TOP

Bannayuganda abakomyewo balojja ekiri e Juba

Added 22nd December 2013

BANNAYUGANDA 5,005 mu Uganda nga bano babadde South Sudan nga bayiiya ssente kyokka olw’olutalo olwabaluseewo mu ggwanga lino batandise okwetegula ekibabu.Bya KIZITO MUSOKE ne GODFREY SSEMPIJJA

BANNAYUGANDA 5,005 mu Uganda nga bano babadde South Sudan nga bayiiya ssente kyokka olw’olutalo olwabaluseewo mu ggwanga lino batandise okwetegula ekibabu.

Ku bano 105 baayitidde mu bbanga ng’ennyonyi z’amagye ga UPDF ze zaabatuusizza ku kisaawe e Ntebe ku Lwokutaano ku ssaawa 10 ez’akawungeezi.

Bajjidde mu nnyonyi ya Uganda Air Cargo eyapangisiddwa gavumenti. Mu bajjiddemu kwabaddeko abaana 16, abalala baabadde bantu bakulu.

BALOMBOZZE EMBEERA ERI E JUBA
Bannayuganda baalombozze embeera eri e Juba nti ekaabya amaziga kubanga okuva olutalo lwe lwabalukawo ku Lwomukaaga ekiro abamu baakubwa amasasi kyokka tebalina bujjanjabi bwe bafuna, mazzi, mmere ate abalala basibiddwa mu makomera tebalina buyambi. Ng’oggyeeko obutafuna kyakulya kyonna teri na kukomba ku mpeke yaatulo.

Ku baakomezeddwaawo kuliko musanvu abaakubiddwa amasasi, waliwo abazze n’eccupa z’amazzi ku mikono n’abalina ebiwundu.Omukyala ng'annyonyola embeera ye Juba

ABANTU BASALIBWA NGA MBUZI
Annet Kyogabirwa agamba: Embeera mbi nnyo e Juba abajaasi bajja n’emmundu ne bakuba bukubi masasi mu bantu abamu ne babasala ne babaleka awo, abalala babasalako obulago ng’abasala embuzi.

Jane Namalwa: Ebintu bye byonna byayonooneddwa ng’ate abadde yaakabisuubula.
John Bosco Misanvu: Embeera eriyo etiisa nnyo kubanga tolina w’oddukira, wonna amasasi gavuga buli kifo awatali kusiriikiriza emisana n’ekiro.

Abalala abalojja embeera y'eSudan kuliko Kaweesa Edward akola masannyalaze ng’abeera Najjanankumbi, Mwanje Keefa abeera Makindye, Kisekka Pafula muvuzi wa mmotoka mutuuze w’e Kasangati n’abalala bangi abaakomyewo nga bafeesa.


Aba UPDF nga bateeka abaalumiziddwa mu ambyuleensi okubatwala mu ddwaaliro.

ABAJJIDDE KU TTAKA NABO BATENDA EKIBABU
Merida Nadunga w’e Budadiri agamba nti, Mmaze ennaku ssatu nga sirina kye ndidde. Nali nakitegeka dda nga nnina okusimbula ku lunaku lwa Ssande (ewedde) nkomewo mu Uganda, nsobole okulya n’abantu bange Ssekukkulu.

Ku Ssande nalinnye bbaasi ya Bakulu, okukomawo awaka, ku ssaawa 10 tugenda okuwulira ng’amasasi gavuga. Abaali balowooza nti bya kusaaga amasasi geeyongerera ddala okuvuga.

Mu kiseera ekyo twali tetulina ngeri gye tusobola kutambulamu kukomawo. Abasirikale ba South Sudan baatulagira obutafuluma mu bbaasi ezaali zisimbye mu ppaaka. Olutalo lwe twalowooza nti lugenda kuggwa mangu lwagaana ng’amasasi tegasirika.

Twatudde mu bbaasi okumala ennaku ssatu okutuuka ku Lwokusatu nga tetufulumyemu. Ennaku zino zonna tubadde tetulya mmere, okujjako obwokulya bwe twabadde nabwo obutono.

