TOP

'Lutaaya mukakanyavu wa mutima'- Mayinja

Added 16th March 2014

RONALD Mayinja annyonnyodde engeri munnaabwe Geoffrey Lutaaya gye yakakanyadde omutima n’alemesa kaweefube yenna gwe babadde bataddewo ow’okutumbula ekibiina kyabwe nga bonna bali wamu.



Bya EDWARD SSERINNYA
RONALD Mayinja annyonnyodde engeri munnaabwe Geoffrey Lutaaya gye yakakanyadde omutima n’alemesa kaweefube yenna gwe babadde bataddewo ow’okutumbula ekibiina kyabwe nga bonna bali wamu.

“We tubadde tutuuse, tubadde tulina okukyusa mu nkola yaffe nga muno mulimu okwezza obweggya ng’ekibiina, omwajjidde n’okukyusa erinnya era nga tulina n’okwongera ku badayirekita nga kitegeeza n’okukyusa mu nsasula.

Ffenna abana twabikkiriza, ye Lutaaya n’akalambira ng’ayagala omutemwa gwe gusigale nga bwe gubadde kyokka nga takyayimba,” Mayinja bwe yagambye.

Yagasseeko nti: Olw’okuba twabadde tumaze okukizuula ng’ekibiina tekikyakola magoba, twasalawo nga tuli wamu ffenna okuyita olukiiko okutema empenda ku ngeri gye tuyinza okukizza engulu.

Mu lukiiko luno, ensonga ssatu ze twalina okusalawo ku zino kuliko okweyubula ng’ekibiina tukyuse erinnya n’enzirukanya y’emirimu, okukitunda tuyimbirenga mugagga oba okusigalamu tugwe nakyo.”

‘Eagles ebadde yagwa emyaka 4 emabega’
Mayinja agamba nti: Naye abantu bakimanye nti baakabitegeera kati nti Eagles egudde nga Bukedde ebikubye, naye Eagles ebadde yagwa dda emyaka ng’ena emabega olw’ensobi ze tuzze tukola naddala obutabaawo bw’enkanya!

Omuyimbi nga Harunah Mubiru ng’akunnyonnyola ebintu by’obuntu ng’olaba mutuufu akola naye ng’afuna kitono olwa badayirekita okwekomya ensimbi zonna, kale bino tebigenda kulabika mu Golden.

Ssekamatte, Sserugga, Ssemakula nange (Mayinja), twakkaanya ffenna okukyusa erinnya, kino kyakoleddwa mu nkola ya kukuba kalulu nga tuwanika emikono era ye Lutaaya teyawanise n’agugubira ku kya kusigaza linnya ate nga ye akibuukamu tuyimbenga nga tumuweereza mutemwa gwe nga dayirekita!

Badayirekita abapya nabo okufuna akawera, ffe abakadde twabadde tulina okukendeeza ku mugabo gwaffe gwe tubadde tufuna.

Wadde nga yabadde tagenda kuyimbanga, Lutaaya yalemedde ku kusigala ng’afuna omutemwa gwe omukadde, nti ye tayagala kumanya mbu ate baalonze badayirekita abapya, simanyi mbu bakonjobole ku nsimbi ze okubasasula!

Wadde okusalawo kwe yali ndowooza ye, naye kyalabika nga si kya bwenkanya kuba olwo tuba nga tugenda okumusasula ssente z’atakolerera, naye ate naffe ne tulaba nga si kya bwesimbu okusigala nga tukozesa Eagles ya Lutaaya gye yatuuyaanira okukola ssente z’atafunako, nga tujja kulabika ng’abalya entuuyo ze.

Era si kituufu okugamba nti tetwayawukanye mu bubi, kuba singa tewaabadde bubi singa tukyali wamu, kino kitegeeza nti waabaddewo obuzibu okwawukana.

Ku kya Irene Namatovu (muka Lutaaya) okulabikira mu badayirekita ba Golden Productions, twamulonze lwa mutima mulungi na kwagala ayongere okufuna ku nsimbi naye tannaba kuddamu oba obukulu abutwala oba abugaana.

Mayinja agamba nti, okuyita abakazi okuleeta abaana yabadde ayagala kulinnya ku lutalo olwali lupangiddwa abamu ku b’omunda mu kibiina kya Eagles n’ekigendererwa ky’okumutabula awaka omukazi anobe olwo adde mu kutereeza ebya famire aleme okulangirira Golden nga paasika tennatuuka.

Naye ekirungi namulabuukirira ne mmweesooka era ebyo byafudde n’ekibiina kyalangiriddwa ate n’amaka gali bulungi teri kibuuza.

Mayinja ng’ayogera ku bya Eagles eggulo ku  offiisi za Bukedde.

Ekibiina ekipya
Mayinja agamba nti, bagezezzaako okuteekawo amateeka aganaagobererwa okusobola okukuuma ekibiina ekipya, naye ekigenda okukulembera mu byonna bwe bwenkanya, kuba obutali bwenkanya y’emu ku nsonga eyasudde Eagles.

“Luli tubadde badayirekita, ensimbi ezikolebwa ebitundu 90 ku 100 nga tuzeekomya, kale n’olaba nga zino 10 ku 100 ezifikka abaana (kati ate abakuze) nga basobola n’okufuna emikolo gye bayimbira ne basasulwa ensimbi ennyingi, babadde batandise okulengezza emirimu gy’ekibiina kuba babadde bagiraba ng’egitafuna.

Wabula kati badayirekita bonna abaalondeddwa bamanyi ensimbi ze balina okufuna, ekibakakatako kwe kukola ensimbi ne zibaawo. Era mu mbeera eno, 40 ku 100 ssente ze tukola zigenda kusigalangawo okumaliriza ebigwa tebiraze.

Baakutandika okukola ebivvulu bya Golden Productions ku paasika era nga bajja kubeera Nansana ate enkeera bagende e Bweyogerere.

‘Lutaaya mukakanyavu wa mutima’- Mayinja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Kyazze

Paasita naye ayogedde ku mu...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...