
JUBA, Lwakuna
OLUTALO lw’omu South Sudan lukaaye!! Abaazirwanako bonna ne bakadogo 10,000, gavumenti ebawadde emmundu mpya ttuku n’ebikola mu lutalo n’ebayiwa mu ddwaaniro bafaafagane ne bakyewaggula ba Dr. Riek Machar.
Pulezidenti Salva Kiir, yawadde abantu baabulijjo mu bitundu omuli bakyewaggula essaawa 24 okubyamuka oba si ekyo ebinaddirira tebamunenya kubanga kati we bituuse, agenda kukola buli ekyetaagisa okununula enzizi z’amafuta n’ebitundu byakyewaggula bye baamuwambyeko.
Waabaddewo ddukadduka mu bibuga Bentui, Mayom, Rubkona, Mayiendit, Payinjiar, Leer, Guit, Panrieng, Abiemnom ne Koch mu ssaza Unity State erisinga okusimwamu amafuta nga lino lyawambibwa bakyewaggula wiiki bbiri eziyise.
Abajaasi ba SPLA nga bafuna ebiragiro ku kitebe ky’amagye e Juba ku Lwokuna.
Ne mu bibuga; Bor, Akobo, Ayod, Fangak, Padak, Pibor, Pochalla ne Waat, enkumi n’enkumi z’abantu baakuluumulukuse nga baddukayo okweyongerayo mu masoso g’ebyalo oluvannyuma lw’okutemezebwako nti amagye ga gavumenti (SPLA) gategese okukola ennumba ez’omutawaana omuli n’okusuula bbomu.
Mujje nga mulaamye - Bayeekera
Abalwanyi ba Dr. Machar balabudde amagye ga gavumenti agategeka okubalumba nti gagende nga buli mujaasi amaze okulaama kubanga tewali ajja kubasimattuka ne babawa amagezi naddala abavubuka abatali batendeke n’abaazirwanako be baajereze nti baggwa dda ku mpangala nti balowooze ku famire zaabwe nga tebanneetwala bokka mu ttambiro.
Ensonda mu gavumenti e Juba zaategeezezza nti abajaasi ba SPLA abasinga obungi bamaze okuyingira amasaza; Unity, Jonglei ne Upper Nile ng’essaawa yonna bakola ennumba okuva mu buli nsonda ez’amasaza ago bageddize.
Owa SPLA ng’akuuma ekitebe ky’amagye mu kibuga Juba.
Gen. Kiir akoze ddiiru n’abacuba
Ng’oggyeeko abaazirwanako n’abavubuka, SPLA egenda kulumbisa n’ekibinja ky’abalwanyi abakulirwa omulwanyi David Yau Yau, eyakoze ddiiru ne Gen. Kiir okumuyambako.
Omwogezi wa SPLA, Col. Phillip Aguer yategeezezza nti enteekateeka zonna ziwedde ez’okweddiza ebitundu abayeekera bye baawamba n’agamba nti SPLA emaze okwebungulula amasaza ago.
Dr. Machar alabudde UPDF
Wabula akulira bakyewaggula, Dr, Machar yagambye nti ekiwaga Kiir ge magye Uganda ge yayongedde okuyiwa mu South Sudan kyokka n’alabula abajaasi ba UPDF nti bagenda kufiira bwereere kubanga ensonga ze beeyingizzaamu tezibwako.
Omwogezi wa Bakyewaggula, Moses Ruai yagambye nti bakimanyi nti Uganda yayongedde ku bungi bw’abajaasi mu South Sudan nga kati erina abajaasi nga 4,500 n’ebyokulwanyisa eby’amaanyi okuli ttanka n’ennyonyi ennwaanyi munda mu South Sudan.
Wabula yagambye nti abajaasi ba Uganda boolekedde okufiira obwereere singa kanaabatanda ne balumbagana abantu abali mu kulwana okununula ensi yaabwe.
UPDF yagenda kutangira kittabantu - Gen. Katumba
Omuduumizi wa UPDF, Gen. Edward Katumba Wamala yategeezezza nti Uganda yasindise amagye mu South Sudan okutangira ekittabantu ekyabadde kigenda okubalukawo olw’okulwagana okwesigamye ku mawanga wakati w’aba Dinka n’aba Nuer.
Gen, Katumba Wamala yagambye nti Uganda yabadde teyinza kulinda mbeera kusajjuka okuvaamu ng’ebyali e Rwanda mu 1994, abantu abasoba mu 800,000 bwe baatemulwa mu kulwanagana wakati w’aba Tusti n’aba Hutu.
Yategeezezza nti Uganda olwakitegedde nti olutalo lw’omu South Sudan teruli wakati wa Kiir ne Machar wabula wakati w’ab’amawanga, Pulezidenti Museveni kwe kulagira UPDF okusitukiramu.
Okulwana mu South Sudan kwabaluseewo nga December 15, omwaka oguwedde abajaasi b’eggwanga ly’aba Nuer bwe baagezezzaako okuwamba gavumenti ya Kiir kyokka abajaasi ab’eggwanga lya Dinka ne babalemesa era okuva olwo olutalo luyinda nga kati lwakafiiramu abantu abasoba mu 1,500 ate 250,000 babundabunda.
Enteesegenya zigaanyi
Enteseganya z’okukomya olutalo ezibadde ziyindira mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia zizzeemu omukoosi olw’obukwakkulizo obwasiddwaawo enjuyi zombi.
Ttiimu ya Dr. Machar yavudde mu nteeseganya oluvannyuma lwa gavumenti ya Kiir okugaana okuyimbula bannabyabyufuzi abasatu abakyakwatiddwa ku bigambibwa nti baali mu lukwe lw’okuwamba gavumenti.
Omwogezi wa ttiimu ya Machar, Yahanis Musa Pauk yaganbye nti okuggyako nga bannabyabufuzi bonna bayimbuddwa, bo tebalina kye bagenda kuteesa na Kiir.
Pulezidenti Kiir naye yataddewo obukwakkulizo nti okuyimbula abasibe abo takirinaamu buzibu singa enteeseganya ziggyibwa mu Addis Ababa ne zidda e Juba nti olwo abasibe ajja kubayimbula bazeetabemu emisana n’oluvannyuma bazzibwe mu kkomera buli kawungeezi.
Kino bakyewaggula baakigaanyi ne bagamba nti emmundu k’egira eramula!
Bakadogo 10,000 bayiiriddwa mu ddwaaniro battunke ne bakyewaggula mu South Sudan