
Bya Alice Namutebi
Richard Arinaitwe akyajjukira ennyo olw’okugwa omulamuzi mu bulago ng’amulaga engeri gye yattamu omuwala mu musango ogwali gumuvunaanibwa n'asalirwa ekibonerezo kya kuwanikibwa ku kalabba, asaabye kkooti enkulu emukendeereze ku kibonerezo.
Arinaitwe abadde yaakamala mu kkomera e Luzira emyaka 15 bwe yasalibwa ekibonerezo ky’okuwanikibwa ku kalabba ng'asingisiddwa omusango gw’okutta omuwala Omumerica, Cecilia Marie Goetz, mu woteeri ya Equatoria mu Kampala mu 2003 kyokka n’okutuuka kati abadde tawanikibwanga.
Munnamateeka we, Micheal Akampwera w'asinzidde okusaba omulamuzi Joseph Mulangira akendeereze ku Arinaitwe ekibonerezo kubanga ebbanga ery’emyaka 15 ly’amazze mu kkomera aboneredde era akyusizza ne mu nneeyisa ye.
Akampwera yasabye omulamuzi amwongereyo emyaka 3 gyokka olwo gifuuke 18 kubanga ekibonerezo ky’okuwanikibwa ku kalaba tekigenda muyamba kwongera kukyusa mu mpisa n'enneeyisa ye.
Akampwera era yategeezezza nti okusinziira ku mateeka agafuga amakomera, omuntu aba awereddwa ekibonerezo nga kino asibwa emyaka 20 gyokka.
Oludda oluwaabi lwalemeddeko ne lutegeeza nti Arinaitwe asaana kusigala ku kibonerezo ekyamuweebwa olwo abantu basobole okufuna ku buweerero era omulamuzi Mulangira n'ateekawo olwa nga 22, lw'agenda okuwa ensala ye.
Arinaitwe eyaleeteddwa mu bukuumi obwamaanyi ng'aatambula yeetooloddwa abaserikale b'amakomera 5 yalabise nga mugumu nnyo era olwatuuse mu kkooti n'atuula n'asalako ng'okutuusa we yayingidde mu kaguli.
Kinajjukirwa nti nga July 28, 1998, Arinaitwe yatta Cecilia Marie Goetz bwe yamusanga mu woteeri n'amusogga ebiso ebyamuttirawo .
Arinaitwe asabye kkooti emukendeereze ku kibonerezo ky''akalabba