TOP

Eyatikka Iryn enjaga bamukwatidde e Japan

Added 7th February 2014

OMUSANGO teguvunda! Eby’enjaga eyakwatibwa ne Iryn Namubiru omwaka oguwedde tebinnaggwa.



Bya JOSEPHAT SSEGUYA
OMUSANGO teguvunda! Eby’enjaga eyakwatibwa ne Iryn Namubiru omwaka oguwedde tebinnaggwa.

Poliisi e Japan ekutte Kim Ueno (amannya ge amatuufu ye Patrick Tumwesigye) agambibwa okutikka omuyimbi Iryn Namubiru enjaga, gye yakwatibwa nayo e Japan omwaka oguwedde.

Agava e Japan gagamba nti Kim yakwatiddwa agenze okulaba ku famire ye gye yaleka e Japan. We bwakeeredde eggulo (ku Lwokuna) ng’akyakuumirwa ku poliisi y’e Narita.

E Narita, Iryn naye we baamukuumira oluvannyuma lw’okukwatibwa n’enjaga eyali esabikiddwa mu fuleemu y’ekifaananyi kya Kabaka n’ekya Museveni gattako eyali eteereddwa mu binyeebwa eby’ekipooli nga May 3, 2013.

IRYN BAMUYISE E JAPAN
Mu ngeri y’emu, poliisi e Japan ezzeemu okuyita Iryn alumirize Kim ku bigambibwa nti ye yamutikka enjaga gye baamukwata nayo.

Iryn okuyimbulwa e Japan omwaka oguwedde, yaleka ategeezezza ab’obuyinza nti Kim ye yamutikka enjaga eyo naye nga takimanyi.

Ensonda okuva e Japan zaategeezezza Bukedde nti, Kim yakwatiddwa nga yaakatuuka ku kisaawe wiiki bbiri eziyise.

Akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Asan Kasingye yategeezezza nti, wiiki bbiri eziyise poliisi y’e Japan yabawandiikidde ng’ebasaba kalonda yenna akwata ku Kim naddala engeri kkooti gye yasala omusango gw’okutikka Iryn enjaga ogwamuggulwako Gavumenti ya Uganda.

Agamba nti, “kkooti y’e Makindye omusango gye gwawulirizibwa tennatuweereza nsala eno mu butongole.

N’olwekyo tetunnabaako kye tuddamu poliisi y’e Japan”. Kasingye era yagasseeko nti, ekizibu ekiriwo Kim alina paasipooti ya Japan, era atwalibwa nga Mujapan ng’ebisinga obungi ku bimukwatako Japan y’emuvunaanyizibwako.

Kasingye yagambye nti ne Iryn agenda kwetaagibwa mu kkooti e Japan alumirize Kim.

Mu August wa 2013, Kim yavunaanibwa mu kkooti e Makindye kyokka omusango ne gugobwa olw’okubulwa obujulizi.

Poliisi ya wano n’abakola ku kuwaaba emisango gya Gavumenti baategeeza nti obujulizi obusinga obuluma Kim buli Japan.

Namubiru

IRYN YATIKKIBWA ATYA ENJAGA
Okugenda n’enjaga e Japan eyamukwasa, Iryn yagamba nti maneja we, Thadeus Mubiru ye yagimukwasa ng’eri mu kakeesi ng’alowooza nti atutte mmere ye n’obuntuntu obulala obwamutumwa Kim okubumusanza e Japan.

Mubiru naye yategeeza nti, Kim y’amanyi owa bodaboda gwe yatuma okugula ebintu bye yamuwa n’abiwa Iryn.

Kyokka Iryn bwe yakomawo yazuula nti, Kim yawa Mubiru doola 500 amutikke ebintu. Kino Mubiru akyegaana. Iryn okufuna ddiiru y’okugenda e Japan,
Dr. Hilderman ye yatuukirirwa Kim amufunire abayimbi abanaayimba
mu kivvulu kye yali ategekedde Bannayuganda ababeerayo.

Iryn ye yekka eyasobola okugenda, Hilderman n’abalala ne basigala.

Eyatikka Iryn enjaga bamukwatidde e Japan

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...