TOP

Gashumba yawambye ebisipi by'aba UMEME

Added 21st February 2014

AKULIRA ekibiina kya Sisimuka Uganda Frank Gashumba yawambye ebyuma n’emisipi gy’abakozi b’ekitongole ky’amasannyalaze ng’agamba nti baabadde bamusazeeko amasannyalaze mu bukyamu.



Bya STEVEN MUSOKE
AKULIRA ekibiina kya Sisimuka Uganda Frank Gashumba yawambye ebyuma n’emisipi gy’abakozi b’ekitongole ky’amasannyalaze ng’agamba nti baabadde bamusazeeko amasannyalaze mu bukyamu.

Gashumba eyasabye Bannayuganda okuvaayo n’obuvumu balwanyise abantu abatyoboola eddembe lyabwe yayanjulidde bannamawulire abaamusisinkanye mu ofiisi ye eri mu kibangirizi ky’amakolero e Lugogo ebyuma bino n’ebisipi ebyeyambisibwa okulinnya emiti gy’amasannyalaze.

Wabula omukungu wa UMEME, D. Onyango yawakanyizza eky’okusalako Gashumba amasannyalaze mu bukyamu n’agamba nti waabaddewo n’okulabula.

‘Ekibi Gashumba tayogera kituufu, enju gye twasazeeko amasannyalaze e Bbunga eri mu mannya ga William gwenkakasa nti twamuweereza obubaka ku ssimu gye yatuwa nga tumubanja 240,000/-.

Bw’aba ayagala tutandike okubumuweereza atuwe ennamba ye ey’essimu,’’ Onyango bwe yagambye ku ssimu.

Wabula Gashumba alumiriza nti baamusalako mu kusooka ne bamutegeeza nti abanjibwa 120,000/- ate waayiseewo wiiki ne bamubanja 220,000/- zonna n’azisasula kyokka ekyamutabudde kwe kudda ne bongera okumusalako.

Onyango agamba nti Gashumba ebintu byabwe yabibaddizza ku ofiisi yaabwe e Kabalagala wiiki ewedde.

Gashumba yawambye ebisipi by’aba UMEME

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita w'ebyobulamu Jane Acheng (ku ddyo) n'omukungu w'ekibiina ky'ebyobulamu Dr.Dr Yonas Tegegn (wakati).

Minisitule  y'ebyobulamu ey...

Minisitule  y'ebyobulamu eyongedde ku muwendo gw'abantu abalina okusooka okugemebwa ekirwadde kya covid 19 nga...

Minisita Elioda Tumwesigye ng'annyonnyola.

Gavt. etaddewo obuwumbi 17...

Gavt. etaddewo ssente obuwumbi 17 okwongera okutumbula obuyiiya. Ssente zino zigenda kugabirwa Bannayuganda...

Ababaka abalonde nga basimbye ennyiriri okuyingira bbaasi.

Ababaka ba palamenti aba NR...

Ababaka ba NRM abapya aba palamenti ey'omulundi 11 abasoba mu 200 basimbudde akawungeezi ka leero okwolekera olusirika...

Omulangira  Jjuuko ng'attotola abatemu bwe baalumbyemu.

Abeebijambiya balumbye ekya...

ABATEMU abatannategeerekeka balumbye ekyalo Nabaziza mu Kyengera Town Council mu Wakiso ne batemaatema abatuuze...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule.

Abakulembeze mukubirize aba...

Dr. Diana Atwine omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu akubirizza abakulembeze mu Buganda okubeera...