TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kalungi asibiddwa emyaka ena lwakutta mubaka Nebanda

Kalungi asibiddwa emyaka ena lwakutta mubaka Nebanda

Added 7th February 2014

ADAM Suleiman Kalungi waakumala emyaka 4 mu kkomera e Luzira lwa kutta omugenzi Cerina Nebanda mu butanwa.



BYA ALICE NAMUTEBI
ADAM Suleiman Kalungi wakumala emyaka 4 mu kkomera e Luzira lwa kutta omugenzi Cerina Nebanda mu butanwa.

Omulamuzi Esta Nambayo owa kkooti e Makindye agambye nti Kalungi yetaaga obudde buno ng’ali yekka okusobola okufumitiriza ku bulamu bwe ssaako n’okumanya obuvunaanyizibwa bwe.

Nambayo bwabadde awa ensala ye era agambye nti yadde nga Nebanda yakola kinene nnyo mu kusaanyawo obulamu bwe, Kalungi nga muganzi we, yalina obuvunaanyizibwa bw’okunyonyola ab’enganda ze kiki ekyabaddewo wabula ye yasalwo ku ddukira Kenya olwo naleka ebigambo nga biyitingana kyokka nga ye amazima agamanyi.

Omulamuzi era agambye nti okuggyawo ebyali by’ogerebwa nti kyandiba nga gavumenti yalina omukono mu kufa kwa Nebanda, okunoonyezebwa okwamanyi kwakolebwa ate nga kwatwala ssente mpitirivu okutuusa Kalungi bweyakwatibwa kyokka ng’ebbanga lyonna yali amanyi ekigenda mu maaso.

Wano omulamuzi Nambayo waasinzidde namusiba emyaka 4 mu kifo ky’okumuwa ekibonerezo ekisembayo nga kino kyakusibwa amayisa.

Ate ye munne Ali Omar eyasingisibwa ogw’okubeera n’enjaga ekintu ekimenya mateeka, omulamuzi Nambayo amulagidde yebake e Luzira omwaka gumu.

Bino byonna okubaawo nga kkooti ekubyeko bugule abenganda za Kalungi era oluwulidde ensala y’omulamuzi bafulumye mpola mpola nga bwebakaaba.

Ye munnamateeka wa Kalungi, Nsubuga Mubiru agambye nti bagenda kujulira mu kkooti esingawo kubanga obujulizi bwonna bubadde bulaga nti Kalungi siyeyaviirako Nebanda okufa.

Kinajjukirwa nti nga December 14 2012 Nebanda ng’ono yali mubaka omukyala akyikirira Butalejja yafa mu ngeri etategeerekeka wabula abasawo ne bakizuula nti okufa kwe kwava ku bitundu by’omubiri ebyamanyi okulemererwa okukola nga kino kyava ku mwenge n’enjaga gyebamusangamu.

Kalungi asibiddwa emyka ena lwakutta mubaka Nebanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...