TOP

Oluguudo olutaggwa lwaba ki?

Added 14th September 2013

Ab’e Luweero beemulugunya ku luguudo olumaze emyaka 3 nga lukyakolebwa, Jjaamu asiba ebidduka okumala essaawa 3! Enfuufu eriyo ekuleka ofeesa ne ssennyiga



Bya FREDERICK KIWANUKA

BW’OBA ng’ennaku zino oba emyezi egiyise oyiseeko ku luguudo oluva e Kawempe okudda mu Luweero n’e Nakasongola, oteekeddwa okuba nga watuuse awantu ne weesooza oluusi n’okwevuma ekyakututteyo olw’enfuufu n’akalippagano k’ebidduka ebikuleka ng’ofumye, ofeesa ate oluusi n’oddugala okukirako akettaano!

Embeera eno abatambulira ku luguudo luno n’abaluliraanye gye babaddemu kati emyaka egigenda mu esatu nga mu bbanga lino, luzzenga luyiikuulwa ne lukolwako ebitundu ate awamu ne wasigala nga tewakoleddwa, nga bino byonna bimazeeko Bannaluweero emirembe.

Okusooka, omulimu guno ogukolebwa kkampuni ya Energoprojekt (eyava e Serbia) gwali gubaliriddwa okumala omwaka gumu gwokka.

Omulimu ogugenda mu maaso kwe kwongera omwaliiro gw’olutabu lwa koolansi omutabule n’oluyinja, oluguudo lusobole okuwangaala.

Omulimu guno gwali gubaliriddwa okuwemmenta obuwumbi 92 naye nga kati zirabika zeeyongeramu.

Olugendo olwalinga olw’essaawa emu kati lwa ssaawa 4. Ekivudde mu kukola oluguudo olutaggwa be Bannaluweero n’abantu abalala abalukozesa okutandika okwekokkola eng’endo zaakwo n’okujja e Kampala olw’okutya enfuufu n’okulwa mu kkubo.

Olw’okuyimirirayimirira okususse ng’emmotoka zirindirira okuyita ku bifo awakolebwa n’obulippagano bw’ebidduka obuli ku luguudo luno, kivuddeko olugendo olwalinga olw’essaawa emu (okuva e Luweero okudda e Kampala) kati okutwala essaawa ennya (4)!

Lusuubirwa kuggwa mu June wa 2014!
Abamu ku baddereeva abakalabakalaba bagezaako okusalinkiriza ne bayitira mu byalo nga Kiteezi ne Kkomamboga nga bagezaako okwewala okulwa mu bulippagano naye ate oluusi nayo bafunirayo ebizibu gamba ng’okubulirayo.

Emmotoka nnyingi ezigudde mu nkonko ezisimwa awakolebwa naddala ezo ezitambula ekiro n’ezo eziba zitisse.Amaka mangi agali ku kkubo kati bw’oyitayo, gakutte enfuufu n’ennyumba ezaaliko langi kati zonna tezikyafaananika.

Omulimu gw’okwongera okuddaabiriza oluguudo lw’e Kawempe - Kafu kati ogukandaaliridde gwatandika mu mwezi gwa May 2011 nga gwali gusuubirwa okuggwa mu May wa 2012.

Kyokka, okusinziira ku Ying. Bruno Musoke, omukungu w’ekitongole kya Uganda National Roads Authority (UNRA) avunaanyizibwa ku mulimu guno, tekyasoboka kuba mweyongeramu ebirala ebyali bitalabiddwaawo mu kusooka, gamba ng’okuddamu okuzimba emyala n’emifulejje.

Bayinginiya abali ku luguudo luno bagamba nti omulimu gusuubirwa okuggwa mu June w’omwaka ogujja (2014) wadde nga ye omwogezi wa UNRA, Daniel Alinange yandiba ng’asiisirizza akazigo n’agamba nti guyinza okuggwa mu December w’omwaka guno. Ku bombi ani mutuufu era ani mukyamu? Nze naawe!

Mu kiseera kino, aba takisi tebakyasobola kukola luutu ze baalinga bakola olunaku olw’okuba kati bamala essaawa nnyingi mu kkubo.

Ali Mutebi, ssentebe w’ekitongole kya BUTODA ekiddukanya takisi mu Luweero, agamba nti takisi esobola okudda e Kampala emirundi ebiri gyokka sso nga luli zaakolanga emirundi esatu oba ena.

Amaziga g’ente ly’essanyu lya malembo!
Nga bwe bagamba nti amaziga g’ente ly’essanyu lya malembo (embwa), abalimi n’abasuubuzi abali ku luguudo luno bangi bagufudde mugano nga beetundira ebiriibwa n’ebinywebwa eri abakozi b’oluguudo n’abasaabaze ababa basiraanidde mu mmotoka ezeesibye.

Okumanya guno mugano gwennyini, mu bitundu ebimu, abasuubuzi bano bassa ebijingi eby’ekimpatiira mu kkubo emmotoka zeesibe basobole okutundirako ebintu byabwe omuli amazzi, ssooda kasooli, emiyembe, entula, ebinyeebwa eby’empogola n’ebirala bingi bye baggya mu nnimiro zaabwe.

Oluguudo olutaggwa lwaba ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....