TOP

Ani awangula akalulu k'e Luweero ?

Added 22nd May 2014

AB’E LUWEERO w''osomera bino nga basuula kalulu okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Luweero mu Palamenti.



Bya BENJAMIN SSEBAGGALA NE SAMUEL KANYIKE

AB’E LUWEERO w'osomera bino nga basuula kalulu okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Luweero mu Palamenti.

Okuvuganya okw’amaanyi kuli wakati wa Brenda Nabukenya owa DP ne Rebecca Nalwanga Balwana owa NRM, ssaako Ramula Kadala ne Farida Namubiru abatalina bibiina.

Luweero erimu eggombolola 13 okuli obubuga (town council) busatu . Abeesimbyewo bakubye enkung’aana okumala ennaku 12 nga banoonya akalulu era anaasinza obululu obungi akakiiko k’eby’okulonda gwe kagenda okulangirira ku buwanguzi.

Nalwanga yasooka okuvuganya ku kifo kino mu 2006 n’akiwangula bwe  yeesimbawo nga talina kibiina era emu ku nsonga ezaamuweesa akalulu ng’abalonzi bagamba nti muwala muto. Yazzeemu okuvuganya 2011 n’awangula ku kaadi ya NRM kyokka munne bwe baavuganya, Dr. Nabatanzi Lugudde n’amuwaabira kkooti n’emugobayo nti yagulirira abalonzi.

Bwe bazzeemu okulonda mu November 2012,  Nabukenya eyabadde tavuganyangako ne yeesimbawo n’awangula akalulu ng’asinzizza Nalwanga obululu 30 bwokka. Nalwanga yaddukidde mu kkooti ng’avunaana akakiiko k’ebyokulonda obutagoberera mateeka ga kulonda era Nabukenya n’asazibwamu.

Akulira akakiiko k’ebyokulonda e Luweero, Alex Komuhangi yagambye nti abalonzi abagenda okukuba akalulu bali 185,930 n’ebifo ebirondebwamu 375.

ABEESIMBYEWO GYE BALINA ENKIZO:

Okulonda okuwedde Nalwanga yawangula: Kamira, Kikyusa, Ziroobwe, Bamunaanika, Kalagala, Makulubita, Bombo TC ne Nyimbwa . Mu kiseera kino, alina   enkizo mu Magombolola okuli Kamira, Bombo ne Luweero Sub-county kyokka yeeyongedde embavu mu ssaza ly’e Baamunaanika olwa minisita JC Muyingo era omubaka w’ekitundu kino akoze ekinene mu kumunoonyeza akalulu ne mu bitundu by’e Katikamu South  minisita Abraham Byandala akozeeyo omulimu.

Nabukenya, omulundi oguwedde yawangula mu magombolola okuli: Luweero TC,  Butuntumula  ne Wobulenzi TC. Omulundi guno alina enkizo e Kalagala, Makulubita, Kikyusa, Luweero TC, ne Wobulenzi olwo amagombolola agasigadde okuli Nyimbwa, Ziroobwe n’amalala bagagabane n’abalala abeesimbyewo okuli Faridah Namubiru ne Lamura Kadala.

OBUNAFU BWA NALWANGA:

NRM abalonzi beemulugunya okubeera nga tetuukirizza bisuubizo ng’okukola oluguudo oluva e Zirobwe okudda e Wobulenzi, okusasula abaafiirwa ebyabwe mu lutalo, okutandikawo amakolero, okuwa abavubuka emirimu n’ebirala era ku luno lweyabaatulidde nti NRM tekola byamagero teyinza kubasuubiza nti byonna bye babanja bayinza okubifuna mu kaseera akatono kano wabula balina okubeera abagumiikiriza.NRM ebadde n’enjawukana mu kibiina okuli abaali beesimbyewo okuvuganya ne baggyibwamu nga Dr. Nabatanzi Lugudde, Ying. Lillian Nakate, Ritah Mugalu ne Patricia Magala abaludde nga bakissa ku Nalwanga nti abantu baamukyawa ekyawalirizza pulezidenti ku Mande okumulagira ng’ali ku kadaala yeetonde eri abalonzi era n’akikola.

