TOP

Nabukenya alidde akalulu k''e Luweero

Added 23rd May 2014

BRENDA Nabukenya owa DP amezze Rebecca Nalwanga Balwana owa NRM n''enkoona n''enywa mu kalulu k’e Luweero akabaddeko vvaawompitewo.



Bya BENJAMIN SSEBAGGALA, DICKSON KULUMBA NE  SAMUEL KANYIKE

BRENDA Nabukenya owa DP amezze Rebecca Nalwanga Balwana owa NRM n'enkoona n'enywa mu kalulu k’e Luweero akabaddeko vvaawompitewo.

Nabukenya yalangiriddwa ku buwanguzi n'obubonero n'obululu 38,582. Nalwanga yafunye obululu 22,236. Ramula Kadala yafunye obululu 768 ate Farida Namubiru n'afuna obululu 717. Nabukenya yasinzizza Nalwanga obululu 16,346.

Akulira eby’okulonda mu disitulikiti y'e Luweero, Alex Komuhang, akalulu yakalangiridde ku ssaawa 10:00 ogw'ekiro olwo abawagizi na Nabukenya ne batanula okujaganya n'okuyisa ebivvulu okwetoolola Luweero olw'obuwanguzi.

Nabukenya ng'asanyukira obuwanguzi n'omubaka wa munisipaali ya Mukono, Betty Nambooze Bakireke. EKIF: DICKSON KULUMBA

Abawagizi nga Nabukenya nga bayisa ebivvulu ku ssaawa 10 ez'ekiro okwetoloola Luweero. EKIF: DICKSON KULUMBA

Minisita atalina mulimu gwa nkalakkalira, Richard Todwong abadde yasimba amakanda e Luweero, yategeezezza nti Nabukenya yabayisizza bubi mu bitundu eby’ebibuga kyokka ne bagezaako okukola obulungi mu byalo.

Nabukenya yawangulidde waggulu mu Luweero Town Council  ne Wobulenzi  gye yafunidde obululu 3,914 nga Nalwanga alina 1,043 ate mu ggombolola y’e Kalagala, Nabukenya n’afuna 3,469 nga Nalwanga afunye 1,749.

Kyokka mu byalo, Nalwanga yeefubyeko wabula ng’obululu bw’asinza Nabukenya si bungi nnyo. Okugeza Nalwanga yawangudde eggombolola y’e Kamira ng’afunye obululu 1,584 ate Nabukenya n’afuna 1,260.

Okuvuganya kwabadde kwa maanyi mu Bombo Town Council kyokka Nalwanga n’agiwangula n’obululu 1,652 nga Nabukenya afunye 1,560. Wadde eno eggombolola ebalibwa ng’ey’ekibuga, ensonga bbiri ezaayambye Nalwanga okugiwangula omuli ey’abajaasi abalondera ku nkambi y’e Bombo n’Abanubbi abasanyufu olwa gavumenti ya NRM by’ebakoledde omuli n’okubayimbulira omuntu waabwe Abudallah Nasuru.

Aba DP n’aboludda oluvuganya gavumenti baatandikiddewo okujaganya ng’akulira eby’okulonda mu Luweero, Alex Komuhangi asoma ebiva mu kalulu era obwedda bonna beetoolodde ekitebe kya disitulikiti nga balindiridde okuwulira omuntu waabwe ng’alangirirwa ku buwanguzi.

Nalwanga yakoze bulungi mu Baamunaanika ekiikirirwa minisita John Chrisestom Muyingo. Kyokka amagombolola 3 agali mu Katikamu South, Nabukenya n’asinga. Amagombolola agakola Katikamu North gaabadde gaakugabana.

Abawagizi nga Nabukenya nga basanyukira obuwanguzi. EKIF: DICKSON KULUMBA

Abawagizi nga Nabukenya nga basanyukira obuwanguzi. EKIF: DICKSON KULUMBA

ENSONGA EZENJAWULO KU KUWANGULA N’OKUGWA:

Ababiri Nalwanga ne Nabukenya baasitudde abanene  okugenda okubanoonyeza akalulu. Nalwanga yasitudde pulezidenti Museveni ne baminisita abalala ate Nabukenya yasitudde Polof. Gilbert Bukenya, ekyanyiizizza bakama be mu NRM ne bamulagira okweyanjula mu kakiiko akakwasisa empisa gye yagambye nti tagenda kulinnyayo.

Baminisita Byandaala ne JC Muyingo ennaku zonna ez’okunoonya akalulu bazimazeeko nga batalaaga kyokka ne Nabukenya yasitudde kumpi ab’oludda oluvuganya NRM bonna ne bagenda okumuyiggira akalulu ekyamuwadde enkizo ey’amaanyi mu bitundu bingi.

Ensonga ez’enneeyisa wano n’enkolagana y’abeesimbyewo n’abalonzi. Nabukenya Banna-NRM bakimuteekako nti ebitundu ebimu gye yasanganga Bannakibiina abatamuwagira ng’awaanyisiganya nabo ebisongovu.

Nabukenya abadde muganzi nnyo mu bitundu by’obubuga n’ebifo ebimu gye yataasa abaali bagobwa ku ttaka kyokka awamu ng’e Kamira ewali abawagira ennyo NRM ne lwe yagenda okukubayo enkung’aana baamuyisa bubi.

Nabukenya ng'ajaganya n'aba DP oluvannyuma lw'okulangirirwa ku buwanguzi. EKIF: DICKSON KULUMBA

Nabukenya (ku ddyo) ng’abuuzaganya ne Nalwanga nga baakamala okulonda ku St. Jude PS e Kasana mu Luweero.

OBUVUYO MU KALULU:

Obunkenke bwabadde bwa maanyi era waabaddewo n’akanyoolagano nga Komuhangi agenda mu maaso n’okulangirira ebiva mu kalulu.

Poliisi yabadde enyoolagana n’aboludda oluvuganya gavumenti okuli Erias Lukwago, Mathias Nsubuga, Betty Nambooze, Ssemujju Nganda n’abalala abaabadde bajja ku kitebe kya disitulikiti nga bwe bayisa ebivvulu.

Ku kitebe kya disitulikitu e Luweero we baabalidde akalulu waabaddewo effujjo ng’abantu bayimba ennyimba ezisoomooza poliisi bwe yabadde egaanye Nabukenya okuyingira naye oluvannyuma yakkiriziddwa n’ayingira yekka.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ekitwala Luweero, Lameka Kigozi yategeezezza nti poliisi yakutte akulira abakyala mu FDC, Ingrid Turinawe bwe yabadde awagaanya okutuuka mu kifo we baabadde babalira obululu e Luweero nga tafunye lukusa. Emisana, Kigozi yategeezezza nti baakutte abasajja musanvu ku kwenyigira mu mivuyo gy’okulonda.

Ebirala ku kalulu k'e Luweero...

 

 

Nabukenya alidde akalulu k''e Luweero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...