TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Engeri bagenero b''e Rwanda gye bazze batemulwamu eyeewuunyisa

Engeri bagenero b''e Rwanda gye bazze batemulwamu eyeewuunyisa

Added 6th January 2014

Col. Patrick Karegeya, 53, yatemuddwa ku Lusooka omwaka! Abatemu baamufumbiikirizza mu wooteeri ey’ebbeeyi mu South Afrika ne bamutuga!Bya MUSASI WAFFE

Col. Patrick Karegeya, 53, yatemuddwa ku Lusooka omwaka! Abatemu baamufumbiikirizza mu wooteeri ey’ebbeeyi mu South Afrika ne bamutuga!

Kigambibwa nti abatemu baawenduddwa kuva Rwanda, ne beeyambisa omuguwa ogw’akagogwa gwe baamusibye mu bulago ne bamyumyula okutuusa lwe gwamukalizza.

Poliisi y’e South Afrika yagenze okutuuka mu Michelangelo Towers Hotel mu kibuga Johannesburg abatemu mwe battidde Karegeya, baasanze muguwa na tawulo enjeru yonna ng’ebunye omusaayi, abatemu gye beesiimuzizza nga misoni ewedde.

Col. Karegeya ye yali akulira ekitongole kya Rwanda ekya bambega abaketta ebweru w’eggwanga wakati wa 1990 ne 2004 era ng'ali ku lusegere nnyo ne Maj. Gen Paul Kagame.

Wabula baayawukana bubi nnyo mu 2004, n’aggyibwako ekitiibwa ky’obwakonolo mu magye n’asibwa ne mu kkomera kyokka n’atolokayo, ekiwejjowejjo mu buwang’anguse e South Afrika gy’abadde amaze emyaka musanvu n’ayogerera Kagame ebikankana.

Assiel Kabera

Mu buwang'anguse, Col. Karegeya abaddeyo n’Abanyarwanda abalala abadduka Kagame era ebbanga lyonna Karegeya ne banne bbaddenga mu kutya okutemulwa ekiseera kyonna.

Rwanda yeegulidde erinnya ng’emu ku nsi ezitagumiikiriza bantu batakkaanya na gavumenti omuli bannabbyafuzi, bannamagye ne bannamawulire era ebikolwa eby’ettemu ku batawagira Gavumenti bizze bibaawo.

Bangi ku bannabyabufuzi bavundira mu makomera olw’okwesimba mu Kagame!

Bwatyo ne Karegeya eyateddwa ku Lusooka omwaka, yeegasse ku lukalala lw’abantu abalala abatakkaanya na gavumenti batemuddwa munda mu ggwanga e Rwanda n’ebweru mu mawanga gye bawang’angukira okwewogoma Kagame.

Bano be bamu ku bawakanya gavumenti ya Rwanda abazze batemulwa:

 • Seth Sendashonga 47, eyali Minisita w’ensonga ezomunda yatemulwa nga May 16, 1998 mu kibuga Nairobi. Omutemu yamuteega ng’adda awaka n’amusasira amasasi agaamuttirawo ne ddereeva we Jean-Bosco Nkurubukeye, Sendashonga yali Minisita okutuuka mu 1995 lwe yalekulira n’addukira e Nairobi gye yali yakamala emyaka emyaka esatu n’alyoka atemulwa.

 

 • Augustin Bugirimfura yali musuubuzi era munnabyabufuzi eyali akolagana ne Sendashonga naye abatemu baamukuba amasasi e Nairobi mu 1998.

 

 • Col. Theoneste Lizinde, yali ofiisa mu magye ga Rwanda n’afuna obutakkaanya ne Pulezidenti Kakame, yatemulwa mu 1997 e Nairobi.

 Charles Ingabire

 •  Jerome Ndagijimana eyali ow’ekibiina kya FDU-INKINGI , ekivuganya mu Rwanda yatemulwa nga December 26, 2010, mu Kampala mu Muzaana Zooni e Mmengo- Kisenyi. Abatemu baamuyingirira ne bamusala obulago!

 

 • Charles Ingabire , munnamawulire eyali addukanya omukutu gwa Yintaneti oguyitibwa ‘Inyenyeri. com’ , yali avumirira nnyo Kagame, kyokka baamuteega ava mu bbaala e Bukesa-Kikoni Makerere mu Kampala ne bamukuba amasasi n’afiirawo.
 • Assiel Kabera, yali muwabuzi wa Kagame n'akubwa amasasi mu mwaka gwa 2000.

 

 • Col. Charles Ngoga yatemulwa na butwa.
 • Lt. Col Wilson Rutayisire yatemulwa mu 2000. 
 • Lt. Col. Augustine Kiiza,
 •   Major Alexis Ruzindana,
 • Assiel Kabera,
 • Major Sam Byaruhanga
 • Andre Kagwa Rwisereka.

Ng’oggyeeko bano, waliwo n’abantu abalala abangi abatemuddwa mu kasirise e Rwanda olw’ebigambibwa nti basekeeterera gavumenti nga bakolagana n’Abahutu abeenyigira mu kittabantu ekya 1994.

