TOP

Gen. Bashir yeefuulidde Salva Kiir

Added 9th January 2014

PULEZIDENTI wa South Sudan Gen. Salva Kiir Mayardit, olutalo lwongedde okumukaluubirira, Pulezidenti wa Sudan, Omar Hassan Ahmed al Bashir eyabadde amusuubizza eggye okumuyambako okufufuggaza bakyewaggula bw’abisazizzaamu n’amuleka afe yekka.



Bya Musasi Waffe
PULEZIDENTI wa South Sudan Gen. Salva Kiir Mayardit, olutalo lwongedde okumukaluubirira, Pulezidenti wa Sudan, Omar Hassan Ahmed al Bashir eyabadde amusuubizza eggye okumuyambako okufufuggaza bakyewaggula bw’abisazizzaamu n’amuleka afe yekka.

Bashir okwefuula kitadde Gen. Kiir mu kattu kubanga kiwadde bakyewaggula enkizo mu bitundu omuli enzizi z’amafuta era abayambi be e Juba baategeezezza nti mukama waabwe yavudde mu mbeera n’ajula okusambasamba abaamubade mu maaso ng’eno bw’atuuyana okukamala.

Ekyasinze okunyiiza Gen. Kiir kwe kuba nti Bashir yabadde amukakasizza ku Mmande bwe yamukyalidde e Juba nti tayinza kumuvaamu era ne bakkaanya nti Salva Kiir asindike bagenero be ne baminisita e Khartourm ku Lwokusatu okuttaanya ddiiru.

Minisita ow’ensonga ez’Ebweru Barnaba Marial Benjamin olwabadde okutuuka ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Khartourm ne bakamutema nti ddiiru Bashir yagiyiye mpozzi nga bagenda kwogera ku nsonga ndala.

Minisita Benjamin yakutte essimu n’akubira mukama we Gen. Kiir n’alya obuwuka n’amulagira okudda e Juba bayiiye ekirala.

Omwogezi wa minisitule y’Ensonga Ezeebweru mu Sudan, Abu Bakr Mohamed Al-Amin yagambye nti eby’okusindika amagye e South Sudan tebijja kubaawo kubanga waliwo ensonga Pulezidenti Bashir ze baamutunuzzaamu nga tekijja kusoboka.

Bashir yabadde agenda kusindika mu ddwaaniro abajaasi kumpi 7,500 okwegatta ku ba Uganda abasoba mu 3,000 ab’ekibinja kya Special Forces, Pulezidenti Museveni be yasindise e Juba n’ebibuga ebirala ebya South Sudan okuyamba ku magye ga SPLA okukuuma ekibuga Juba naddala ekisaawe ky’ennyonyi, amaka g’Obwapulezidenti n’ebifo ebirala eby’omugaso.

Abaserikale nga bakuuma emirembe e Juba.

Kiir akoze ddiiru n’ekibinja kya Ssaabalwanyi Yau Yau
Ddiiru ya Bashir bwe yayiise, Gen. Kiir n’akutula ddiiru endala ne Ssaabalwanyi David Yau Yau akulira ekibinja ky’abalwanyi ab’eggwanga ly’aba Murle abaakazibwako erya Yau Yau nga bano basoba mu 6,000.

Ekibinja kya Yau Yau kyatandikibwawo mu 2010 nga kibadde kirwanyisa gavumenti ya Gen. Kiir nga kisinziira mu kitundu ky’e Pibor ne Likuangole mu Jonglei State gye kibadde kirina enkambi abalwanyi mwe bava okukola ennumba ku gavumenti.

Wabula Gen. Kiir yakkaanyizza n’akulira ekibinja kino David Yau Yau n’akkiriza abalwanyi be okwegatta ku bajaasi ba SPLA okuyambako mu kununula ekibuga Bor, ekiri mu mikono gya bakyewaggula ba Dr. Riek Machar.

Gen. Kiir yakkaanyizza ne Yau Yau okulwanira awamu mu masaza gonna asatu (3): Jonglei, Unity ne Upper Nile States agali mu mikono gya Machar ate nga ge galimu enzizi zonna ez’amafuta agasimibwa mu South Sudan.

Ensonda e Juba zaategeezezza nti Gen. Kiir yatumye minisita we Oweebyokwerinda Koul Manjang Juuk okukola endagaano ne David Yau Yau era byonna byakoleddwa ku Lwokusatu.

Abajaasi ba SPLA n’abalwanyi ba Yau Yau basuubirwa okukola olulumba ssinziggu ku kibuga Bor mu wiiki eno nga Gen. Kiir yawadde ebiragiro nti ayagala bakyewaggula bagobwe mu bifo mwe bagumbye mu wiiki emu yokka.

Amerika eragidde Kiir
Amerika eggulo yalagidde Pulezidenti Kiir okuyimbula Bannabyabufuzi bonna abaggalirwa ku bigambibwa nti baali ku lukwe olw’okuwamba gavumenti nga December 15, 2013 ekyavaako olutalo.

Bannabyabufuzi 11 okwali n’abali baminista be baasooka okukwatibwa kyokka oluvannyuma Kiir n’ayimbulako munaana, n’asigazaako basatu b’alumiriza nti balabe ab’omutawaana tayinza kubayimbula.

Wabula minisitule ey’Ensonga Ezebweru mu Afrika yasabye Kiir okuyimbula abasibe ab’ebyobufuzi bonna kiyambe enteesegenya eziri e Addis Ababa mu Ethiopia okugenda mu maaso.

Omumyuka w’omwogezi wa Minisitule eno, Marie Harf yagambye Pulezidenti Kiir okuyimbula abasibe ab’Ebyobufuzi kigenda kuyamba okuzza bakyewaggula ku mmeeza okuteesa okukomya olutalo oluyingidde wiiki eyookuna.

Bakyewaggula baabadde bakyeremye okuteesa ne gavumenti ya Kiir nga bagamba nti bannaabwe abali mu kkomera e Juba balina okusooka okuyimbulwa.
 

Gen. Bashir yeefuulidde Salva Kiir

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...

Swengere ne bannamawulire b...

Bannamawulire abaayimbuddwa kuliko Kasolo ng'ono aweerezza pulogulaamu y'okumakya eya Kokoliyooko ku laadiyo ya...

Katikkiro Mayiga akunze aba...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubirizza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...