TOP

Abaali mu Eagles beerangidde obubbi

Added 18th April 2014

MAYINJA ne Mesach Ssemakula be baasoose ku kkooti nga bali ne bannaabwe aba Golden Band. Baalindidde ebweru okumala essaawa nnamba, olwo Geoffrey Lutaaya ne mukaziwe Irene Namatovu nabo ne batuuka.




Bya JOSEPHAT SSEGUYA NE ALICE NAMUTEBI
MAYINJA ne Mesach Ssemakula be baasoose ku kkooti nga bali ne bannaabwe aba Golden Band. Baalindidde ebweru okumala essaawa nnamba, olwo Geoffrey Lutaaya ne mukaziwe Irene Namatovu nabo ne batuuka.

Okubuuzing’anya tekwawedde, Grace Ssekamatte n’asimba Lutaaya ekibuuzo kino: Naye Geoffrey otwagaza ki? Yayongeddeko nti: Oyagala abaana baffe balye enfuufu?

Yawagiddwa Mayinja ne Ssemakula abaalaze obutali bumativu okubakaka okusasula ssente ze bataalya; kyokka Lutaaya n’abaanukula nti, “omuntu abavunaana ye Balaam Barugahare gwe baba babuuza ebibuuzo ebyo.”

Okuyingira kkooti, nga bonna obusungu bubeetimbye mu kyenyi era omulamuzi Gladys Nakibuule Kisekka owa kkooti y’e Nakawa kwe kusalawo baleme kuteekebwa mu kisenge kya kkooti ekya bulijjo wabula n’abatwala mu ofiisi ze (ez’omulamuzi) n’atandika okuwuliriza ensonga za buli ludda.

Olw’okuwaanyisiganya ebigambo okwabaddewo, omulamuzi yabawadde amagezi badde ebweru wa kkooti basooke bakkakkanye obusungu, balyoke bateese batuuke ku nzikiriziganya nga bayambibwako balooya baabwe abatutumufu ku njuyi zombi okuli Medard Lubega Sseggona, Andrew Munanura abawolereza Golden Band ne Fred Muwema awolereza Balam kw’ossa Sunday Mpagi awolereza Lutaaya.

Erias Lukwago naye yabaddewo.
Omulamuzi yabawadde essaawa 5 bazikozese mu kuteesa olwo bakomewo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo bamubuulire bye banaaba batuuseeko.

Jjukira ne bino ku bandi eno

OLUYOMBO BALUTUTTE KU WOOTEERI:
Olwavudde ku kkooti baasibidde ku wooteeri ya Silver Springs e Bugoloobi we baabadde bateekeddwa okuteeseza. Kyokka olwatuuseeyo ne baddamu oluyombo nga Mayinja, Ssemakula, Ssekamatte ne Musa Kavuma balumiriza Lutaaya okubayingiza mu bintu bye bataalimu n’ekigendererwa eky’okubasasuza ssente ze bagamba nti zaalibwa omuntu omu - Lutaaya.

Lutaaya yayanukudde abategeeza nga bw’atalina mutawaana ku muntu yenna era yeesanze naye akosebwa ebigenda mu maaso kyokka n’abagamba nti ekirina okukolebwa kwe kwogera ne Balam ne bakkaanya ku nsimbi obukadde 320 z’ayagala zimuliyirirwe ku bivvulu bye yabagulako nga bakyali wamu mu Eagles Production kyokka bwe baayawukana ne bagaana okwetaba mu bivvulu bino nga bagamba nti ssente tebazimanyi kuba Lutaaya yaziggyayo ng’omuntu; wabula ne Lutaaya n’ategeeza nti ssente baazimuwa ku lwa Eagles enkadde.

Bakira beesongamu ennwe era akakuubagano ak’amaanyi kaasinze kubeera wakati wa Lutaaya ne Ssekamatte. Beerangidde obulyake nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo okwekkusa lwokka n’okwagala okufiiriza lunnaalwo.

Ssemakula yalumbye Balam ng’amunenya olw’okugezaako okutaataaganya ebivvulu bya Golden Band, bwe yafunye ekiragiro kya kkooti ekibiyimiriza wabula Balam n’amwanukula nti: Ndudde nga mbayita twogere ne mugaana; kati kkooti k’eramule.

Lutaaya yajereze ekibiina kya Golden Band nti kijjudde bakadde beereere; wabula Mayinja n’azza omuliro nti: Gold (zzaabu omuva ekigambo Golden) amala emyaka 500 nga takaddiye naye empungu (Eagle omuva erinnya De Nu Eagles) bw’ewangaala ennyo tesussa myaka etaano!

EBIVVULU BYA LUTAAYA  BISAZIDDWAAMU
Bonna bakkaanyizza nti bafiirwa kinene nga battunkira mu kkooti kwe kusalawo bakkaanye; era oluvannyuma lw’okusika omuguwa okw’amaanyi baasazeewo bino:

  • Ebivvulu bya Lutaaya ebya ‘lonki’ ya “Nkolerera Baana Bange” wakati wa May 16, ne May 18, omwaka guno bisazibwemu era ennaku ezo ne ziweebwa Balam bamutegekeremu ebivvulu 4 ebisuubirwamu ssente ze z’abanja.
  • Bonna obutabaako kivvulu kirala kye bategeka mu nnaku ezaaweereddwa Balam.
  • Mayinja, Ssemakula, Lutaaya, Fred Sserugga ne Grace Ssekamatte kibakakatako okubeera mu bivvulu ebyo awatali kwebulankanya.
  • Mayinja, Ssemakula ne Sserugga bonna okubawaayo obukadde 20 zibayambeko ku mafuta okubasobozesa okwetaba mu bivvulu ebyo 4 eby’okubeera e Kyengera, Mukono, Entebe Road n’ekisembayo kibeere e Ggaba. Balam y’agenda okuwaayo ssente zino nga ze zaali zisigaddeyo kw’ezo ze yali ateekeddwa okuwa Lutaaya nga bakyali mu Eagles enkadde.
  • Lutaaya ne Sserugga be balina okukola ku by’okutumbula ebivvulu bya Balaamu n’okubiranga.
  • Ebivvulu bya Golden Band bya kusigalawo.

Enzikiriziganya eno yasanyusizza Mesach ne yeewaanira ku Balam nga bwe bamukudde amannyo; kyokka Balam naye n’asigala ng’agamba nti y’abamezze kubanga yabakutte awaluma.

Omulamuzi yabalagidde bye basazeewo babisse mu buwandiike era buli omu n’assaako omukono. Omulamuzi Nakibuule ye yabadde awadde ekiragiro ekiyimiriza ebivvulu era oluvannyuma lw’okukkaanya, ekiragiro n’akisazaamu.

Eagles enkadde yafuna obuzibu ku ntandikwa y’omwezi oguwedde Lutaaya ne banne ne baawukana nga kati buli omu ali ku lulwe.

Abaali mu Eagles beerangidde obubbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?