TOP

Bajeti ya 2014/15; Emisolo gimyumyuddwa

Added 12th June 2014

MINISITA w’ebyensimbi Maria Kiwanuka ayanjudde Bajeti ekyasinze okubeera enkalali mu myaka egiyise olw’emisolo gavumenti gy’erinnyisizza naddala ku bintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.



 

Bya Ahmed Mukiibi

MINISITA w’ebyensimbi Maria Kiwanuka ayanjudde Bajeti ekyasinze okubeera enkalali mu myaka egiyise olw’emisolo gavumenti gy’erinnyisizza naddala ku bintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.

Bajeti eno Minisita Kiwanuka gy’ayanjudde ya buwumbi 15,054 ng’eno ye bajeti ekyasinze obunene mu byafaayo bya Uganda ng’esinze ey’omwaka 2013/14 eyasomwa omwaka oguwedde ey’obuwumbi 13,169 ate ng’ey’omwaka 2012/13 yali ya buwumbi 11,157.

Minisita Kiwanuka yalangiridde nti ku buwumbi 15,054 gavumenti z’eteekateeka okusaasaanya mu mwaka guno (2014/15) obuwumbi 12,321 zigenda kukung’aanyizibwa munda mu ggwanga nga zino ziri ebitundu 81.8 ku 100.

Kino kitegeeza nti ssente ebitundu 18.2 ku buli 100 zigenda kuva bweru w’eggwanga mu mawanga n’ebitongole ebigabi by’obuyambi era Minisita yannyonnyodde nti ssente ezigenda okuva ebweru awamu ziri obuwumbi 2,733 .

Ebyokwerinda bbyo byongezeddwa ku mutemwa gwebifuna

URA EGENDA KUKUNG’AANYA OBUWUMBI 9,577.
Minisita Kiwanuka yalangiridde nti ku ssente obuwumbi 12,321 ezigenda okuyimirizaayo Bajeti nga ziva munda mu ggwanga, obuwumbi 9,577 zigenda kukung’aanyizbwa mu musolo egisoloozebwa ekitongole ky’emisolo mu ggwnaga ekya Uganda revenue Authority (URA)

Ssente endala ezijjuzzaawo, Minisita Kiwanuka yagambye nti zigenda kuva mu makubo ag’enjawulo omuli n’okutunda emigabo gya gavumenti ( Government Securities) egisuubirwa okuvaamu obuwumbi 1,437 nga gino gyakutundibwa munda mu ggwanga .

BAJETI NKAKALI-ABAKUGU
Minisita Kiwanuka yategeezezza nti gavumenti okusobola okukung’aanya ensimbi ezo, esazzewo okuleeta emisolo emipya n’okulinnyisa egimu ku mikadde n’akubiriza abantu okufaayo okugisasula , gavumenti esobole okutuukiriza Pulogulaamu zaayo ez’okutumbuza ebyenfuna n’enkulaakulana y’eggwanga .

Yagambye mu kussaawo emisolo emipya n’okulinnyisa emikadde, gavumenti eyagala okwongera okulaga obwerufu, obwenkanya n’okugaziya ennyingiza yaayo era ekitongole kya URA kigenda kuwagira mu kukwasiza n’okukung’aanya emisolo egyo.

 

Omusolo ku mafuta gonna gulinnye

OMUSOLO KU PETULOOLI NE DIZERO GULINNYE
Minisita yalangiridde nti okutandiika n’omwezi ogujja, omusolo kuPetulooli ne Dizero egwongezzaamu Siringi 50 ku buli Liita.

Wano gavumenti egenda kufunawo obuwumbi 60 mu mwaka gwa 2014/15

AMAFUTA G’ETTAALA GWONGEZEDDWAKO 200 /-
Amafuta g’ettaala , Minisita Kiwanuka yagambye nti agataddeko siringi 200 ku buli Liita ezaali zigassibwako kyokka ne ziggyiobwawo mu 2010.

Minisita Kiwanuka yagambye nti ky’avudde azzaawo omusolo ku mafuta g’ettaala kwe kukizuula nti ne bwegwaggyibwawo, ebbeeyi y’amafuta g’ettaala yasigala ng’eri waggulu.

Wano gavumenti esuubira okufunawo obuwumbi 15 mu mwaka gulamba.

Omuvubuka ng'atikkula ssukaali, ono naye ayongezeddwako omusolo

SSUKALI AYONGEZEDDWA OMUSOLO
Minisita Kiwanuka yalangiridde nti ayongezza omusolo ku sukaali okuva ku siringi 25 ku buli kkilo okutuuka ku siringi 50 buli kkiro.

Mu kwongeza omusolo ku ssukaali, Minisita Kiwanuka yagambye nti gavumenti egenda kukung’aanyawo obuwumbi musanvu.

