TOP

Lukwago eby''okumugoba abigaanye

Added 14th November 2013

LOODI meeya Erias Lukwago atuuzizza olukiiko lwa bannamawulire n’awakanya byonna ebisaliddwaawo n’agamba nti agenda kwegeyaamu n’abantu ab’obuvunaanyizibwa ab’enjauwlo mu ggwanga asalewo eky’okukola.



 

LIPOOTA Y'ESEMBA WANSI

Bya Hanningto Nkalubo

LOODI meeya Erias Lukwago atuuzizza olukiiko lwa bannamawulire n’awakanya byonna ebisaliddwaawo n’agamba nti agenda kwegeyaamu n’abantu ab’obuvunaanyizibwa ab’enjauwlo mu ggwanga asalewo eky’okukola.

Lukwago yagambye nti guno si gwe mulundi ogusoose nga gavumenti ya Pulezidenti Museveni emusimba mu kkooti era ng’emusingisa emisango naye ng’emulemererwa. 

Omulamuzi Catherine Bamugemereire ng'akwasa Minisita wa Kampala lipoota ku Lukwago. EKIF: STEVEN MUSOKE

Lukwago yagambye nti ne ku luno ajja kukola kyonna ekisoboka okusigaza ekifo kye nti era amanyi olutalo ajja kuluwangula kubanga akyalina obuwagizi bw’abantu abaamulonda.

“Ebiri mu lipoota sibyewuunyizza kubanga mbadde mbimanyi, mbadde mbisuubira era bye nzize mbagamba bulijjo,” bwe yategeezezza mu lukung’aana omwabadde mujjudde bannabyabufuzi ab’enjawulo. Bannabyabufuzi bano baawadde ensonga eziwerako lwaki balowooza nti lipoota nfu omuli:

Minisita wa Kampala, Frank Tumwebaze ng'alaga alipoota eyasingisizza Lukwago emisango gyonna.  EKIF: STEVEN MUSOKE

 Nti akakiiko kaateekebwawo mu bukyamu era tekaakola mu mateeka. Bagattako nti Oludda lwa Lukwago terwasooka kufuna mukisa kuwulirwa.

Omulamuzi Catherine Bamugemereire ng'ayogera mu lukung'aana lw'abaamawuilire oluvannyuma lw'okufulumya lipoota ku Lukwago. EKIF: STEVEN MUSOKE

Baagasseeko nti akakiiko kaali kateekwa kuwuliriza nsonga mu lwatu naye byonna kaabikola mu nkukutu nti ate be balooya baali bagaaniddwa okuwuliriza ensonga z’omuwaabi n’okubuuza ebibuuzo.

Okuva ku ddyo, Besigye ng'ayogeraera mu lukung'aana lw'abaamawulire. Wakati ye Lukwago eyagobeddwa ne Semuju Nganda omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti. EKIF: HANNINGTON NKALUBO

Baayongeddeko nti lipooti yali eteekwa kufulumizibwa mu wiiki esooka mu mwezi gwa August naye efulumiziddwa mu November.

Lukwago ng'ayogerera mu lukung'aana lw'abaamawulire. EKIF: HANNINGTON NKALUBO

Nti era Lipooti ebadde eteekwa kusomerwa mu lwatu era mu kifo awaali okunoonyereza naye tekikoleddwa.

 

 

Yiino lipoota eyafulumiziddwa akakiiko akaatekebwawo okubuuliriza ku Loodi Meeya Erias Lukwago (mu Luzungu)

THE REPORT OF TRIBUNAL 12 11 2013updated 8PM trial.pdf

 

 

  

Lukwago eby''okumugoba abigaanye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...