Ebirala ku kalulu k'e Luweero...

 

OBUNAFU BWA NABUKENYA:

 Nabukenya bakimuteekako nti ekiseera ky’okudda mu balonzi olwatuuka yasinga kwettanira kulambula bali mu bubuga ab’omu byalo n’abasuulirira yeemu ku nsonga lwaki ab’omu bubuga be basinga okumuwagira. 

 Abalonzi bakimuteekako nti olwawangula akalulu amaanyi n’agassa ku misomo gye n’atadda mu balonzi era abatunuulizi bagamba nti enkung’aana ze zizze zibeerako abantu bangi kyokka ng’abamu bava Kampala si balonzi b’e Luweero.

 Bakakuyege be yalina ku mulundi ogwasooka baasalikako abamu ku bavubuka bwe baavuddeyo ne bamulumiriza okuyisa amaaso mu Pulezidenti w’ekibiina kya DP Nobert Mao era nga bamulumiriza nti aleese bakulembeze ba bibiina birala okwabadde Kiiza Besigye, Mugisha Muntu ne Olara Otunu owa UPC eyogerwako ng’eyatulugunya ennyo abantu mu Luweero mu lutalo lw’ekiyeekera ne bagikyawa. Wabula oluvannyuma ne Mao yeesitudde n’agenda okunoonyeza Nabukenya obululu.

OKUSITUKA KWA PULEZIDENTI MUSEVENI KWAYONGEDDE NALWANGA AMAANYI:

Ababadde banoonyeza Nalwanga akalulu bulijjo bamatiza abantu nti bamulonde kubanga y’asobola okutuukirira Pulezidenti  gwe balina okufunako ebirungi bye beetaaga n’okumujjukiza ebisuubizo bye batannaba kufuna.

Haji Nadduli ssentebe wa disitulikiti y’e Luweero yagambye nti ekibiina kifunye obumu kubanga n’abaali bavuganya bakkiriziganya ne bava mu lwokaano ne balekera munnaabwe.

 Ebitundu ebimu  Nabukenya gy’abadde yeeriisa enkuuli nga Bombo TC waliyo abawagizi ba NRM abapya ng’abakyala babaserikale be baggya e Congo akakiiko k’eby’okulonda be kaabadde kagaanye okulonda kyokka pulezidenti yabalagidde babakkirize era bano bawerako.

POLOF. GILBERT BUKENYA E LUWEERO:

Polof. Bukenya yasitukiddemu ku Lwokubiri n’alinnya akadaala ku kisaawe e Kasana n’anoonyeza Nabukenya akalulu. Omuntu atunuulira ekikolwa kino alaba nga kirina kye kyagasse ku Nabukenya nga n’abakulembeze b’oludda oluvuganya abalala bwe bazze bakola.

Bukenya yali mumyuka wa Pulezidenti, mubaka wa palamenti alina abantu abamukkiririzaamu abawera abakakasa nti ky’awagidde kibeera kituufu. Nabukenya yeeyongedde amaanyi ebibiina ebivuganya NRM bwebyakkiriziganyizza ne bimuwagira nga tebimusimbyeko muntu n’omu so nga ku mulundi ogwayita Ziada Gwokyalya yafuna obululu obusoba mu 3,000 obusuubirwa okubeera nti ku mulundi guno Nabukenya bwakumweyongerako.

Nabukenya mu kunoonya akalulu asitudde abanene abalala ku ludda oluvuganya kumpi kubamalayo okubadde pulezidenti wa FDC, Gen. Mugisha Muntu, Erias Lukwago, ababaka ba palamenti Betty Nambooze, Muwanga Kivumbi, Gonzaga Sewungu n’abalala.         

 

Ani awangula akalulu k’e Luweero ?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...