
LEERO nga November 3, 2013 obudde bugenda kuziba misana. Ku ssaawa 7.05 ez’omu ttuntu okutuuka ku ssaawa 12.38 omwezi nga guli mu lugendo lwagwo okwetoloola ensi, gugenda kusiikiriza enjuba olwo obudde buzibe. Kyokka ku ssaawa 9.39 oz’olweggulo y’egenda okuba entikko y’okusiikiriza kuno ng’ebitundu by’ensi ebimu enzikiza egenda kukwata be ppo.
Ebyalo enzikiza w’egenda okukwata kuliko obuzinga ku liyanja, Atlantic Ocean, obuvanjuba bw’essaza lya Florida mu Amerika, Gabon, Congo, DR Congo, Uganda, Ivory Coast ne Ghana nga gano mawanga mu Afrika era enzikiza yaakumala eddakiika emu n’obutikitiki 39.
Okusiikiriza kuno enzikiza n’ekwata ng’obudde bw’ekiro kwasemba okubaawo emyaka 500 emabega era nga kugenda kuddamu okubaawo nga wayise emyaka 101.
Okusiikiriza okulala okuzze kubaawo mu myaka egy’emabega kubadde kwa kiddedde nga enzikiza tekwata nga bwe kigenda okuba ku luno.
Mu Uganda ekyalo ekigenda okuba mu nzikiza ye Owiny mu disitulikiti y’e Nebbi okumala eddakiika nnamba ate oluvannyuma omusana guddemu okwememula.
Biwanuuzibwa Amawanga mangi gawanuuza ku mwezi okusiikiriza ensi ku njuba ensi n’ekwata ekizikiza era
Abachina bo nga baakubanga ebigoma n’ebirebe nga balowooza nti waliwo essota erigezaako okumira enjuba kino baakikolanga okulitiisa lidduke. Mu kyasa ekiwedde amagye ga China ag’empingu gaatuuka okukuba emizinga mu
bbanga okugoba ‘omusota’ wadde ng’ekituufu kati bakimanyi.
Abayindi bo nga bennyika mu migga, enzizi n’ennyanja okutuuka mu bulago ng’akabonero k’okulaga obwetowaze n’okusabira omwezi n’enjuba byetaasa ku mulabe agezaako okubisanyaawo era nabo omulabe ono nga bagamba nti musota ogw’emitwe musanvu okusobola okubimira.
E Japan baabikkanga mu nzizi zonna obutagendamu butwa obuyinza okuva mu lutalo luno kubanga omusota guno balowooza gulina obusagwa bungi.
Mu Buganda, baagambanga nti omwezi gulwana n’enjuba era kiteeberezebwa buganda lwe yakwata ekizikiza okumala ebbanga eddene kwaliwo ku mulembe gwa Ssekabaka Jjuuko mu 1650.
Ekiseera ekyo enzikiza yakwata emisana ne batya nnyo oluvannyuma ne bawanuuza nti, agamu ku magumba g’omwezi gwe baawangula gaagwa ku lusozi Wagwa.
Abagereki bo omwezi okusiikiriza enjuba bagamba nti, katonda y’aba akutte ekitangaala n’akisikiza enzikiza.
Mu Bayibuli okusiikirizibwa kw’enjuba kwogerwako mu kitabo Ky’okubikkulirwa (6:12) ne mu kitabo kya Amos (8:9).
Omubaka wa Katonda Nabbi Muhammad naye embeera eno agyogerako ng’akamu ku bubonero obulaga amaanyi ga Katonda era buli Musiraamu alina okusaalayo essaala y’omwezi okusiikiriza enjuba ku Ssande (leero) okwongera ku ssaala ettaano ze basaala ku buli lunaku.
Mu Haiti ne Eskimos bwe balaba embeera eno bawanuuza nti, omwezi n’enjuba biba bigenze mu mukwano era nga bijjukiza abali mu mukwano okunyweza omukwano gwabwe.
Oluvannyuma ng’ekizikiza kivuddewo abo ababab babyefaanaanyirizza ebyabwe biba biteredde.
Leero obudde bugenda kuziba misana