TOP

UPDF esse omuduumizi wa bakyewaggula

Added 23rd January 2014

AMAGYE ga UPDF galaze obukodyo bwe geeyambisizza okufufuggaza bakyewaggula ba Dr. Riek Machar mu ddwaaniro e South Sudan ne babawambako ebibuga Bor ne Malakal.



Bya MUSASI WAFFE

AMAGYE ga UPDF galaze obukodyo bwe geeyambisizza okufufuggaza bakyewaggula ba Dr. Riek Machar mu ddwaaniro e South Sudan ne babawambako ebibuga Bor ne Malakal.

Col. Kayanja Muhanga ye yaduumidde eggye lya UPDF eryabaddemu ne bakomando okuva mu kibinja kya Special Forces Command (SFC) ekiduumirwa Brig. Muhoozi Kainerugaba ne balyoka basesebbula abalwanyi ba Dr. Machar kumpi kubasaanyaawo bonna.

UPDF ng’eri wamu n’amagye ga gavumenti ya South Sudan aga SPLA baasoose kweyambisa nnyonnyi okusaggula bakyewaggula be bawandagazzaamu bbomu ne bababunya emiwabo oluvannyuma eggye ery’oku ttaka nga lidduumirwa Col. Kayanja ne bakola ‘ambush’ za mirundu esatu ku nguudo eziyingira n’okufuluma ekibuga Bor.

Wano, amagye ga UPDF we gaasinzidde okuwa bakyewaggula essomo kubanga bakira buli ‘aduuyi’, asimattuka ekibabu kya bbomu n’amasasi g’ennyonnyi ennwaanyi ng’amagye ga UPDF gamusalako olwo ne gabatta ng’ebiyenje.

Ekizimbe okuli bbanka ez’enjawulo ekyanyaguluddwa abayeekera e Bor.

UPDF ESOMESEZZA BAKYEWAGGULA ESSOMO
Mu ‘ambushi’ emu, abajaasi ba UPDF baasobodde okutta omuduumizi wa bakyewaggula ow’omutawaana abadde ku ddaala lya ‘Brigadier’ nga yabadde aduumidde ekibinja ky’abalwanyi nga 300 abaabadde n’emmundu ennene n’entono era zonna UPDF yaziwambye.

Waliwo n’omuduumizi wa bakyewaggula omulala abadde ali ku ddaala lya ‘Colonel’ naye eyattiddwa aba UPDF abaamugwiridde ‘kkava’ ku njegooyego z’ekibuga Bor.

Mu nnumba zonna UPDF ze yakoze, abajaasi beeyambisizza ttanka ennwaanyi bakira ezikulembera mu maaso okusaggula ekkubo, abajaasi ne bavaako emabega mu bubinja obutonotono n’oluusi mu nnyirizi okusinziira ku mbeera ng’abaduumizi baabwe bwe baabadde bagisomye.

Bwe baamaze okuwamba Bor, aba UPDF beekutte ebifo ebyomugaso okuli ensozi, enkambi z’amagye, n’ebifo ebirala era baasimye ebinnya bya ‘andaaki’ mwe baagumbye okukuuma Bor, bakyewaggula kye babadde batwala ng’ekibuga kyabwe ekikulu.


Aba UPDF ku ‘andaaki’ gye baasimye okukuuma ekisaawe ky’e Juba.

Gen. Katumba wamala awadde UPDF ebiragiro

ABA UPDF bwe baamezze bakyewaggula e Bor, baawerezza obubaka e Juba n’e Kampala era Omuduumuzi wa UPDF. Gen. Edward Katumba Wamala yasitukiddemu n’abamu ku baduumizi abali wansi we okuli omuduumizi w’eggye ery’oku ttaka Maj. Gen. David Muhoozi ne Brig. Muhoozi Kainerugaba, owa SFC.

Gen. Katumba n’ekibinja kye, baatuukidde mu kibuga Juba gye balinnyidde nnamunkanga ennwaanyi ne bagwa mu kibuga Bor ne baalambuzibwa eddwaaniro wakati mu kwerinda okw’amaanyi.

Gen. Katumba Wamala yakung’aanyizza abajaasi ba UPDF n’abayozaayoza olw’obuvumu n’obukugu bwe baalaze mu ddwaaniro ne basobola okuwamba ku balwanyi ba Machar ekibuga Bor. Yasiimye empisa zaabwe naddala obuteerondalonda na bintu bya bantu.

