
OMULAMUZI Wilson Musene owa kkooti e Ntebe asindise Francis Ssali, 30 mu kkomera e Luzira yeebakeyo emyaka 15 oluvannyuma awanikibwe ku kalabba olw’okwokya ennyumba ne mufiiramu abaana babiri nga February 2, 2011.
Abaana bombi okwali; okwali Ivan Musinguzi ne Daina Namayanja baali ba mutuuze Margaret Naluwooza ku kyalo Makabuya e Ssisa.
Ssali yalaajanye nga bwe bamuwaayiriza ate nti taweereddwa budde kwewozaako bulungi, Omulamuzi Musene bino byonna teyabiwulirizza ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.
Wabula yamugambye nti wa ddembe okujulira.
Waakusibwa emyaka 15 oluvannyuma attibwe