TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Palamenti gy'ediibuuda ssente z'omuwi w'omusolo

Engeri Palamenti gy'ediibuuda ssente z'omuwi w'omusolo

Added 29th October 2013

NG’EMBEERA yeeyongera okukaluubirira Bannayuganda buli olukya olw’ebbula ly’emirimu, ebbeeyi ey’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo okulinnya, emisolo emingi ku buli kantu, n’okunyigirizibwa okwa buli ngeri, lipoota eziva mu Palamenti ziraga okudiibuuda kw’ensimbi okususse.Bya Ahmed Mukiibi

NG’EMBEERA yeeyongera okukaluubirira  Bannayuganda  buli olukya  olw’ebbula ly’emirimu,  ebbeeyi ey’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo okulinnya, emisolo emingi ku buli kantu, n’okunyigirizibwa  okwa buli ngeri,  lipoota eziva mu Palamenti  ziraga okudiibuuda kw’ensimbi okususse.

Okunoonyereza okukoleddwa Bukedde  kulaga engeri Palamenti ey’omwenda gy’eyiwaayiwa ssente obuwumbi n’obuwumbi  ku bintu ebitayamba  ggwanga wabula  ebiyamba ababaka  ng’abantu bassekinnoomu
Lipoota  eyaakafulumizibwa ku bwavu obuluma Bannayuganda eyitibwa,  ‘Uganda Chronic Poverty Report’ eraga nti  abantu obukadde  musanvu  mu ggwanga lyonna  baavu lunkupe abatasobola  kwetuusaako byetaago ebyobulamu bw’omuntu  obwa bulijjo.

Wabula bo ababaka 386 aba Palamenti ey’omwenda,  Lipoota eziva mu Palamenti ziraga nti beerowoozaako bokka  era ssente nnyingi ez’omuwi w’omusolo ze  beekomya mu misaala, n’ensako ne ddiiru ez’enjawulo.

Ebimu ku bintu Palamenti by’esaaasaanyizaako ssente

Ekifo ewasimba mmotoka z’ababaka kiwemmense obuwumbi 36

Palamenti yatongozza ekifo ekipya omugenda okusimbibwa mmotoka z’ababaka nga kyazimbiddwa ku buwumbi 36.
Ekifo kino eky’emyaliiro ettaano nga kyazimbiddwa wansi mu ttaka  mu maaso ga Palamenti  okusimbibwamu mmotoka okuli ez’ababaka 386 wamu n’abakozi b’oku  Palamenti n’abagenyi.

Ensimbi obuwumbi 36 (obukadde 36,000) zisobola okuzimba akeedi ttaano mu Kampala ku buwumbi musanvu buli emu.  Ssente zino era  zisobola okuzimba  amasomero ga Pulayimale 72  ag’omu byalo ku bukadde 500 buli ssomero oba okuzimba amalwaliro  45 agali ku ddaala erya Health Centre IV nga gassiddwaamu buli kimu.

Obuwumbi busatu n’obukadde 300  zaAweddewo ku kuddaabiriza  kabuyonjo za Palamenti

Kkampuni  ya  ‘Eastern Builders and Engineers Ltd’  yaakamaliriza okuddaabiriza kaabuyonjo za Palamenti  ku nsimbi obuwumbi busatu n’obukadde 300.

Ddiiru eno ey’obukadde 3,300 yabadde ya kuddaabiriza kaabuyonjo  zonna ez’oku  Palamenti  okuggyamu ebintu ebikadde bateekemu ebipya. Palamenti yonna  erimu kaabuyonjo ezitasukka 20  era zonna bazitaddemu kaabuyonjo  ezituulwako empya.

Kyokka ekyewuunyisa, omulimu guno gwakoleddwa gadibengalye kubanga ezimu ku kaabuyonjo, eby’amazzi ebyassiddwaamu tebikola bulungi.

Ababaka  okuli; Jack Wamanga Wamai (Mbale Munisipaali), Florence Namayanja (Bukoto East), Yona Musinguzi (Ntungamo Municipality) beemulugunyizza  mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga za Palamenti ku mulimu ogwakoleddwa nga bagamba nti tegugya mu nsimbi ezaasaasaanyiziddwa.

Obuwumbi  obusatu n’obukadde 300 Palamenti ze yakozesa ku kaabuyonjo zino zisobola okuzimba ekizimbe ekya kkalina ttaano mu Kampala oba amalwaliro ana (4)  ag’oku magombolola, zisobola okugula bbaasi  22 ez’ekika kya coach ku bukadde 150  buli emu oba Takisi  82 ez’ekika kya kamunye  ku bukadde 40  buli emu.
 
Engendo z’ababaka ebweru zaakawemmenta obuwumbi 29

Mu myaka esatu  gyokka okuva mu 2011, ababaka ba  Palamenti ey’omwenda baakakozesa obuwumbi  29 n’obukadde 200  ezisaasaanyiziddwa  mu nsako ne tikiti z’ennyonyi  ku ng’endo mu mawanga ag’ebweru.

Okusinziira ku biwandiiko ebya Minisitule ey’Ebyensimbi,  palamenti yasaasaanya obuwumbi  mwenda n’obukadde 900 mu mwaka ogw’ebyensimbi 2011/12  n’obuwumbi  mwenda n’obukadde 500 mu mwaka 2012/13 ku ng’endo mu mawanga ag’ebweru.

