TOP

Lukwago awera kudda mu ofiisi wiiki ejja

Added 30th December 2013

Erias Lukwago agobye abaserikale ababadde bamutambulirako nga bamukuuma n'agamba nti takyalina busobozi bubabeezaawo.



Bya Hannington Nkalubo

Erias Lukwago agobye abaserikale ababadde bamutambulirako nga bamukuuma n'agamba nti takyalina busobozi bubabeezaawo.

Agambye nti tebakyamusasula ssente ate nga n'emmotoka ebadde ebatambuza kkampuni ya Cooper Motors gye yagitutte okugikanikibwa baagiboye kati tasobola kubatambuza.

Yabakwasizza omumyuka we Sulaiman Kidandala Sserwadda eggulo abazzeeyo n'ategeeza nti kino akikoze mu bulumi kubanga babadde bamuyamba nnyo ate nga ye talina wadde akasaale ke yali asabye okwekuumisa.

Bino yabirangiridde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza mu makaage e Lubaga (ku Mmande) ng'ali n'omumyuka we Sulaiman Kidandala Sserwadda, meeya w'e Kawempe, Mubarack Munyagwa ne kansala Allan Ssewanyana.

Yagambye nti ku Mmande ya wiiki ejja nga January 6/ 2014 ayise olukiiko okumusalirawo ekiddako kubanga ofiisi ya Loodi Meeya abadde tagiddukanya bw'omu.

Yaweze nti enkuba k'etonnye oba omusana gwake agenda kuddayo mu ofiisi ye wiiki egya .

"Mbadde nnyimirizza okuyingira ofiisi yange lwakuba Palamenti ebadde ekola ku nteeseganya naye tezaavuddemu kalungi konna kati ka ng'endere ku mateeka nnyingire ofiisi, " Lukwago bwe yagambye.

Yagambye nti oluyingira ofiisi wiiki ejja, agenda kutandikira ku kubuuza dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi ensasaanya ya ssente za gavumenti ezizze zikozesebwa ng'olukiiko lwe olufuga ekibuga mu mateeka teruziyisizza.

"Njagala embalirira z'ekitongole ebbiri okuli nze gye nnassaako omukono ey'obuwumbi 170 n'ey'obuwumbi 200, minisita ze yayanjula mu Palamenti bambuulire kye zikoze," Lukwago bwe yagambye.

Yategeezezza nti mu mateeka ateekwa kubeera mu ofiisi ye era tagenda kuguminkiriza kugiyingira ye agenda kutwala obuvunaanyizibwa okussa mu nkola ekiragiro kya kkooti.

Lukwago yagambye nti kyennyamiza obutamusasula musaala gwe wadde abakozi mu ofiisi ye n'amafuta g'emmotoka okuba nga tazifuna.

"Byonna bye bagezezzaako okunkola bimenya mateeka era ekiseera kiweddeko kati njagala ekiragiro kya kkooti kikole kubanga akaseera ke mbawadde ku nteseganya kafiiridde bwereere," Lukwago bwe yagambye.

 

Lukwago awera kudda mu ofiisi wiiki ejja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...