TOP

Bannamwandu ba Bitama boogedde

Added 22nd January 2014

TUZUDDE Bannamwandu ba Paddy Bitama basatu ne boogera ku bbaabwe n’engeri gye baamusisinkanamu ne bye bamujjukirako.



Bya Rogers Kibirige

TUZUDDE Bannamwandu ba Paddy Bitama basatu ne boogera ku bbaabwe n’engeri gye baamusisinkanamu ne bye bamujjukirako.

Ziyada Nakiganda, abeera e Kawaala agamba nti, “Nze ne Bitama twasisinkana mu 1998 nga ffenna twakavubuka era mu biseera ebyo yali akola mu kifo ekisanyukirwamu ekya Jenina e Nansana.

Wadde nga saafumbako mu maka ga Bitama, twayagalana nnyo era wakati mu mukwano gwaffe, twazaala omwana waffe Travor Kasozi wabula olwamala okuzaala omwana n’okumutuuma amannya, omukwano gwaffe ne guggwaawo ne tusigaza kimu kya kulabirira mutabani waffe. Nzijukira ng’ali ku kitanda e Mulago yangamba nti mmwe bakazi bange mwesiimye kuba nze sizadde nnyo.”

Jennipher Baireete ow’e Kisaasi ng’ono y’azaala Sydney Ssaka agamba nti, “Twasisinkana ne Bitama ku Sabrinas Pub nga ndi mu luwummula lwa S.6 mu 1999. Yanfunyisa olubuto mu 2000 ne nzaala mutabani waffe Ssaka. Ebigezo ebya S.6 bwe byakomawo, nagenda ku yunivaasite okweyongerayo n’emisomo gyange nga n’okwagalana kwaffe awo we kwakoma ne kuggwaawo.

Bitama abadde musajja atayagala kusingibwa ate nga mumalirivu okwang’anga okusoomoozebwa ekw’ekika kyonna asobole okutuuka ku buwanguzi.”

Sharita Kaaja, azaala mulekwa asembayo obuto, Peira Namatovu, agamba nti “Twasisinka ne Paddy mu 2012 era n’anteeka mu maka ge e Nansana okutuusa w’afiiridde.

Paddy anjigirizza ebintu bingi mu nsi eno era ng’ebbanga lyonna abadde ankuutira obutatyanga kwolekera mbeera nzibu kubanga bw’ogirumba n’obumalirivu ogiwangula.”

Nnamwandu Ziyada Nakiganda azaala mulekwa Travor Kasozi.

ABAANA BE ABADDE ABAGAANA OKULABA KATEMBA WE

Travor Kasozi 13, ng’ono yatudde P.7 ku Little Diamonds Junior School, omwaka oguwedde agamba nti, “Taata nga tannafa yankuutira okuba omwana ow’empisa, njagale baganda bange ne bannyaffe bonna awatali kuboola.”

Sydney Ssaka, 11, asomera ku Lake Victoria School Entebbe nga yagenze mu P.7 agamba nti, “Ddadi abadde atwagala nnyo nga bwe tuba awaka atuleetera omugaati gwa Denovo ng’ava okukola ate ng’oluusi atuwa ssente ne twegulira ice cream n’ebirala. Taata abadde yatugaana okulaba obutambi bw’emizannyo gy’ekibiina kya Amarula gye babadde bazannya.

OLUMBE LWABIZIBWA MU DECEMBER

Taata w’omugenzi Bitama, Peter Njegula Kasozi ow’e Magere ku lw’e Gayaza yagambye nti, “Olumbe lwa mutabani wange nteeseteese kulwabya ku nkomerero y’omwaka guno.”

Yagasseeko nti enteekateeka z’okulwabya batandise okuzikola era zaakwetabwamu famire bbiri ezibadde zimukaayanira (ey’e Nansana n’e Magere), bannamwandu, bannakatemba n’abayimbi, aba Amarula Family n’abantu abalala abanaasobola.
 

Bannamwandu ba Bitama boogedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...