Mu mwaka guno ogwa 2013/14, ababaka balina bajeti ya buwumbi  mwenda n’obukadde 800 ng’endo mu mawanga ag’ebweru. Kino kitegeeza nti mu myaka  esatu obuwumbi 29 n’obukadde 200 ze zigenda  okusaasaanyizibwa.

Ensonda mu Palamenti zaategeezezza nti buli lunaku omubaka lw’afuluma mu ggwanga okugenda mu ggwanga ery’ebweru oba ku muliraano, aweebwa ensako ya ddoola 560 (eza Uganda akakadde nga kamu n’emitwalo 40.)
Palamenti ey’omwenda yeegulidde erinnya mu kuyiwaayiwa ssente  ku ng’endo ez’ebweru okusinga palamenti endala zonna. Okugeza eyomunaana yasaasaanya obuwumbi 22 mu myaka etaano wakati wa 2006 ne 2011 kyokka eno mu myaka esatu gyokka yaakasaasaanya obuwumbi kumpi 30 nga kisuubirwa nti ekisanja kyayo we kinaggweerako mu 2016, obuwumbi nga 50 bunaaba busaasaanyiddwa.

Obuwumbi bubiri n’obukadde 500 zaakupangisa ofiisi

Buli mwaka, Palamenti esaasaanya obukadde 2,500 (obuwumbi bubiri n’obukadde 500) okupangisa ofiisi ez’abamu ku babaka  ku kizimbe kya Bauman House ekya nnaggagga Sudhir Ruparelia okuva mu 2006.

Endagaano ey’okupangisa ku kuzimbe kino yabadde yaakuggwaako mu mwaka guno  ababaka badde ku kizimbe kya Development House  wabula tekyasobose nga yayongezeddwaayo okutuuka mu 2015. 

Ku Bauman House, Palamenti epangisaako  ofiisi omutuula ababaka 146, ekitegeeza nti  buli  ofiisi emu  egipangisa obukadde 17 buli mwaka. Kino kitegeeza nti buli mwezi, akasenge aka ofiisi  ey’omubaka ku Bauman House,  Palamenti ekasasula akakadde kamu n’emitwalo 40! Ssente zino zisobola okussibwa mu  nnayikonto ez’amazzi  192  buli mwaka  nga buli emu ezimbibwa ku bukadde 13.
 
Obuwumbi bubiri n’obukadde 300 za kuddaabiriza ofiisi ya Development House

Okutandika n’omwezi gwa November 2013, Palamenti egenda kutandika okuddaabiriza ekizimbe kya  Development House ku luguudo Palamentary Avenue   ku buwumbi bubiri n’obukadde 300.

Kalaani wa Palamenti, Jane Kibirige  bwe yabadde mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka n’ensonga za Palamenti, yategeezezza nti Kontulakiti ey’okuddaabiriza ekizimbe kino yawedde okugabwa era balinda Minisitule y’ebyenjigiriza okuvaamu batandike okukiddaabiriza.

Ekizimbe kino kiriko ofiisi 83 bwe kinaaba kiwedde okuddaabirizibwa, abamu ku babaka  mwe bagenda okudda.
Omwaliiro gumu ku Palamenti gunaawemmenta obuwumbi kkumi n’obukadde 600.

Palamenti emalirizza enteekateeka z’okuzimba omwaliiro ogw’omukaaga ku kizimbe kya Palamenti ku buwumbi kkumi n’obukadde 600 (bwe bukadde 1,600). Ng’okuzimba omwaliiro ogwomukaaga kuwedde, Palamenti esuubira okufuna ofiisi endala empya 120 kiyambe okufunira ababaka abatalina ofiisi mwe bakolera n’okusengula abamu ku bali ku Bauman House.

Palamenti  egulidde ababaka essimu za bukadde 976

Ababaka bonna 386, Palamenti ebagulidde essimu  za bukadde 976   era zigenda kubaweebwa okutandika ne November 15 omwaka guno.

Kkampuni  ya Elite Computers Limited, ye  yaweebwa Kontulakiti y’okugulira ababaka amasimu ag’omulembe agayitibwa iPads  ku ddiiru ya bukadde 976 n’emitwalo 60.

Buli ssimu eya iPad  eguliddwa ku bukadde bubiri n’emitwalo 6 ekitegeeza nti buli ssimu esobola okusasula emisaala gy’abasomesa kkumi aba Pulayimale  abasasulwa emitwalo 26 buli mwezi.

Ekisenge ababaka mwe bayonseza abaana kyawemmense obukadde 80

Palamenti eri mu nteekateeka okulongoosa ebisenge bisatu  ababaka abakyala bannakawere mwe basobola okutuula ne bayonsa abaana baabwe.

Ebisenge bino bigenda kusaasaanyizibwako obukadde 80 okubirongoosa.

Obukadde 103 ez’emmotoka;

Buli mubaka wa Palamenti Gavumenti yamugonnomolako obukadde 103  yeegulire emmotoka ensajja eweesa ekitiibwa kyokka abasinga tebaazigula.
 

Engeri Palamenti gy’ediibuuda ssente z’omuwi w’omusolo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...