TOP

Ssimbwa awadde omuyimbi Sophie Nantongo amaka

Added 4th April 2014

AKAMASU Sophie ke yatega Ssimbwa kongedde okukwasa! Omwaka gumu n’ekitundu, Sophie Nantongo agumaze talina maka mw’akkalidde okutuusa bba Omulangira Sam Ssimbwa lw’amufunidde ennyumba e Nansana bakulizeemu abaana.



Bya JOSEPHAT SSEGUYA

AKAMASU Sophie ke yatega Ssimbwa kongedde okukwasa! Omwaka gumu n’ekitundu, Sophie Nantongo agumaze talina maka mw’akkalidde okutuusa bba Omulangira Sam Ssimbwa lw’amufunidde ennyumba e Nansana bakulizeemu abaana.

Kino kiraze nti teyakoma bukomi ku kuyimba “Tega akamasu..” wabula naye kennyini akamasu amanyi okukatega.

Sophie asuubirwa okuzaalira Ssimbwa omwana owookubiri akadde konna era ekimu ku birabo Ssimbwa by’amukubyeko y’ennyumba emumaleko ‘situleesi’ z’obupangisa.

Nga September 30, 2012 Sophie yagobwa mu maka ga Ssimbwa amakulu e Ntebetebe okumpi ne Kireka mu Kira Town Council nga mukyala mukulu Samalie Ssimbwa afunye ekiragiro kya kkooti ekimuzza mu maka gano Sophie ge yali amazeemu emyaka ebiri ne bba Sam Ssimbwa Bamweyana.

Wadde Sophie alina amayumba agage ng’omuntu, yagaana okugayingira ng’ayagala Ssimba mu kiti kye nga bba y’aba afuna ennyumba mw’amuteeka era yasooka kumupangisiza Lungujja gye baava ne bapangisa e Nansana, wuuyo wa nnyina okutuusa Omulangira Ssimbwa lwe yeevuddemu n’amufunira amaka ag’enkalakkalira mu kitundu kyekimu eky’e Nansana.

Amaka Ssimbwa ge yawadde Nantongo.

Ennyumba eno eri mu kikomera mu kifo ekisirifu. Ekikomera kyayo kiwanvu era eriko ggeeti eyeetoolozebwa ssengenge waggulu.

Ku makya g’Olwokuna, Bukedde Online yatuuse ku nnyumba eno wabula nga Nantongo taliiwo era bwe twamukubidde essimu n’ategeeza nti yabadde agenze Kawempe okulaba ku nnyina.

Yakozesezza omukisa guno okutangaaza ku kye yayise olugambo olubadde luyiting’ana nti yazadde omwana omuwala n’amutuuma Milly; byonna n’abisambajja era n’asaba abantu okumusabira asobole okuzaala obulungi.

Omwana Nantongo gwe yasooka okuzaalira Ssimbwa baamufuna mu March wa 2012 era yaakaweza emyaka ebiri. Omwana ono muwala.

Ennyumba Ssimbwa gye yafunidde Nantongo mwe basuubira okuzaalira omwana waabwe owookubiri.

Sophia Nantongo n'omulangira Ssimbwa

Wadde mu kusooka waaliwo okutya nti enkolagana ya Ssimbwa ne Sophie yakosebwa eby’okumufuumuula mu nnyumba nga kigambibwa nti Ssimbwa teyafaayo kimala kuziyiza mbeera eno; wabula kati eky’okumufunira amaka kiraze nti kati omukwano gwabwe guli mu ggiya nnene.

Amaka mwe baagoba Sophie e Ntebetebe kati mwe muli abaana ba Ssimba abakulu ne nnyaabwe Samalie.  Ssimbwa mu kiseera kino ali Rwanda ng’atendeka ttiimu y’omupiira eya Police FC kyokka atera okudda mu Uganda era buli lw’akomawo asibira wa Sophie e Nansana.

Ssimbwa awadde omuyimbi Sophie Nantongo amaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...

Abayizi baakukola ebibuuzo ...

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula,...

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

Amasomero ga gavumenti gafu...

OMUBAKA wa gavumenti mu Butambala akoze ebikwekweto mu masomero ag'enjawulo okufuuza abatagondera mateeka ga corona...

Abatunda ennyama y’enkoko mu kkiro ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Okusuubula enkoko n'ozonger...

OKUSUUBULA enkoko z'ennyama bw'ozongerako omutindo ofunamu ekisingako ku kye wandifunye. Kino kizingiramu okusuubula...

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

▶️ Museveni akkirizza okuyi...

PULEZIDENTI Museveni alagidde okuyimbula abamu ku basibe 51 abaakwatibwa ku nsonga z'okugezaako okutabangula emirembe...