TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyayiira mukazi we asidi n''adduka poliisi emukukunudde mu ssabo

Eyayiira mukazi we asidi n''adduka poliisi emukukunudde mu ssabo

Added 13th August 2013

OBUJULUZI obulala buzuuse ku musajja eyakwatiddwa poliisi olwokuyiira mukazi we asidi bwe wazuuseeyo omukazi omulala gwe yasooka okuyiira asidi.Bya Eria Luyimbazi ne Lydia Tibenda

OBUJULUZI obulala buzuuse ku musajja eyakwatiddwa poliisi olwokuyiira mukazi we asidi bwe wazuuseeyo omukazi omulala gwe yasooka okuyiira asidi.

Alex Lwere Kasibante ye yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okumunoonyeza omwezi mulamba nga yeekwese olw’okuyiira mukazi we Vanessa Nazziwa gw'alinamu abaana babiri asidi n'afuna ebisago mu mugongo kyokka ne wavaayo n'omukazi omulala gwe yasooka okuwasa naye amulumiriza okumuyiira asidi ne baawukana.

Victoria Nanziri abeera e Kabuusu ye mukyala Lwere gwe yasooka okuwasa ne bazaala omwana omu kyokka bwe baafuna obutakkaanya naye n'amuyiira asidi.

“Twalabagana ne Lwere mu 1996 ne tuzaala omwana omu wabula ne tufuna obutakkaanya mu 2002 ne nnobayo nga ndaba sijja kumusobola,” Nanziri bwe yagambye.

Yagambye nti ku Idd ya 2002 yasalawo okugenda mu kivvulu kya bbandi ya Eagles ekyali ku MM Pub Lwere gye yamuyita amusisinkane babeeko bye boogera era n'amusaba afulume wabweru boogere nga tewali abatataaganya.
Nanziri yategeezezza nti bwe yali afuluma okuva mu bbaala ya MM Pub okusisinkana Lwere ne wabaawo omuntu eyamukoonako n'agezaako okumwetegereza era wano Lwere we yamuyiira asidi eyamukwata ku ludda olwa kkono mu feesi n’akwata n’omubiri kyokka Lwere n'adduka.

Yagasseeko nti omusango yagutwala mu kkooti wabula Lwere ne yeeyimirirwa n'avaayo naye kwe kubiggyamu enta.

Nazziwa ku ddwaaliro ng'aboyaana n'ebiwundu bya asidi. Ekifaananyi kyamukubwa nga 06/28/2013Vanessa Nazziwa owookubiri mu kuyiirwa asidi anyumya:

Namanyigana ne Lwere mu 2002 era n tutandika okubeera ffena mu 2008 oluvanyuma lw'okwanjula era ne tuzaala abaana babiri kyokka ebbanga lyonna lye tumaze tubadde tufuna obutakkaanya.

Lwere yasooka nansazisa ekikyupa ekyayatika ku mukono 2009 ate mu 2011 nangyiira olweje lw’amazzi oluvannyuma n'ansibira mu nnyumba mwetwali tusula e Mutundwe wabula aba LC ne banzigulira ku mpaka ne bantwala mu ddwaaliro.

Mu December 2012 twafuna obutakkanya obulala ne Lwere n'ansibira mu nnyumba kyokka abooluganda lwange ne bajja ne banzigulira era okuva kw'olwo ne twawukana.

Wabula twasigala twogeraganya ku masimu n'okulabagana. Nga June 27 2012 yankubira essimu tusisinkana mu bbaala erinaanye MM Pub.

Nnalaba by'angamba tebikwatagana ne muviira kyokka n'ajja ng’angoberera era n'angwa mu kifuba naye omukono gwe ogumu ne gukwata mu nsawo n’aggyayo akakebe kwe kumwesimattulako nangyiira ebintu mu mugongo ebyanjokya byennakakasa nti yali asidi.

Ebbanga lyonna lyembadde ne Lwere tubadde mu kulwanagana buli kiseera era nga talina yadde akantu kampa.