Yabawadde ebiragiro okusigala nga bakuuma Bor, okutangira bakyewaggula ba Machar abayinza okuddamu okulumba n’agamba nti embeera bweneeba ezze mu nteeko, ebyokwerinda by’ekibuga Bor binaddizibwa eggye lya SPLA.

Gen. Katumba yagambye nti Bor kyonna kumpi kyasaanyeewo kubanga ennyumba n’ebizimbe byakumiddwaako omuliro n’okuluutingibwa bakyewaggula. Katumba yagambye nti ekibuga kyonna kyabadde kiwunya ekivundu ky’emirambo era UPDF yafubye okuziika egisinga obungi.


Aba UPDF ne ttanka yaabwe mu ddwaaniro e Bor.

MEEYA W’E BOR AWADDE ABA UPDF LOOLE 2 EZ’ENTE
Obuwanguzi UPDF bwe yatuuseeko e Bor, bwasanyudde abakulembeze b’ekibuga, Meeya waakyo eyatereegereseeko erya Nhial n’awa abajaasi ba UPDF loole z’ente bbiri bazirye n’abeebaza okuwonya ekibuga kino bakyewaggula ba Machar be yalumirizza okutta abantu baabulijjo abangi.

Ekibiina ky’amawanga amagatte kyazudde entuumu y’emirambo nga kiteeberezebwa nti abantu abo batemuddwa mu kirindi ng’abaabasse baabalanze ggwanga lyabwe.

Ettemu mu lutalo lw’e South Sudan lisinze kwesigamizibwa ku mawanga ng’aba Dinka n’aba Nuer buli akwata ku munne atta mutte.

Gen. Kiir asazizzaamu olukung’aana
WAABADDEWO okubuna emiwambo mu kitundu ky’e Kalthok ku luguudo oluva e Juba okugenda e Rumbek, bakyewaggula bwe baakoze olulumba ku nkambi y’amagye ga SPLA amasasi ne gatokota.

Enkambi ya SPLA eyalumbiddwa e Kalthok eri kumpi n’enkambi y’abantu ababundabunda ey’e Minkaman era abantu abasoba mu 85,000 baasattidde ng’eno amasasi gavuga. Abantu bano bonna badduka mu kibuga Bor ne beewogomako e Minkaman era abasinga Badinka.

Ab’ekibiina kya Red Cross mu nkambi y’e Minkaman baategeezezza nti tewali muntu mu nkambi yatuusiddwaako bulabe wabula aba SPLA n’abalwanyi ba Machar batting’anye.

Kigambibwa nti abalwanyi ba Machar, abaalumbye enkambi ya SPLA, baavudde mu ssaza Western Equatorial nga baavudde mu kitundu ekiyitibwa Terekeka.

Gen. Katumba (owookubiri ku kkono) ne boofiisa ba UPDF ku byokulwanyisa ebyawambidda ku bakyewaggula.

ETHIOPIA EYOMBA
Olukung’aana lw’abakulembeze b’ekibiina kya Inter-Government Agency for Development (IGAD) omwegattira amawanga nga; Uganda, Sudan, South Sudan, Ethiopia, Eritrea, Djibouti ne Kenya olubadde olw’okutuula mu kibuga Juba olwaleero (Lwakuna) lusaziddwamu ku ssaawa envannyuma.

Pulezidenti Kiir yasazzizzaamu olukung’aana olw’ensonga etennamanyika wadde ng’abakulembeze ba IGAD okuli Omar al Bashir, Yoweri Museveni n’abalala baabadde bakakasizza okulwetabamu.

Ensonda zaategeezezza nti Ethiopia ye yavuddeko olukung’aana luno okusazibwamu nga yeemulugunya ku Uganda nti UPDF okwenyigira mu lutalo obutereevu kiremesezza enteesegyanya wakati wa Gavumenti ya South Sudan ne bakyewaggula mu Addis Ababa.

Bakyewaggula baagala Uganda esooke eggye amagye mu South Sudan balyoke bateese.
Kiir yagambye nti ebibadde bigenda okuteesebwako mu lukung’aana lwa IGAD babijulizza olw’omukago gwa Afrika (AU) olusuubirwa okutuula mu mwezi ogujja.

Aba SPLA nga bajaganya oluvannyuma lw’okugoba bakyewaggula e Malakal.

UPDF esse omuduumizi wa bakyewaggula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....