TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni atadde omukono ku tteeka ly''ebisiyaga

Pulezidenti Museveni atadde omukono ku tteeka ly''ebisiyaga

Added 24th February 2014

PULEZIDENTI Museveni ayolesezza obuvumu obw''ekitalo mu kulwanyisa obuseegu obukulaakulanyizibwa Abazungu mu nsi ezikyakula bw''atadde omukono mu ttuntu lya leero ku tteeka erirwanyisa obuli bw''ebisiyaga mu Uganda. 

Bya Frank Lukwago

PULEZIDENTI Museveni ayolesezza obuvumu obw'ekitalo mu kulwanyisa obuseegu obukulaakulanyizibwa Abazungu mu nsi ezikyakula bw'atadde omukono mu ttuntu lya leero ku tteeka erirwanyisa obuli bw'ebisiyaga mu Uganda.

Bapulezidenti okuli Vladimir Putin owa Russsia, ne Goodluck Jonathan owa Nigeria, etteeka erifaananako ne lino mu mawanga gaabwe baalissaako omukono mu kimpoowooze omwaka oguwedde, wabula ye Museveni alitaddeko omukono mu lujjudde mu maka gw'obwapulezidenti e Ntebe era oluvannyuma mu kwogera kwe n'alabula nga bw'atajja kukkiriza bugwagwa bwa Bazungu kusasaanyizibwa mu Uganda.

Wiiki ewedde Museveni yayanukudde munne Barack Obama owa Amerika ku nsonga z’ebisiyaga ng’agamba nti Uganda tejja kutwalirwa mu nkwawa z’amawanga g’Abazungu kubanga Bannayunganda tebakkiriziganya na muze gwa kulya bisiyaga.

......................................................................................................................................

Ebirala....

......................................................................................................................................

Yagambye nti okusinziira ku kunnyonnyolwa kw’abakugu bannassayansi kweyafunye ng’ali e Kyankwazi mu lusirika n’ababaka baamukakasizza nti ebisiyaga si kya butonde gubeera muze omuntu gw’asobola okuyiga oba okuleka era abakyetabamu balina okukangavvulwa.

Yayongedde okutegeeza Obama nti kibi okumutiisatiisa nti enkolagana ya Uganda ne Amerika agenda kuseseetuka singa anakkiriza n’ateeka omukono ku tteeka eriwera okulya ebisiyaga n’amugamba nti omukwano omulungi gwandibadde tegwesigamizibwa ku bukwakkulizo.

Etteeka liirino mu bujjuvu:

The Anti Homosexuality Bill 2009 in full

 

 

Pulezidenti Museveni atadde omukono ku tteeka ly''ebisiyaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekibuga ky’e Mukono nga kikwatiridde ttiyaggaasi.

Bobi Wine: Abawagizi be bag...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu yatandikidde mu maanyi ng'anoonya akalulu mu ssaza ly'e Kyaggwe. Eggulo mu lukuhhaana...

Museveni ng'awuubira ku bawagizi be nga yakatuuka e Busitema.

Museveni yeeweredde abasaan...

PULEZIDENTI Museveni yeeweredde okufaafaagana n'abantu abasaanyawo n'okuzimba mu ntobazzi be yagambye nti boonoona...

Full Figure nga yaakazaala.

Full Figure azadde 'Museveni'

JENIFFER Full Figure Nakanguubi azadde omwana mulenzi. Yazaalidde mu ddwaaliro lya Paragon e Bugoloobi eggulo...

Wessaali ne kabiite we Nambi.

Owa Bukedde bamwanjudde mu ...

ZAABADDE essaawa 6:50 ez'omu ttuntu ku Ssande ng'akasana keememula, Semei Wessaali n'abaamuwerekeddeko ne bayingira...

Fatumah Nangonzi, nnamwandu wa Ssekyanzi ne mulekwa.

Ebizuuse ku muvubuka eyatti...

Omuvubuka amagye gwe gasse e Katwe mu kwekalakaasa yava Gomba. Kyokka famire ye erumiriza nti okufa kwe tekulina...