
Bya AHMED MUKIIBI
BANNAYUGANDA bawadde endowooza zaabwe ku bajeti y’eggwanga esomwa olwaleero ng’abasinga basaba Gavumenti obutalinnyisa n’okubabinika misolo emingi kubanga embeera mbi ku mirimu ne mu bizinensi ze bakola.
Abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya KACITA baalabudde nti singa Gavumenti enaamala gongeza misolo nga tefuddeeyo kuwuliriza ddoboozi ly’abantu, ejja kwesanga ng’emisolo tegifunye okufaananako nga bwe gubadde mu bajeti ewedde.
Olwaleero ku ssaawa 8:30 ez’emisana, Minisita w’Ebyensimbi Maria Kiwanuka,agenda kusoma bajeti y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2014/15 esuubirwa okubeera enkakali olw’emisolo emipya egireeteddwa n’egimu ku misolo emikadde egyongezeddwa.
Bajeti ey’omwaka guno (2014/15 ) esuubirwa okuba ya buwumbi obusoba mu 14,000 okusinziira ku kiwandiiko ky’enteekateeka ey’Ebyensimbi ey’eggwanga ekiyitibwa “ National Budget Framework Paper 2014/15.
Ku nsimbi obuwumbi obusoba mu 14,000, Gavumenti z’esuubira okusaasaanya mu mwaka gw’ebyensimbi 2014/15, ensimbi obuwumbi 10,127 Gavumenti egenda kuzeefunira ng’eyita mu makubo agayingiza ssente omuli emisolo n’ebirala ate ezisigadde zisuubira kuva mu bitongole n’amawanga agawola n’okuwa Uganda obuyambi.
Wadde bajeti erimu okulinnyisa emisolo, Minisita Kiwanuka agenda okulangirira n’ enteekateeka gavumenti z’ereese okusitula embeera z’abantu omuli okukola enguudo, amabibiro, amalwaliro n’amasomero ne Pulojekiti omuli ez’abavubuka, n’abakyala.
EBIKULU MU BAJETI ya 2014/15
- Bajeti esuubirwa okuba ya buwumbi obusoba mu 14,000
- Ssente ebitundu 20 ku 100 ebya Bajeti ya 2014/15 zaakuva mu mawanga n’ebitongole ebigabi by’obuyambi
- Obuwumbi 9,834 n’obukadde 700 ze zisuubirwa okukung’aanyizibwa Uganda Revenue Authority (URA) mu mwaka 2014/15.
- Ebyobulamu bisuubirwa okufuna omutemwa gwa kabuwumbi 1,197 n’obukadde 800.
- Ebyenjigiriza byakufuna obuwumbi obusoba mu 1,700 mu bajeti ey’omwaka 2014/15
- Ebyobulimi bisuubirwa okufuna obuwumbi 440.
- Ebyenguudo bigenda kufuna omutemwa ogusinga obunene gwa buwumbi 2,575 n’obukadde 530.
Bannayuganda bawadde endowoza ku bajeti