TOP

Omuggaga agabidde omupakasi maama w'abaana

Added 30th December 2013

OMUKAZI atunudde ebiriroliro bw’asabye bba emmotoka okukyakalako ku lunaku olukulu, kyokka n’agimukwatiramu lubona n’omukozi w’awaka nga bali mu kwerigomba wabweru w’amakaage mu matumbibudde.



Bya PATRICK TUMWESIGYE

OMUKAZI atunudde ebiriroliro bw’asabye bba emmotoka okukyakalako ku lunaku olukulu, kyokka n’agimukwatiramu lubona n’omukozi w’awaka nga bali mu kwerigomba wabweru w’amakaage mu matumbibudde.

Bino byabaddewo ekiro kya December 26 omugagga w’e Kajjansi Fred Kayongo omusuubuzi w’ettaka n’amayumba bw’akutte mukazi we Annet Nakawungu 35 gw’alinamu abaana bana ng’ali mu kusinda mukwano n’omukozi w’awaka Andrew Galiwango 28 mu mmotoka ye gye yawadde omukazi okugendako ‘awutu’. Kayongo yategeezezza nti, aludde ng’afuna olugambo nti, omukoze we Galiwango abojjerera mukyalawe naye nga takitwala nga nsonga era ng’amanyi nti byabulimba wabula ennaku zino abadde alaba ng’embeera y’omukazi ekyuse n’atatandika okumwekengera.

“Olw’okuba mbadde ntandise okubeekengera, omukazi bwe yansabye emmotoka agende akyakaleko nayanguye okumuwa ebisumuluzo olwo nze ne nneefuula omulwadde ennyo nga njagala kukaksa oba ng’abantu bano balina ekyama,” Kayongo bwe yategeezezza.

 

Ssemaka Kayongo n'omusiguze Galiwango

 

Yayongeddeko nti kyamuwalirizza okussaawo abantu batambulire ku mukyalawe era ne bamubega yonna gye yatambudde okutuusa lwe zaaweze ssaawa ttaano ezeekiro n’agenda n’ateeka Galiwango mu mmotoka n’amuleeta awaka mu luggya ne batandika okweggweera.

Abaabadde babega mukyala wange bwe baalabye ng’emmotoka esimbye wansi w’omuyembe ne bankubira essimu nange ne nkubira poliisi y’e Kajjansi eyakulembeddwaamu omuduumizi waayo Edson Muganzi ne babakwatira mu kikolwa. 

Nakawungu olukwatiddwa mu bwenzi yalumirizza bba nti alinayo omukazi omulala era okuteeka Galiwango mu mmotoka ekiro ekyo yabadde ayagala amuyambeko okubega bba bazuule wa gy’alina omukazi omulala era nti babadde tebeerigomba.

Galiwango omusiguzi

Wabula ye Galiwango amuyiyeeyo n’akakasa nti kituufu baakwatiddwa mu kokolwa era bamaze ebbanga lya mwaka mulamba nga beeyagala mu nkukutu n’asaba mukamaawe Kayongo okumusonyiwa aleme kumugoba kubanga omukazi ye yamukema era nti abadde akikola okusobola okukuuma omulimu.

Kayongo ategezezza nti mukyalawe ono gw’alinamu abaana abana yamwanjula mu bakadde be e Ziroobwe Namponge mu 1996 n’atageeza nti talina bw’ayinza kumuddira.

Yamuwadde mmotoka n’abaako ebintu by’omu nnyumba bye yamusibidde n’amugoba agende n’omukozi yadde ye Galiwango omukozi yagaanyi okuvaawo.

Mmotoka mwe baabadde beerigombera.

Omuggaga agabidde omupakasi maama w’abaana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...