TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oba bangoba mu NRM bangobe, sijja kulabikako mu kakiiko ka mpisa - Polof. Bukenya

Oba bangoba mu NRM bangobe, sijja kulabikako mu kakiiko ka mpisa - Polof. Bukenya

Added 21st May 2014

EYALI omumyuka wa pulezidenti, Polof. Gilbert Bukenya agambye nti ssi mwetegefu kugenda mu kakiiko ka kibiina kya NRM akakwasisa empisa olw’okugenda e Luweero n’awagira owa DP Brenda Nabukenya ng’aleseewo ow’ekibiina kye Rebecca Nalwanga.Bya Muwanga Kakooza

EYALI omumyuka wa pulezidenti, Polof. Gilbert Bukenya agambye nti ssi mwetegefu kugenda mu kakiiko ka kibiina kya NRM akakwasisa empisa olw’okugenda e Luweero n’awagira owa DP Brenda Nabukenya ng’aleseewo ow’ekibiina kye Rebecca Nalwanga.

‘’Oba bangoba bangobe. Oba bankuba kibooko bankube . Ssiri mwetegefu kugenda mu kakiiko ka NRM akakwasisa empisa kuba n’aba NRM bennyini tebalina mpisa. Bayigganya ababavuganya. Bakuba batya ttiya ggaasi mu lukung’aana lwa Nabukenya ne baleka abeesimbyewo abalala nga batayaaya,’’ Bukenya bw’agambye.

Yabadde ayogerera mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku makya g'Olwokusatu mu ofiisi ye ku Palamenti era mw'asinzidde okulayira nti tagenda kuganya Pulezidenti Museveni kwesimbawo yekka mu kamyufu ka NRM mu 2016 naye (Bukenya) agenda kumwesimbako.

Bino byonna biddiridde abakungu b’ekibiina kya NRM okwabadde ssentebe wa NRM mu Buganda, Hajji Abdu Nadduli ne minisita w’ebyamawulire, Rose Namayanja okutegeeza nti Bukenya agenda kusimbibwa mu kakiiko k’ekibiina ak’empisa olw’okuva ku mulamwa n’akubira owa DP kampeyini e Luweero.

Kyokka Bukenya yagambye nti ssi mwetegefu kugenda mu kakiiko ka mpisa era tatya kumugoba. ‘’Asobola yekka okungoba mu kintu kyonna yandibadde maama wange Nabulya ate yafa dda,’’ bwe yagambye. N’ayongerako nti takkiriziganya na bya kutiisatiisa muntu yenna mu byabufuzi, eno y’ensonga emuwagizza Nabukenya era alina essuubi NTI ajja kuyitamu.

Ebirala ku Polof. Bukenya.....

‘’ Abawagizi ba Nabukenya baabakubamu ttiyaggaasi n’amasasi era mpulira omuntu omu ye yafa. Kino kikyamu nnyo era (olwawulira bino) ne ndayira okunoonyeza Nabukenya akalulu,’’ Bukenya bwe yagambye.

Yagambye nti ababaka b’akabondo ka NRM abaawagira Pulezidenti Museveni yesimbewo yekka mu kamyufu tebalina buyinza obuyinza buli mu bitongole bya kibiina ebya waggulu ebinanakisalawo ejja essaawa bw’enaatuuka ye (Bukenya) ajja kumwesimbako.

Ssentebe w’akabondo k’ababaka ba NRM,  Godfrey Kiwanda yagambye nti Bukenya alabika alina obuzibu n’ekibiina kya NRM obwetaaga okugonjoola ng’ebintu tebinnasajjuka. ‘’Okuva lwe yasibwa mu kkomera (olwa CHOGM) ssi musanyufu . Bino byetaaga okugonjoolwa’’ Kiwanda bwe yagambye.

Omubaka Yahaya Gudoi (Bungokho North) yagambye nti Bukenya teyataaga kussibwa mu kakiiko ka mpisa kuba yalaze ndowooza ye ng’omuntu.

Bannaluweero balonda nkya ku Lwokuna

Bannaluweero enkya ku Lwokuna baakubukeereza nkokola okulonda omubaka omukyala owa disitulikiti eno mu Palamenti.

Kampeyini zaakomekkerezeddwa eggulo ku Lwokusatu.

Abeesimbyewo kuliko; Brenda Nabukenya (DP), Rebecca Nalwanga Balwana (NRM) saako Ramula Kadala ne Farida Namubiru abatalina bibiina.

Wabula ku Nalwanga ne Nabukenya kwe kusuubirwa omuwanguzi.

Ebirala ku kalulu k'e Luweero...

Sijja kulabikako mu kakiiko ka NRM ak''empisa - Polof. Bukenya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...