TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obujulizi bwa Munyagwa ku dayirekita Musisi busaziddwaamu

Obujulizi bwa Munyagwa ku dayirekita Musisi busaziddwaamu

Added 14th August 2013

SSENTEBE w’olukiiko lw’ettaka mu Kampala Yusuf Nsibambi agambye nti Jenniffer Musisi yaggala ofiisi z’olukiiko luno n’ekigendererwa ky’okubuza ssente z’ekitongole kubanga yaggya ssente ezikunukkiriza mu buwumbi busatu n’obukadde 300 ku akawunti y’olukiiko mu Orient Bank kyokka mu bbanka ya Uganda enkulu baatuusaayo akawumbi kamu n’obukadde 200.



BYA BENJAMIN SSEBAGGALA NE ALICE SUSAN NAKAWUKA

SSENTEBE w’olukiiko lw’ettaka mu Kampala Yusuf Nsibambi agambye nti Jenniffer Musisi yaggala ofiisi z’olukiiko luno n’ekigendererwa ky’okubuza ssente z’ekitongole kubanga yaggya ssente ezikunukkiriza mu buwumbi busatu n’obukadde 300 ku akawunti y’olukiiko mu Orient Bank kyokka mu bbanka ya Uganda enkulu baatuusaayo akawumbi kamu n’obukadde 200.

Nsibambi yabadde mu maaso g’omulamuzi Catherine Bamugemereireakulira akakiiko akabuuliriza ku Lukwago n’ategeeza nti mukyala Musisi ne banne tebaagoberera mateeka ne bagoba eyali omuwandiisi w’akakiiko Sarah Kusiima ne fayiro zonna ne bakolagana ne poliisi ne bazibuzaawo.

Yannyonnyodde nti abamu ku baali abakozi ba KCCA baakwata Kusiima ne bamuggalira ku poliisi okumala ennaku 2 nga tebamugguddeeko musango nga bakulirwa Jacob Lukambuzi eyakoma mu P.7 baamenya mateeka kyokka baakolera ku biragiro bya mukyala Musisi.

Yayongeddeko nti ekiseera kino babagumaaza nti ofiisi y’eby’ettaka nzigula wabula bw’eba terina muwandiisi waayo tesobola kukola mirimu kubanga ye yingini.

Yategeezezza Omulamuzi nti mukyala Musisi mwewulize, yeemanyi era tatuukirirwa kubanga bino byonna bibaddewo ye n’afuba okumutuukirira balabe bwe bagonjoola ensonga nga takkiriza kumusisinkana era mu kiseera kino KCCA y’ekola ku nsonga z’ettaka mu Kampala ekikontana n’etteeka.

Munnamateeka Kiryowa Kiwanuka bwe yabadde abuuza Nsibambi ebibuuzo yamusabye akakase oba Musisi n’avunaanyizibwa ku byensimbi Nakandi ssente ze baggya ku akawunti y’ekitongole tebaazituusa mu bbanka enkulu n’ategeeza nti asobola okuleeta ebiwandiiko kyokka oluvannyuma yategeezezza nti tekijja kusoboka okuggyako nga kkooti eyisizza ekiragiro.

Omulamuzi akulira akakiiko yasuubizizza okugoberera ensonga bamanye ekituufu.

Nsibambi nga tannaba kujja basoose kuyita meeya w’e Kawempe Mubarak Munyagwa amalirize okwanukula ebibuuzo munnamateeka n’ategeeza nti yabadde alwadde ng’ali mu ddwaliro. Omulamuzi yategeezezza nti singa obudde bw’amalya g’eky’emisana buyita nga Munyagwa talabise obujulizi bwe bw’abadde bwakusazibwamu.

Olweggulo Munyagwa yazze n’alaga ebbaluwa z’eddwaliro n’agenda mu maaso n’okubuuzibwa kyokka Omulamuzi n'asazaamu obujulizi bwe.

Obujulizi bwa Munyagwa ku dayirekita Musisi busaziddwaamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.