basaba kkooti ejulirwamu ebaggyeko emisango gyonna egibavunaanibwa balye butaala.

Olw’okusaba kw’abatujju omulamuzi Owinyi Dollo yawalirizibwa okuyimiriza okuwulira omusango guno okutuuka mu kkooti etaputa ssemateeka emaze okusalawo eggoye wabula kkooti tevaangayo kutandika kubawuliriza.

BASABA KWEYIMIRIRWA:
Nga bayita mubannamateeka baabwe okuli Duncan Ondimu ne Caleb Alaka abatujju 4 okuli Edris Magondu , Hussein Agade, Omar Awadi Omar ne Muzafalu Luyima era baatwala okusaba kwabwe mu kkooti enkulu ebakkirize okubeeyimirira kubanga bali mu mbeera mbi mu kkomera, gye bakuumirwa kubanga abasinga balwadde ate nga balina n’amaka ge balina okulabirira.

Abali ku gw’okutega bbomu z''e Kyadondo basaba kweyimirirwaamaziga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...