TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bankubakyeyo bonna bali mabega wa Museveni mu 2016 - Abbey Walusimbi

Bankubakyeyo bonna bali mabega wa Museveni mu 2016 - Abbey Walusimbi

Added 10th April 2014

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi aweze nti abawagizi bonna bali mabega wa Pulezidenti Yoweri Museveni okwesimbawo mu kulonda kwa 2016.BYA AHMED KATEREGGA

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi aweze nti abawagizi bonna bali mabega wa Pulezidenti Yoweri Museveni okwesimbawo mu kulonda kwa 2016.

Ng’ayogerera mu bawagizi b’ekibiina okuva e London mu Bungereza ne Stockholm mu Sweden, ku ntandikwa ya wiiki eno, Haji Walusimbi, okuva e California mu Amerika, yagambye nti amatabi ga NRM gonna gawagira ekiteeso ky’ababaka ba Palamenti abaali mu lusirika e Kyankwanzi gye buvuddeko, eky’okusimbawo Museveni nga tavuganyiziddwa mu kibiina mu kulonda kwa 2016.

Haji Walusimbi ali mu kutalaaga amatabi g’ekibiina kino agali mu Amerika, Bungereza, Bulaaya , South Africa, Australia n’awalalala ng’abakunga mu byobufuzi.

Kino kiggyidde mu kiseera ng’ababaka ba Palamenti ab’akabondo ka NRM bali mu kukuba nkiiko z’amagombolola ge bakiikirira nga bakuyega abawagizi ku nsonga y’emu.

Olukiiko lwa LC V olwa disitulikiti y'e Mukono lwayisizza ekiteeso kye kimu ekyaleeteddwa ssentebe, Francis Lukooya Mukoome, sso nga n’olukiiko lwa NRM olw'eggombolola ya Ssaabagabo, Makindye mu disitulikiti y'e Wakiso, olwabadde lukubirizibwa ssentebe waalwo Sheikh Muhamud Kayiira, nalwo bwe lwakoze.

Mu bantu abalala abasongwamu okuvuganya Pulezidenti Museveni munda mu NRM mulimu eyali omumyuka wa Pulwezidenti Polof.Gilbert Bukenya ne Katikkiro wa Uganda era nga ye ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Amama Mbabazi.

Kyokka bombi bagamba nti tebasobola kuvuganya mukama waabwe Museveni, nti balinda kuvuganya ng’awummudde.

Bankubakyeyo bonna bali mabega wa Museveni mu 2016 - Abbey Walusimbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale ng'aliko byannyonnyola.

Enkwe za bamanisita ze ziwa...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze...

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...