TOP

Owa Select Garmets bamuwambyeko emmotoka

Added 15th February 2014

OMUGAGGA wa kkampuni ya Select Garments bamuwambyeko emmotoka ye nga bamulanga okulwawo kusasula ssente ze bamubanja.




Bya HANNINGTON NKALUBO
OMUGAGGA wa kkampuni ya Select Garments bamuwambyeko emmotoka ye nga bamulanga okulwawo kusasula ssente ze bamubanja.

Emmotoka ey’ekika kya Benz efaanana ezitambuza abagole baagiwambye ku mugagga Billy Robert Ahimbisibwe ne bagitwala ku poliisi ya Kira Road. Baalaalise nti omusingo guno tegumalaayo ssente zaabwe era singa tayanguwa kusasula bbanja bagenda kugattako eby’obugagga ebirala ng’amaka
n’amaduuka.

Abakulira kkampuni ya LOMM [U] LTD erina ekitebe kyayo e Lugogo awategekerwa emyoleso baafunye abaserikale ba poliisi okuva ku Kira Road ne bagenda bakukunulayo Benz omugagga mw’abadde atambulira nga yagissaako ennamba y’obwannannyini eya SELECT ne bagitwala.

Omu ku bakulira kkampuni eno Francis Lugaaju yagambye nti Ahimbisibwe bamubanja obukadde 40 nga zimaze ebbanga lya myezi 11.

Yagambye nti baamuwola mu March 2013 ng’ateekwa kuzisasula mu bbanga lya mwezi gumu kyokka kati zagenda kuweza mwaka nga tabasasudde wadde ennusu. “Twamulagira n’asimba mmotoka ye ku ofiisi zaffe nga tumuwa ssente kyokka mmotoka yamalawo ebbanga ttono omuntu atamanyiddwa
n’agibbawo.

Ekyewuunyisa, eyagitwala yakozesa bisumuluzo okugivuga ate ng’omugagga ye yali asigazza ekisumuluzo eky’okubiri nga ffe atuwaddeko kimu.

Tumaze ebbanga nga tuli mu bweraliikirivu olw’okutubbako omusingo naye baatuzigiridde mu kikomera mwebadde yakwekebwa ng’ebikkiddwaako etundubaali ne tugikwata.” Lugaaju bwe yagambye.

N’annyonnyola nti baggulawo omusango oguli ku fayiro nnamba 42/14/12/2013 ku poliisi ya Jinja Road kwe babadde banoonyeza mmotoka eno era bwe baafunye amawulire nti ekwekeddwa mu kikomera ky’omutuuze mu kifo ekiyitibwa Kimbejja e Kyaliwajjala ne bagikwata era bagenda kunoonya
n’ebyobugagga ebirala.

OWA SELECT ANNYONNYODDE
Wabula omugagga Ahimbisibwe yatangaazizza nti aba kkampuni ya LOMM [U] LTD wadde kituufu baamuwola obukadde 25, yazibasasula dda kyokka ne bakozesa olukujjukujju ne bagenda mu kkooti nga bagamba nti bamubanja.

Yategeezezza nti: Empapula ezimpita mu kkooti okwewozaako tebaazintuusangako era omulamuzi n’asala omusango ng’akakasa ssente obukadde 40 ze baagala; kyokka bino byonna byagenda mu maaso nga simanyi nti waliyo n’abampaabira.

Yategeezezza nti amangu ddala nga baleese empapula ez’ensala ya kkooti ey’obukadde 40, yayise mu balooya be aba M/S Masereka, Mangeni & Co. Advocates ne bagenda mu kkooti okuwakanya ensala eyo nga taweereddwa mukisa kwewozaako era omusango guno oguli ku fayiro 1173 OF 2013 gugenda mu maaso mu kkooti y’e Mengo.

Yagambye nti aba LOMM (U) LTD bagenderera kumwonoonera linnya kubanga bakimanyi bulungi nti yabasasula kyokka ne baagala okumuggyamu ssente endala mu ngeri ey’olukujjukujju.

Yabanenyezza n’okutwala emmotoka ye ate ng’omusango mwe yajulira ng’awakanya eky’okubagonnomolako obukadde 40 gukyawulirwa kkooti.

Akulira poliisi ya Kira Road, Jacob Kule yagambye nti banoonyereza engeri mmotoka gye yabbibwa okuva mu kifo we baali bagisimbye n’etuuka okukwekebwa mu kikomera.

Owa Select Garmets bamuwambyeko emmotoka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...