TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni akkirizza okussa omukono ku tteeka ly''ebisiyaga

Pulezidenti Museveni akkirizza okussa omukono ku tteeka ly''ebisiyaga

Added 15th February 2014

KYADDAAKI Pulezidenti Yoweri Museveni akkiriza okussa omukono ku tteeka erirwanyisa abali b’ebisiyaga oluvannyuma lw’okunnyonnyolwa abakugu nti teri azaalibwa na muze ogwo, ssi bulemu era ssi bulwadde.



BYA AHMED KATEREGGA

KYADDAAKI Pulezidenti Yoweri Museveni akkiriza okussa omukono ku tteeka erirwanyisa abali b’ebisiyaga oluvannyuma lw’okunnyonnyolwa abakugu nti teri azaalibwa na muze ogwo, ssi bulemu era ssi bulwadde.

Bino bye byabadde mu lusirika lwa NRM olumaze mu wiiki nnamba nga lubumbujjira ku ttendekero ly’eggwanga ery’obukulembeze e Kyankwanzi, olukomekkerezebwa enkya ku ku Lwomukaaga.

Nnampala wa Gavumenti, Muky. Justine Kasule Lumumba ne Minista w’ebyamawulire n'okulung’amya eggwanga, Muky. Rose Namayanja Nsereko bategeezezza BUKEDDE ONLINE  nti oluvannyuma lw’abasawo abakugu 11 okuva mu Palamenti ne mu minisitule y’ebyobulamu, okunnyonnyola kalonda yenna akwata ku muze gw’okulya ebisiyaga, ne kizuulwa nti tewali bazaalibwa nga bali baabyo mu butonde bwabwe, nti era tewali balwala bulwadde bwa kwoya kubirya, nti era ssi bulemu, ababaka bonna awatali kwesalamu, bassizza kimu nga nkuyege ne bawagira etteeka.

Mu basawo abakugu mubaddemu omubaka Dr. Chris Baryomunsi (NRM Kinkinzi East) ne Dr. Isaac Ezati ne Dr. Ibingira okuva mu minisitule y'ebyobulamu.

Minisita agambye okuva abakugu lwe balaze okunoonyereza Pulezidenti Museveni annyonnyodde ddala era agenda kussa omukono ku tteeka lino.

Pulezidenti Museveni akkirizza okussa omukono ku tteeka ly''ebisiyaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...