Poliisi byeyogera:

Omuduumizi wa poliisi y'e Katwe, Patrick Issamat, yagambye nti okukwata Lwere baasoose kukwata omusawo w’ekinnansi Francis Mwanje owe Gomba nga Lwere gye yali addukidde okusobola okumuyamba okuwuggula omusango gw'okuyiira mukazi we asidi ogumuvunaanibwa.

Victoria Nanziri (ku ddyo) abeera e Kabuusu ye mukyala Lwere gwe yasooka okuwasa ne bazaala omwana omu kyokka bwe baafuna obutakkaanya naye n'amuyiira asidi.

“Omusajja gwe tuludde nga tunoonya olwokuyiira mukazi we asidi kyaddaaki tumukutte era ng'abadde yeekukumye wa musamize e Gomba. Twakitegeddeko kwe kusindika abasirikale abaakutte omusamize wabula Lwere n'adduka nga ye twamuggye Lubaga,” Issamat bwe yagambye.

Yagambye nti Lwere yayiira Nazziwa asidi nga June 27 akawungeezi oluvannyuma lw’okumuyita amusisinkane okulinaana ebbaala ya MM Pub e Kabuusu n'asalawo okugumaza embiro (omusango).

Yategezezza nti baakozesezza essimu ya Lwere okumulondoola okusobola okuzuula we yeekukumye n’okumanya abantu b'abadde akolagana nabo ng’abakubira amasimu.

Akulira poliisi y’e Nateete, ASP Norah Mpawuwo, yagambye nti omusamize Mwanje bwe yatemya ku Lwere nga Poliisi bw'e munoonya n'addukayo e Gomba n'akomawo e Kabuusu gye baamukwatidde ku Lwokutaano.

Mpawawu yagambye nti oluvannyuma lw'okumukwata ate ne bakizuula nti ne mukazi we gwe yasooka okuwasa, Victoria Nanziri naye yamuyiira asidi mu 2002 nga kirabika buli mukazi gw'asoowagana naye amuyiira asidi.

Lwere by'agamba:


Lwere akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi e Kitebi yagambye nti eby’okuyiira Nazziwa asidi talina ky'aimanyiiko, yabimanya nga Nazziwa amuweereza obubaka ku ssimu okumutegeeza n'amusaba ne ssente z'obujjanjabi. Yagambye nti Nazziwa lwe baasoowagana yamuyiira lweje lw’amazzi.

Yagambye nti ye abadde teyeekwese wantu wonna wabula abaddeyo ewuwe e Kabuuusu mu Lule zooni. Bwe yabuuziddwa enkolagana ye n'omusawo w'ekinnansi Mwanje n'ategeeza nti amumanyi ng’omuganga eyasobola okuwonya abaana be abaali basusse okumeketa amannyo wamu n’okutawanyizibwa empewo z'ekika.

Lwere abadde anoonyezebwa ku musango gw’okugezaako okutta omuntu oguli ku fayiro CRB 591/2013 era waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

Eyayiira mukazi we asidi n''adduka poliisi emukukunudde mu ssabo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Henderson ayolesezza omutin...

OMUTINDO Dean Henderson gwe yayolesezza mu mupiira gwe ogwasoose mu mujoozi gwa ManU gwongedde okuteeka David De...

Pulezidenti Museveni yekka ...

PULEZIDENTI Museveni yakoze bulungi okukkiriza emizannyo okuddamu okutojjera kubanga Uganda ebadde eyolekedde okufiirwa...

Madela ku ddyo ne Lukwago abeegasse ku SC Villa

SC Villa ereese abazannyi 2...

SC VILLA Joogo egasse abadde kapiteeni wa Uganda Martryrs University (UMU) mu liigi ya yunivasite Nasser Lukwago...

Omunigeria John Odumegwu KCCA emutadde lwa mutindo gwa kiboggwe

KCCA FC etadde Omunigeria E...

KCCA FC mu liigi ya babinywera esazeeko omunigeria John Egbuonu Odumegwu olw’omutindo gwe okugaana okumukka mu...

Poliisi esazeewo okuddiza b...

POLIISI etegeezezza nti egenda kuddiza bazadde b'omwana Faith Kyamagero eyattemeddwaako omutwe ne guletebwa ku...