
Bya KIZITO MUSOKE
BBANKA ya Uganda enkulu erangiridde nti ssente zonna enkadde eziriko omwaka gwa 1987, zikoma okukozesebwa ku Lwokubiri nga December 31, 2013 ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu.
Akolanga omwogezi wa Bbanka enkulu, Christine B. Alupo agamba nti kino kino kiddiridde gavumenti okutandikawo enkola y’okuggya ssente zonna enkadde mu bantu nga kino kyatandika mu December wa 2012, bwe yalangirira nga ssente zino bwe zaali zitandise okukung’anyizibwa okuva mu bantu.
Abantu baaweebwa amagezi okugenda mu bbanka zonna baweeyo ssente zino enkadde baziwaanyiseemu n’empya era ne bakikola.
Oluvannyuma Bbanka era yalangirira nga zino bbanka zonna bwe zaali tezikyakkirizibwa kuwaanyisa ssente zino okuggyako mu Bank ya Uganda enkulu zokka, era nga mu kiseera kino abasinga bamaze okuziwanyisa.
“Ndi musanyufu era nga njagala okwebaza abantu bonna abafuddeyo okuwaanyisa ssente zaabwe, kuba mu kiseera kino ssente enkadde ezisigadde mu bantu tezikyasukka bitundu bibiri, ku ssente zonna ezaalimu. Kyokka ndabula abantu bonna abakyayinza okuba nga bakyazikukulidde okukikola mu bwangu, baziwaanyise nga December 31, 2013, terunnatuuka beewale okufi irwa,” Alupo bwe yategeezezza.
Empapula zino ezitakyakozesebwa mu buguzi bwa ngeri yonna mu kiseera kino kuliko akapapula ka 1,000/- 2,000/-, 5,000/-, 10,000/-, 20,000/-ne 50,000/-.
Alupo alabula abantu obutatunuulira ssente zino nga balowooza nti bategeeza ezo zokka ezirabika nga zikaddiye mu ndabika. Agamba nti ssente zino ne bwe zibeera nga empya era nga zaafulumizibwa emyaka etaano emabega, zibalibwa nga nkadde, era nannyini zo olina okuzanguyira okuzitwala ku emu ku ofi isi ya Bank ya Uganda enkulu.
Mu kiseera kino ssente zino zikkirizibwa okuwaanyisibwa ku ofi isi za Bank ya Uganda enkulu zokka okwetooloola eggwanga okuli ey’e Kampala, Jinja, Mbale, Gulu, Mbarara, Arua, Masaka, Fort-Portal, ne Kabale.
Ssente enkadde zikoma December 31