Ku buli ssente z’oggyayo ku mobile money, gavumenti egenda kukusolozaako ebitundu kkumi ku 100

OMUSOLO KU KUGGYAYO SSENTE ZA MOBILE MONEY
Oluvannyuma lw’okussaawo omusolo ku bassa ssente ku ssimu mu nkola ya mobile money mu bajeti ewedde eya 2013/14, kati Minisita aleese omusolo omupya ku kuggyayo ssente eza mobile money.

Kati buli ssente z’oggyayo ku mobile money, gavumenti egenda kukusolozaako ebitundu kkumi ku 100, ekitegeeza nti ku ssente kampuni z’amasimu ze zibadde zisala ku baggyao ssente, ne gavumenti atddeko ezaayo ebitundu 10 ku 100.

Wano, Minisita Kiwanuka yagambye nti gavumenti egenda kufunawo obuwumbi 16.

OMUSOLO KU KUWEREZA N’OKUGGYAYO SSENTE MU BBANKA.
Mu ngeri yeemu, gavumenti ereese omusolo omupya ku ssente bbanka ze zisala abalinayo akawunta gwa bitundu 10 ku 100.

Minisita Kiwanuka era yataddewo n’omusolo ku bawereza n’okufuna ssente nga baziyisa mu bbanka nga wano gavumenti egenda kukung’aanyawo obuwumbi 22.

EMISOLO KU BANNEEKOLERAGYANGE

Gavumenti Banneekoleragyange bangi mu Uganda abakola bizinensi ezitali ntongole era ezitali mpandiise mu mateeka kyokka nga bayingiza ssente .

Minisita Kiwanuka agambye nti bano bagenda kufeffettebwa yonna gye bali bassibweko omusolo gwa bitundu 3 ku 100 ku ze bayingiza n’annyonnyola nti wano agenda kukung’aanyawo obuwumbi munaana.

Ebibanda omusibirwa ensimbi ku mizannyo bibinikiddwa omusolo

BEETINGI ASSIDDWAKO OMUSOLO
Abazannya omuzannyo gw’okusiba ssente mu by’emizannyo n’ebifo ebisanyukirwamu gavumenti ebataddeko omusolo gwa bitundu 15 ku buli 100 ku ze bawangula.

Minisita Kiwanuka yagambye nti wano asuubira okukung’aanyawo obuwumbi munaana 8.

ENKUMBI N’EBIKOZESEBWA MU BULIMI BISIDDWAKO OMUSOLO

Minisita ataddewo omusolo gwa VAT ku bikozesebwa mu bulimi n’obulunzi ogwali gwabiggyibwako nga lino ekkubo ligenda kuvaamu obuwumbi 215

Ebissiddwako omusolo gwa VAT ebitundu 18 ku 100 mulimu enkumbi ezirima, n’ebikozesebwa mu bulimi ebirala byonna.

Ng’oggyeeko ebikozesebwa mu bulimi, n’ensigo ez’embala ezitundibwa, ebigimusa n’eddagala eritta ebiwuka mu birime n’ebisolo nabyo bissiddwako VAT wa bitundu 18 ku 100.

VAT wa bitundu 18 ku 100 assiddwa ku nkumbi ezirima, n’ebikozesebwa mu bulimi ebirala byonna.

Ng’oggyeeko ebikoze

EMPAPULA N’EBIKOZESEBWA MU MASOMERO BISSIDDWAKO VAT
Okufaananako nga Minisita bw’ataddewo omusolo gwa VAT ku bikozesebwa mu bulimi n’obulunzi n’ebikozesebwa mu byenjigiriza bulijjo ebibadde bitasasula musolo kati bigenda kusasula VAT.

Muky. Kiwanuka yagambye nti empapula n’ebikozesebwa mu masomero bigenda kusasula omusoolo gwa VAT gwa bitundu 18 ku 100.

AMATA GASSIDDWAKO OMUSOLO
Minisita era yalangiridde nti amata agalongoseddwa n’eby’okulya ebikolebwa mu maka nabyo bissiddwako omusolo gwa VAT okufaananako ng’ogussiddwa mu by’amasomero n’obulimi.

Yagambye nti VAT ku batunda emmere ey’empeke (Omuceere, Kasooli, Omuwemba, Obulo, entungo n’ebirala) ebirimwa n’okukubwamu mu buuma mu Uganda bagenda kusasula VAT gwe byali byaggyibwako

LOONI Z’ABALIMI ZISSIDDWAKO OMUSOLO

LOONI z’Ebyobulimi gavumenti ze yali yasonyiwa omusolo ku magoba abalimi ge bafuna kati guzziddwawo.

Ekkubo lino, Minisita Kiwanuka yagambye nti ligenda kuyingiza mu nsawo ya gavumenti obuwumbi 25 n’obukadde 100.

Bajeti ya 2014/15; Emisolo gimyumyuddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...