TOP

Bannayuganda babakubye amasasi e Juba

Added 28th August 2013

POLIISI esasidde amasasi ku mmotoka omubadde mutambulira Bannayuganda basatu e Juba mu kiro ekikeesa olwa Mmande nga bava okulaba omupiira omu ne gamukwata mu mutwe ne mu kugulu abalala badduse kiwalazima ne basimattuka.



Bya Benjamin Ssebaggala

POLIISI esasidde amasasi ku mmotoka omubadde mutambulira Bannayuganda basatu e Juba mu kiro ekikeesa olwa Mmande nga bava okulaba omupiira omu ne gamukwata mu mutwe ne mu kugulu abalala badduse kiwalazima ne basimattuka.

Steven Kayemba akola n’abantu bano yannyonnyodde nti Mike Kiweewa ow’e Nsambya amasasi gwe gaakutte ne bamutwala mu Juba Hospital wabula nga banne bwe bagezaako okugendayo okulondoola bamanye embeera gy’alimu ate ng’abaserikale baagala kubakwata babaggalire.

Ayongerako nti Godfrey Kasozi eyabadde avuga banne mu mmotoka ya buyonjo nnamba CE 624Y yabuuse mu mmotoka n’adduka kyokka oluvannyuma abaserikale baamukutte ne bamuggalira ku poliisi e Nyakulo ate omulala gwe baabadde naye eyategeerekeseeko erya Gastas okutuusa eggulo nga tebamanyi bimufaako yabuzeewo.

Oluvannyuma Kasozi baamuggye e Nyakuron ne bamwongerayo ku poliisi y’e Marakia wabula nga teboogera musango gwe baamugguddeko.

Kayemba yalambuludde nti obulumbaganyi buno bwabaddewo ku Mmande ekiro ku Security House gye baakazaako erya Blue House Station.

Abaakoleddwako obulumbaganyi bonna bamakanika abakolere okuliraana akatale ka Jebere e Juba.

...................................................................................................................................................

Ebirala......

...................................................................................................................................................


 

Bannayuganda babattidde e Juba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...