Mu kiseera ekyo paaka ya bbaasi yabadde yonna yeetoloddwa abaserikale abagikuuma.

Oluvannyuma twasimbudde ku Lwokusatu ku ssaawa 2:00 ez’oku makya oluvannyuma lw’okututegeeza nti mu kkubo tewali buzibu.

Twatambudde bulungi era mu kkubo tetwasanzeemu buzibu okutuuka ku ssaawa 10:00 ze twatuukiddeko e Gulu.

Omukyala ne mutabani we, n'abantu abalala nga baakatuusibwa ku kisaawe e Ntebbe.


Samuel Okot w’e Kitgum- amagye ga Sudan gaatusuzizza mu kkomera. Bwe nalaba ng’embeera etandise okwonooneka, nasalawo okukomawo e Uganda.

Olunaku lwa Mmande lugenda okutuuka ng’embeera etabukidde ddala, kyokka nasobola okusaliikiriza okutuuka mu ppaaka.

Bbaasi mu paaka nagirinnye ku Lwakubiri ku Lwokusatu ne tusimbula.  Bwe twatuuse ku nsalo ya Uganda ne Sudan, abasirikale ba Sudan baatukutte ne batuggalira abantu 50, nga tewali nsonga yonna gye batuwadde. Twabalaze buli kiwandiiko ekitukwatako kyokka ne batuggalira, nga kwe bateese n’okutukuba.

Baatuyimbudde mu kiro ky’Olwokuna okujja mu Uganda, kyokka nga tewali musango gwonna gwe batuvunaanye.

Nagenze okutuuka e Kampala ng’ebintu byange sibiraba. Bwe mbuuza aba bbaasi bang’amba kimu nti biri mu sitoowa, alina ebisumuluzo talabikako.

OMUKAGO GWA AFRIKA GUBIYINGIDDEMU

Gavumenti ya Uganda efulumizza ekiwandiiko ng’ekibiina ekigatta amawanga ga Afrika ekya AU bwe kisindise abakungu baakyo e Sudan okuteesa okuzzaawo emirembe e Juba.

Abakungu ba AU abaakulembeddwa Katikkiro wa Ethiopia era nga ye ssentebe wa AU Hailemariam Desalegn, Okello Henry Oryem ono nga minisita wa Uganda omubeezi ow’ensonga z’omunda, Mahamoud Ali Youssouf minisita w’ensonga zeebweru owa Djibout, Amina Mohamed owa Kenya, owa Somalia ne Sudan be baagenze okuteesa okuzzaawo emirembe.

Okulwanagagana kukyagenda mu maaso nga mu ggwanga lino. Bannanyuganda musanvu balumiziddwa mu lutalo ate abakyala Bannayuganda babiri bakakiddwa omukwano mu kanyolagano akali e Juba ate abaafudde omuwendo tegumanyikiddwa.

Ne bano baabadde Juba

OBAMA ASINDISE BAKOMANDO E JUBA
AMERIKA esindise bakomando abakambwe e Juba okutaasa abantu baayo abali mu ggwanga lino n’ekitebe kyabwe.

Pulezidenti Obama asindise abajaasi 45 okutaasa ekitebe kya Amerika ekisangibwa e Juba obutayonoonebwa lutalo n’okutaasa abantu baayo.

“Abasudani mu 2011 beetaba mu kukuba akalulu okussawo eggwanga eppya era ne beeyama okussaawo emirembe n’ enkulaakulana, kyokka ekiseera kino ekintu kye baasuubiza bakisudde bazzeeyo mu biseera by’entalo n’obusambatukko kino kyennyamiza nnyo” Obama bwe yagambye okusinziira ku lupapula lwa Daily Mail.

Asabye Abamerika bonna abali e Juba okukyamuka amangu era n’asaba enjuyi zombi okutuula ku mmeeza okukkaanya.

Bannayuganda abakomyewo balojja ekiri e Juba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...