TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Namwandu wa Mabiriizi ayanukudde abatankana obufumbo bwe n''eyali bba

Namwandu wa Mabiriizi ayanukudde abatankana obufumbo bwe n''eyali bba

Added 21st March 2014

Nnamwandu w’omugenzi Mabirizi, nnaggaga w’omu Kampala eyafa gye buvuddeko avuddeyo n’ata akaka ku bigambibwa nti teyali mukyala wa Mabiriizi era n’abaana b''alina tekuli wa mugenzi.Bya Yudaaya Namyalo

Nnamwandu w’omugenzi Mabirizi, nnaggaga w’omu Kampala eyafa gye buvuddeko avuddeyo n’ata akaka ku bigambibwa nti teyali mukyala wa Mabiriizi era n’abaana b'alina tekuli wa mugenzi.

Winnie Mabiriizi, Nnamwandu Mabirizi omuto abeera mu maka g'e Naguru mu ggombolola y'e Nakawa mu Kampala, Mabiriizi gye yafiira agamba nti okuva bba bwe yafa azze awulira bingi ebiwandiikibwa mu mawulire nti ssi mukyala we mutuufu.

Winnie ategeezeza BukeddeOnline nti abalokompoka n'okusamwasamwa n'ebigambo nti ssi mukyala w'omugenzi Mabiriizi beenoonyeza byabwe sinakindi balina ekigendererwa okutabulatabula famire ya Mabiriizi.

Winnie agamba nti yafumbirwa bba mu kkooti emyaka 15 emabega nga baagattirwa mu kkooti, era alazeBukeddeOnline ebbaluwa y’obufumbo bwe ne Mabiriizi wamu n’ebifaananyi ng’ali mu kadaali.

Embaga ya Winnie ne Mabiriizi kati omugenzi

Ayongeddeko nti ye mu myaka 15 gy'amaze ne bba, abadde tamwanjulirangayo mukyala mulala wabula abaana, kubanga abakulu babadde bajjanga awaka ebbanga lyonna. Winnie alina abaana basatu mu bba mugenzi Mabiriizi.

Muky. Mabiriizi agambye nti bwe wabaayo omuntu yenna atankana nti abaana b'alina ssi ba Mabiriizi mwetegefu okugenda mu musaayi okusalawo eggoye lino.

“Baze bulijjo abaddenga andaga abaana baffe bonna b'alina era wano ekkubo libaddenga liggule era bajjanga bwe baagala ebbanga lyonna okuva nga kitaabwe mulamu okutuusa w'afiiridde, naye sirina mukyala yenna gwendabyeko mu myaka 15 gye nfumbidde Mabiriizi, ate kati bava wa okugamba nti nze ndi malaaya ye era bbo be bakyala abatongole?” bw'atyo Winnie Mabiriizi bwe yeebuuzizza.

Olumbe lw’omugenzi Mabiriizi lusulwamu leero nga 21/03/2014.

Winnie Mabirizi nga bwafaanana. Ebifaananyi byonna bya Yudaaya Namyalo.

Namwandu wa Mabiriizi ayanukudde abatankana obufumbo bwe n''eyali bba

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...