TOP
  • Home
  • Amawulire
  • BUKENYA: NRM bw'enziba mu kamyufu mu 2016 ng'ekibiina nkivaamu

BUKENYA: NRM bw'enziba mu kamyufu mu 2016 ng'ekibiina nkivaamu

Added 15th July 2013

POLOF. Gilbert Bukenya atiisizza nti singa anaagenda mu kamyufu ka NRM ne bamuvuvuba, ajja kuva mu kibiina yeesimbewo ku lulwe ng’omuntu abalonzi basalewo gwe baagala.Bya BENJAMIN SSEBAGGALA NE ROGERS KIBIRIGE                                                         

POLOF. Gilbert Bukenya atiisizza  nti singa anaagenda mu kamyufu ka NRM ne bamuvuvuba, ajja kuva mu kibiina yeesimbewo ku lulwe ng’omuntu abalonzi basalewo gwe baagala.

Bukenya era yagambye nti tasobola kwegatta ku Gen. David Tinyefuza (Sejusa) kubanga ye takkiririza mu kutwala buyinza na maanyi ga mmundu wabula ng’ayise mu kalulu. “Sejusa by’ayogera bya kutemaatema mu bantu sso ng’ekisinga obukulu kati kwe kubagatta,” Bukenya bwe yagambye mu mboozi ey’akafubo n’omusasi wa Bukedde.

Ku pulogulaamu ‘AKABBINKANO’ ey’okukubaganya ebirowoozo ku byobufuzi ku Bukedde TV ekiro ky’Olwokuna, Bukenya bwe yabuuziddwa ku ky’anaakola singa anaalemererwa okuwangula akamyufu k’ekibiina kya NRM okwesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2016 nga bw’ategeka, yazzeemu nti, “Bwe banang’aana nga bayita mu bukodyokodyo bwe bayitamu, nja kubagamba nti mweraba kubanga byonna mbimanyi tubiyiseemu nga nange mwendi. Bwe banaayita mu bwesimbu nga buli mulonzi asuula akalulu kamu nga tewali abawadde ssente wadde okubatiisatiisa, nja kubikkiriza.”

‘Amagezi n’ebisaanyizo mbirina’

Bukenya yategeeza nti amagezi n’ebisaanyizo ebinaamusobozesa okukulembera eggwanga abirina ayagala abantu basalewo era tewali ayinza kumuggya ku mulamwa.

Yagambye nti ayimbudde ttiimu kabiriiti okuli abavubuka n’abakadde nga yamaze dda okufuna abeeyama okumuwa obuwagizi okuli ensimbi enkalu n’abeeyama okumuyiggira akalulu mu nkola ey’obwannakyewa.

“Abalowooza nti nsaaga beerimba. Ate abo abalowooza nti nnyinza okuweebwa obusente eby’okwesimbawo ne mbivaako bakimanye nti emyaka gye nkoledde obwadokita ne ng’enda ne mu Amerika nkoze ssente ezimmala okulyako,” bwe yagambye.

Polof. Bukenya (owookubiri ku kkono)ng’abiibyamu ku mukolo kwe yalagira ebimu ku by’akoledde abantu mu kitundu ky’akiikirira gye buvuddeko.

ASOOKERA KU BYANJIGIRIZA

Bukenya yagambye nti ng’awangudde akalulu, waakusookerako ku kutereeza byanjigiriza kuba abaana kati basoma muwawa n’osanga amalirizza ddiguli naye nga temuyamba. Ebyobulimi n’ebyobulamu yagambye nti waakubissaako essira naddala mu byalo kubanga omulamu y’alina okukola okukulaakulanya eggwanga era n’eby’okwerinda by’eggwanga waakubitereeza aggyewo endowooza y’abantu nti atali munnamagye takulembera.

“Omuntu tasaana kuyingira byabufuzi kubeera mperekeze era nze saalina kubeera Mumyuka wa Pulezidenti ekiseera kyonna kubanga nange entebe ennene ngyagala,” bwe yagambye n’akkaatiriza ng’omuntu bw’atalina kutya kwesimba ku ntebe nnene.

Yagambye nti kimwennyamiza okulaba ng’omuwendo gw’abalina akawuka ka siriimu gweyongera sso nga we yabeerera omusawo baali bamulwanyisizza ng’akkakkanye mu Bannayuganda.

Eby’okumusiba e luzira:

Bukenya ayongerako nti okumusiba mu kkomera e Luzira ku ssente za CHOGM lwali lukwe lupange kubanga ye yali ssentebe wa lukiiko olwategeka nga tavunaanyizibwa ku kuwa mbalirira ya ssente kubanga bwe zaava mu Minisitule y’ebyensimbi baazikwasa muwandiisi ow’enkalakkalira.

“Mu Uganda mulimu abaana n’ebyana naye ebyana bwe binaawera, biyinza okufuuka abaana,”  Bw’atyo bwe yaggumizza n’awa ekyokulabirako nti okusiba eyali omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro, Geoffrey Kazinda ne balekawo eyali mukama we Pius Bigirimana tekiraga bwenkanya era bwe baalabye nga bigenda kwonooneka ne bamukyusa okumutwala mu minisitule endala.

Yalambuludde nti akabonero k’akola n’agatta ebibatu kalaga nti ayagala abantu beegatte bakolere wamu kubanga Uganda si ya muntu omu, ssente z’eggwanga zirina okugabanyizibwa ekyenkanyi emirimu ne gigabibwa mu bantu bonna sso si buli muntu kwagaliza wa luganda lwe.

‘Nsooka kufuumuula bamafiya’

Bukenya yeebazizza Museveni okubeera n’omutima oguwuliriza era omugumiikiriza kubanga ‘bamafiya’ abaludde nga bamusekeeterera singa gwali mulembe gwa Amin, yandimusazeeko omutwe.

Yaweze nti ye olukwata enkasi asooka kufuumuula ‘bamafiya’ era n’abamuyita omutitiizi bigenda kubakalira ku matama kubanga atandise olutalo, oyo atamuwagira abireke ate amuwagira amuwagirire ddala ye mwetegefu okuleeta enkyukakyuka.

Yaggumizza ekirowoozo kye nti kati ye kisaanyi abantu kye batya naye bw’anaayalula n’afuuka ekiwojjolo agenda kubuuka.

Yagambye nti enteekateeka ze ziringa muwumbo gwa mmere ensaaniike nga kati ali mu kufumba naye agenda kugijjula mu 2016.
 

BUKENYA: NRM bw’enziba mu kamyufu mu 2016 ng’ekibiina nkivaamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...