Sendashonga

Nga tannatemulwa, Col. Karegeya yasinziira e South Afrika mu July wa 2010 n’ayogerera ku BBC ng’alumiriza Kagame nti alina ekibinja ekitemula abamuvuganya n’akimussaako nti ye yalagira okuttibwa kwa Sendashonga, Col. Lizinde, Lt. Col. Kiiza, Maj. Ruzindana, Kabera, Col. Ngoga, Maj. Byaruhanga ne Rwisereka.

Karegeya yategeeza nti olukalala lw’abatemu abaakatemulwa okuva mu 1994 ku biragiro ya Gavumenti basoba mu 100 n’alumiriza nti waliwo ekibinja ky’abatemu abakola misoni ez’okutemula abantu munda n’ebweru w’eggwanga.

Ng’oggyeeko abo abatemuddwa, waliwo bannamagye ne bannabyabufuzi abawakanya gavumenti abazze basimattuka okuttibwa era mu mawanga ag’enjawulo gye bali mu buwang’anguse era nabo olukongoolo balutadde ku gavumenti ya Rwanda nti y'eyagala okubasaanyawo. 

BUNGEREZA LWE  YALABULA KAGAME

Eyasse Karegeya bamwogedde
Ensonda mu South Afrika zaategeezezza nti okuva mu June wa 2010, abatemu lwe beegeza mu Nyamwasa, gavumenti ya South Afrika yayongera obukuumi Abanyarwanda bonna baawang’angukirayo omuli ne Karegeya era babadde bamufunyeemu akalembereza abamu ku bbo ne batandika n’okugayaala.

Lt. Gen Nyamwasa yategeezezza bannawulire ku Lwomukaaga nti tewali kubuusabuusa, olukwe lw’okutta Karegeya lwavudde Rwanda.

Nyamwasa yagambye nti waliwo omusajja gwe banoonya ayitibwa Apollo Ismael Kisiriri nga  Munnywanda gwe yagambye nti ye yasenzesenze Karegeya okutuuka mu batemu abaamusse era nti gwe baasembayo okulaba n’omugenzi ku wooteeri.

Leah Karegeya, nnamwandu wa Karegeya agamba nti bba yamutegeeza nti alina abantu be yalina okusisinkana ku wooteeri nga yali tasuubira kulwayo kyokka yamulinda okutuuka obudde lwe yalaba nga bususse n’akuba ku ssimu ye kyokka ng’eggyiddwako.

Maj. Gen. Paul Kagame

GAVUMENTI YA RWANDA YEEGAANYI
Omubaka wa Rwanda mu South Afrika, Vincent Karega yategeezezza nti ebyogerwa bigendererwamu kwonoona mukama we Kagame ne gavumenti.

“Gavumanti ya Rwanda terina nkola ya kutemula bagivuganya “, Karega bwe yaegeezezza Leediyo ya SAFM ey’omu South Afrika.

Yagambye nti nga gavumenti bakyalinda ebinaava mu kunoonyeteza kwa Poliisi kyokka n’akisimbako amannyo nti gavumenti ya Rwanda teinza kutta abantu baayo.

Bungereza lwe yalabula Rwanda ku batemulwa
MU May wa 2011, Gavumenti ya Bungereza ng’eyita mu kitongole kyayo ekikessi ekya Mi5, kyawandiikira bannabyabufuzi n’Abanyarwanda abali mu buwanguse mu Bungereza okwegedenreza kubanga kyali kigudde mu lukwe olwa gavumenti ya Rwanda okubawondera babatemulire ku mawanga.

Ekitongole kya Mi5 okutuuka okulabula Abanywanda abali mu Bungereza , kyaddirira omusajja ow’emyaka 43 enzaalwa ya Rwanda kyokka ng’alina obutuuze bwa Bubirigi, okukwatibwa mu kitundu Folkestone e Kent n’olukalala ku misoni ey’okutemula abalabe ba Kagame.

Abamu ku baali ku lukalala lw’omutemu ono ye; Rene Mugenzi ne Jonathan Musomera ng’ono yali ofiisa w’amagye ga Rwanda era nga ye mutandisi w’ekibiina kya Rwanda National Congress (RNC).

Kw’olwo, gavumenti ya Bungereza yalabula omubaka wa Rwanda mu Bungereza nti singa wanaabaawo ekituuka ku Banyarwanda abali mu buwang'anguse, gavumenti ya Kagame egenda kuvunaanyizibwa butereevu era kino kye kyawonya abaali ku lukalala okuttibwa.

Mu June wa 2010, abatemu bwe beegeza mu Lt. Gen Faustin Kayumba Nyamwasa , eyali ‘Chief of Staff mu magye ga Rwanda kyokka n’atabuka ne Kagame n’addukira e South Afrika.

Abatemu baamwegezaamu enfunda bbiri kyokka Mukama n’azza bibye! Omulala Frank Ntwali, ow’ekibiina kya RNC, abatemu baamulumba e South Afrika mu August wa 2012 ne bamufumita ebiso ne balowooza nti bamusse kyokka n’asimattuka era yamala ebbanga mu ddwaaliro.

Ate munnamagye Innocent Kaliisa, eyali omu ku bakuumi ba Kagame yawambibwa kuva mu Uganda gye yali addukidde n’abuzibwawo okumala emyezi ebiri, oluvannyuma baamuzzaayo e Rwanda. n’aggalirwa.’

Engeri bagenero b''e Rwanda gye bazze batemulwamu eyeewuunyisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...