TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okujjuza ekifo ky'omubaka omukyala owa Luweero kubulako ennaku 3

Okujjuza ekifo ky'omubaka omukyala owa Luweero kubulako ennaku 3

Added 17th May 2014

BANNALUWEERO ku Lwokuna nga May 22, 2014 baakubukeereza nkokola okulonda omubaka omukyala owa disitulikiti eno mu Palamenti era ng’abantu abana abeesimbyewo w’osomera bino nga bali mu kumatiza balonzi mu kampeyini eziggwa ku Lwokubiri.



Bya SAMUEL KANYIKE NE DICKSON KULUMBA

BANNALUWEERO ku Lwokuna nga May 22, 2014 baakubukeereza nkokola okulonda omubaka omukyala owa disitulikiti eno mu Palamenti era ng’abantu abana abeesimbyewo w’osomera bino nga bali mu kumatiza balonzi mu kampeyini eziggwa ku Lwokubiri.

Abayigga obululu kuliko; Brenda Nabukenya (DP), Rebecca Nalwanga Balwana (NRM) ssaako Ramula Kadala ne Farida Namubiru abatalina bibiina. Wabula ku Nalwanga ne Nabukenya kwe kusuubirwa omuwanguzi.

Okulonda kuno kwa byafaayo kuba guno gugenda kubeera mulundi gwakusatu mu kisanja kimu okulonda omubaka ng’ogwasooka Rebecca Nalwanga owa NRM yawanulwa mu Palamenti nga yaakamegga abakyala munaana mu 2011. Ng’akalulu kaddiddwaamu, Nabukenya owa DP ataali mu lwokaano olwasooka, yamegga Nalwanga ku bululu 30.

Wabula Nabukenya naye yabadde tannabugumya kifo kkooti n’esalawo nti okulondebwa kwe kwalimu emivuyo n’eragira akakiiko k’ebyokolonda kategeke bunnambiro okujjuza ekifo kino.

Abeesimbyewo batalaaga amagombolola 13 ne town council 3 kyokka abalonzi babapimira ku nsonga eziwerako era kiteeberezebwa nti ku Nabukenya ne Nalwanga, anaamegga munne mu bulippo buno, y’anaalya akalulu:

Nabukenya (wakati mu gomesi) ng’ali mu balonzi e Wobulenzi wiiki ewedde.

Obutadda mu bantu

Bannaluweero bagamba nti bakooye ababaka abatadda mu byalo nga bakomawo kwegonza nga banonye bululu bulala ne batafa ku bizibu bibaluma. Mu kino balumiriza Nalwanga okubeera ng’ebitundu bingi gy’amaze ebbanga nga tatuukayo ate ye Nabukenya oluvannyuma lw’okulondebwa, amaanyi yagateeka ku misomo gye n’asigala ng’okusinga atuuka mu bubuga.

Ebisuubizo

Ekisinze okweyolekera mu kampeyini z’omulundi guno be batuuze okwolesa obutali bumativu eri NRM olw’ebisuubizo ebingi by’ezze esuubiza okukolera ab’e Luweero okuli okukola enguudo, okuddaabiriza amalwaliro, n’okutumbula ebyobulimi nga wateekebwawo amakolero n’okuwa abantu naddala abavubuka emirimu. Kyokka n’oludda lwa Nabukenya luteekebwa ku nninga olw’okusuubiza okulaba nga luwaliriza Gavumenti okutuukiriza ebisuubizo byayo, ekitavuddeemu bibala biwera.

Obwavu mu disitulikiti

Obwavu mu disitulikiti bungi ng’abalonzi ba kulonda oyo gwe basuubira okubayamba okuvvuunuka embeera eno. Ssentebe wa disitulikiti eno, Haji Abdul Nadduli agamba nti NRM y’esobola okuggya abantu ba Luweero mu bwavu era nti babakanye ne pulogulaamu z’okugabira abantu emmwaanyi, emicungwa, ebitooke n’emiyembe mu magombolola okuli; Kamira, Luweero, Kikyusa ne Makulubita. 

“Ebyo byonna okubikola bizze ku lwaffe aba DP okubateeka ku nninga okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe era ky’ova olaba nga kati wadde kiseera kya bululu, bagabira abantu emmwaanyi n’ebirala,” David Lule Muzzanganda, omu ku bakulira kampeyini za Nabukenya bwe yategeezezza.

Lamula Kadala ne Farida Namubiru

Obudde bwa kampeyini butono

Obudde obwateekebwateekebwa akakiiko k’ebyokulonda okukubiramu kampeyini butono okusobozesa abeesimbyewo okutalaaga amagombolola 13 ssaako town council (obubuga) 3. Kampeyini zaatandise May 8 ng’okulonda kwa May 22. Kino kireetedde abeesimbyewo okutuuka mu bifo bitono mwe balina okuggya akalulu. Awo nno, oyo anaasoolooba ku banne n’atuuka mu bifo ebiwerako n’oyo abadde n’obuwagizi okuva emabega, waakubeera n’enkizo.

Bakakuyege abayigga akalulu

Okusoomoozebwa okuliwo ye Nalwanga okubeera nti mu nkambi ye eya NRM mulimu okwekutulamu mu kunoonya akalulu ng’abaali bamuwakanya okwesimbawo ku kaadi y’ekibiina, baasigalira kutunulira bintu bwe bitambula. Ekirungi nti alina ebikonge mu NRM nga nzaalwa z’e Luweero ate ne Pulezidenti Museveni asuubirwa okugendayo nga kampeyini tezinnakomekkerezebwa.

Ku ludda lwa Nabukenya, kigambibwa nti obungi bwa bakakuyege bwe yalina omulundi guli si bw’alina kati naddala ng’abavubuka ba DP abamu tebazze mu kunoonya kalulu nga bamulanga butabeera muwulize nnyo eri Pulezidenti waabwe, Norbert Mao.

Obumu mu bibiina

Ab’oludda oluvuganya NRM basazeewo ku mulundi guno obutasimbawo muntu yenna wabula okulekera Nabukenya. Wabula ne Nadduli agamba nti ekintu ekigenda okuwangulira NRM akalulu kwe kuba nga ku mulundi guno, bannakibiina baalekera Nalwanga, ekitaaliwo luli, Nabukenya lwe yabawangula. N’olwekyo, anaakozesa obulungi ensonga eno, waakulya. 

Ettaka

E Kagoye mu ggombolola y’e Luweero n’e Vvumba e Kalagala waaliyo ensonga z’ettaka, Nabukenya n’alwanirira ku batuuze waakiri okusasulwa abaali babasengula mu ngeri y’okubadondola. Abantu mu bitundu bingi beeraliikirivu ku nsonga z’ettaka kyokka Bannamuvumenti kye basimbako essira kiri kimu nti baakola etteeka ly’ettaka erirwanirira omuntu waabulijjo ne bagumya abalonzi nti ensonga eno bagimanyi.

Ensonga erimu eggumba

Aba Nabukenya bakanya kimu nti y’ajja okusobola okussa akazito ku gavumenti n’abakulembeze mu disitulikiti (abasinga nga ba NRM) okutuusa empeereza ennungi ku bantu. Wabula n’aba NRM bagamba nti be ‘bali mu kintu’ nga n’olwekyo tosobola kulonda atassa kimu nabo n’akusakira ky’oyagala. Engeri Bannaluweero gye bagenze nga basuumuuka mu ntegeera y’ebyobufuzi, kino baakukirowozaako.

 

Okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa Luweero kubulako ennaku 4

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...